lke_reg/57-TIT.usfm

68 lines
5.9 KiB
Plaintext

\id TIT
\ide UTF-8
\h Tito
\toc1 Tito
\toc2 Tito
\toc3 tit
\mt Tito
\c 1
\cl Ensuula 1
\p
\v 1 Pawulo, omwidu wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo, ng'okwikirirya kw'abalonde ba Katonda bwe kuli n'okutegeera amazima agali mu kutya Katonda,
\v 2 mu kusuubira obulamu obutawaawo, Katonda atayinza kubbeeya bwe yasuubizirye ebiseera eby'emirembe n'emirembe nga bikaalikubbaawo;
\v 3 naye mu ntuuko gye yabonekeirye ekigambo kye mu kubuulira kwe nagisisiibwe nze ng'ekiragiro kya Katonda Omulokozi waisu bwe kiri;
\v 4 eri Tito, omwana wange mwenemwene ng'okwikirirya kwaisu fenafena bwe kuli: ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Itawaisu ne Kristo Yesu Omulokozi waisu bibbenga gy'oli.
\p
\v 5 Kyenaviire ne nkuleka mu Kuleete, kaisi olongoosenga ebyasigaliire, era oteekenga abakaire mu buli kibuga nga nze bwe nakulagiire;
\v 6 omuntu bw'atabbangaku musango, ng'alina omukali mumu, ng'alina abaana abaikirirya, abataloopebwa nga balalulalu, so ti abatagonda.
\v 7 Kubanga omulabirizi kimugwanira obutabangaku musango, ng'omuwanika wa Katonda; ti mukakanyavu, ti wa busungu, atatonganira ku mwenge, ti akubba, ti eyeegomba amagoba mu bukuusa;
\v 8 naye ayaniriza abageni, ataka obusa, eyeegendereza, mutuukirivu, mutukuvu, eyeekuuma;
\v 9 anyweza ekigambo ekyesigwa ekiri ng'okuyigiriza kwaisu bwe kuli, kaisi ayinzenga okubuulirira mu kuyigiriza okw'obulamu, era n'okusinga abayomba naye.
\p
\v 10 Kubanga eriyo bangi abatagonda, abatumula ebibulamu, ababbeya, era okusinga bo mu bakomole,
\v 11 abagwanira okuzibibwanga eminwa; kubanga abo niibo abasanikira enyumba enamba nga bayigiriza ebitabagwaniire, olw'amagoba ag'obukuusa:
\v 12 Omumu ku ibo, nabbi waabwe ibo, yakobere nti Abakuleeti babbeeya enaku gyonagyona, ensolo embibbi, ebida ebigayaavu.
\v 13 Okutegeeza okwo kwa mazima. Kyova obabogoleranga n'obukambwe, kaisi babbe n'obulamu olw'okwikirirya
\v 14 balekenga okuwulira enfumu egy'obubbeeyi egy'Ekiyudaaya n'ebiragiro by'abantu abakyuka okuleka amazima.
\v 15 Eri abalongoofu byonabyona birongoofu: naye abasiigibwa obugwagwa n'abataikirirya eri abo wabula kirongoofu; naye amagezi gaabwe era n'omwoyo byasiigiibwe obugwagwa.
\v 16 Batyama nga bamaite Katonda; naye mu bikolwa byabwe bamwegaana, kubanga bagwagwa era abatawulira era abatasiimibwa mu buli kikolwa kyonakyona ekisa.
\c 2
\cl Ensuula 2
\p
\v 1 Naye iwe tumulanga ebisaanira okuyigiriza okw'obulamu:
\v 2 abasaiza abakaire balekenga okubba batamiivu, nga balimu ekitiibwa, nga beegendereza nga balina obulamu olw'okwikirirya, olw'okutaka, olw'okugumiikiriza:
\v 3 n'abakali abakaire batyo mu kifaananyi kyabwe nga beewombeeka, ti abawaayiriza, so ti abafugibwa omwenge omungi, abayigiriza ebisa;
\v 4 kaisi beegenderezesienga abakali abatobato okutakagananga baibawabwe, okutakagananga abaana baabwe,
\v 5 okwegenderezanga, okuba n'obulongoofu, okukolanga emirimu mu nyumba gyaabwe, okubba n'ekisa, okugonderanga baibawabwe, ekigambo kya Katonda kirekenga okuvumibwa:
\v 6 n'abavubuka batyo obabuuliriranga okwegendereza:
\v 7 mu bigambo byonabyona nga weeraganga ng'ekyokuboneraku eky'ebikolwa ebisa; mu kuyigiriza kwo ng'olaganga obugolokofu, okubbaamu ekitiibwa,
\v 8 ebigambo eby'obulamu ebitanenyezeka; oyo atali ku lulwo kaisi akwatibwenga ensoni, nga abula kibbiibi kyo kututumulaku.
\v 9 Buuliriranga abaidu okugonderanga bakama baabwe, okusiimibwanga mu byonabyona, obutatongananga;
\v 10 obutaibbanga, naye okulaganga obwesigwa obusa bwonabwona; kaisi bayonjenga okuyigiriza kw'Omulokozi waisu Katonda mu byonabyona.
\v 11 Kubanga ekisa kya Katonda kibonekere, nga kireetera abantu bonabona obulokozi,
\v 12 nga kitubuulirira okugaananga obutatya Katonda n'okwegomba okw'omu nsi, kaisi tubbenga abalamu mu mirembe egya atyanu mu kwegendereza n'obutuukirivu n'okutya Katonda,
\v 13 nga tulindirira eisuubi ery'omukisa n'okuboneka kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waisu Yesu Kristo;
\v 14 eyeewaireyo ku lwaisu, kaisi atununule mu bujeemu bwonabwona, era yeerongooserye eigwanga ery'envuma, erinyiikirira ebikolwa ebisa.
\p
\v 15 Tumulanga ebyo, obibuulirirenga, onenyenga n'obuyinza bwonabwona, Omuntu yenayena takunyoomanga.
\c 3
\cl Ensuula 3
\p
\v 1 Obaijukiryenga okugonderanga abafuga n'abalina obuyinza, okuwuliranga, okweteekerateekeranga buli kikolwa kyonakyona ekisa,
\v 2 obutavumanga muntu yenayena, obutalwananga, okwewombeekanga, nga balaga obwikaikamu bwonabwona eri abantu bonabona.
\v 3 Kubanga era feena eira twabbaire basirusiru, abatawulira, ababbeyebwa, nga tuweereza okwegomba n'ebinyumu ebitali bimu, nga tubba mu itima n'eiyali, abeekyayisya, era nga tukyawagana.
\v 4 Naye obusa bw'Omulokozi waisu Katonda n'okutaka kwe eri abantu bwe byabonekere,
\v 5 n'atulokola, ti lwa bikolwa eby'omu butuukirivu bye twakolere ife wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunabibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri n'okufuulibwa abayaka Omwoyo Omutukuvu,
\v 6 gwe yatufukireku olw'obugaiga, ku bwa Yesu Kristo Omulokozi waisu;
\v 7 nga tumalire okuweebwa obutuukirivu olw'ekisa kye oyo, kaisi tufuuke abasika mu kusuubira obulamu obutawaawo.
\v 8 Ekigambo kino kyesigwa, ne ku bino ntaka iwe okukakasiryanga kimu, abaikirirya Katonda baijukirenga okuteekaku omwoyo ku bikolwa ebisa. Ebyo bisa, era bigasa abantu:
\v 9 naye empaka egy'obusiru n'ebitabo ebirimu endyo gy'okuzaalibwa n'enyombo n'okuwakanira amateeka obyewalenga; kubanga bibulaku kye bigasa so bibulamu.
\v 10 Omuntu omukyamu, bw'omalanga okumubuulirira omulundi ogw'oluberyeberye n'ogw'okubiri, omugaananga,
\v 11 ng'omanya ng'ali ng'oyo akyamizibwa, era ayonoona, nga yeesalira yenka omusango.
\p
\v 12 Bwe ntumanga Atema gy'oli oba Tukiko, fuba okwiza gye ndi mu Nikopoli: kubanga nteeserye okumalira eyo ebiseera eby'empewo.
\v 13 Fuba okubasibirira Zeena ow'amateeka ne Apolo, baleke okubulwa ekintu.
\v 14 Era abaisu bayege okuteekangaku omwoyo ku bikolwa ebisa mu bigambo ebyetaagibwa, balemenga obutabala.
\p
\v 15 Abali nanze bonabona bakusugiirye. Osugirye abatutaka mu kwikirirya. Ekisa kibbenga naimwe mwenamwena.