\c 14 \v 1 Awo olwatuukire mu Ikonio ne bayingirira wamu mu ikuŋaaniro ly'Abayudaaya, ne batumula batyo ekibiina kinene n'okwikirirya ne baikirirya, Abayudaaya n'Abayonaani. \v 2 Naye Abayudaaya abataagondere ni beesoomera ab'amawanga ne bafuula emeeme gyabwe okubba embibbi eri ab'oluganda.