\v 9 Pawulo n'abona okwolesewa obwire, omuntu Omumakedoni ng'ayemereire era ng'amwegayirira ng'akoba nti Wunguka okutuuka e Makedoni otuyambe. \v 10 Bwe yamalire okubona okwolesewa, amangu ago ne tusala amagezi okusitula okwaba e Makedoni, nga tutegeera nti Katonda atwetere okubabuulira enjiri.