\v 37 Naye Pawulo n'abakoba nti Batukubbire mu maiso ga bantu nga tukaali kusalirwa musango, nga tuli Bantu Barooma ne batusindiikirirya mu ikomera; ne batutoolamu kyama? Bbe; naye baize beene batufulumye. \v 38 Basirikale ne bakobera abalamuzi ebigambo bino: ne batya bwe baawuliire nga Baroomo: \v 39 ne baiza ne babeegayirira, ne babafulumya, ne bataka bave mu kibuga.