\v 19 Naye bakama be bwe baboine ng'eisuubi ly'ebintu byabwe liweirewo, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babawalula okubatwala mu katale eri abakulu, \v 20 ne babatwala eri abalamuzi ne bakoba nti Abantu bano basasamaza inu ekibuga kyaisu, kubanga Bayudaaya \v 21 era begeresya empisa egy'omuzizo ife okugikwatanga waire okugikolanga kubanga tuli Barooma.