lke_reg/47-1CO.usfm

532 lines
50 KiB
Plaintext
Raw Permalink Blame History

This file contains ambiguous Unicode characters

This file contains Unicode characters that might be confused with other characters. If you think that this is intentional, you can safely ignore this warning. Use the Escape button to reveal them.

\id 1CO
\ide UTF-8
\h 1 Abakolinso
\toc1 1 Abakolinso
\toc2 1 Abakolinso
\toc3 1co
\mt 1 Abakolinso
\c 1
\cl Ensuula 1
\p
\v 1 Paulo, eyayeteibwe okubba omutume wa Yesu Kristo olw'okutaka kwa Katonda, ne Sossene ow'oluganda,
\v 2 eri ekanisa ya Katonda eri mu Kolinso, abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abayeteibwe okubba abatukuvu, wamu ne bonabona abeeta eriina lya Mukama waisu Yesu Kristo mu buli kifo, niiye Mukama waabwe era owaisu:
\v 3 ekisa kibbenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Itawaisu, ne Mukama waisu Yesu Kristo.
\p
\v 4 Neebalya Katonda wange bulijo ku lwanyu, olw'ekisa kya Katonda kye mwaweweirwe mu Kristo Yesu;
\v 5 kubanga mu buli kigambo mwagagawaliire mu iye, mu kutumula kwonakwona no mu kutegeera kwonakwona;
\v 6 ng'okutegeeza kwa Kristo bwe kwanywezeibwe mu imwe:
\v 7 imwe obutaweebuuka mu kirabo kyonakyona; nga mulindirira okubikuliwa kwa Mukama waisu Yesu Kristo;
\v 8 era alibanyweza okutuusia ku nkomerero, obutabbaku kyo kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waisu Yesu Kristo.
\v 9 Katonda mwesigwa, eyabeteire okuyingira mu kwikirirya ekimu kw'Omwana we Yesu Kristo Mukama waisu.
\p
\v 10 Naye mbeegayirira, ab'oluganda, olw'eriina lya Mukama waisu Yesu Kristo, mwenamwena okutumulanga obumu, so okwawukana kulekenga okubba mu imwe, naye mugaitirwenga dala mu magezi gamu no mu kulowooza kumu.
\v 11 Kubanga nabuuliirwe ebifa gye muli, bagande bange, abo ab'omu nyumba yo Kuloowe, ng'eriyo okutongana mu imwe.
\v 12 Kye kyentumwire niikyo kino nti buli muntu mu imwe atumula nti Nze ndi wa Pawulo; nzeena wa Apolo; nzeena wa Keefa; nzeena wa Kristo:
\v 13 Kristo ayawuliibwemu? Pawulo yakomereirwe ku lwanyu? Oba mwabatiziibwe okuyingira mu liina lya Pawulo?
\v 14 Neebalya Katonda kubanga timbatizanga muntu yenayena mu imwe, wabula Kulisupo ne Gaayo;
\v 15 omuntu yenayena alekenga okutumula nga mwabatiziibwe okuyingira mu liina lyange:
\v 16 Era nabatiza n'enyumba ya Suteefana: ate timaite nga nabatizire ogondi yenayena.
\v 17 Kubanga Kristo teyantumire kubatiza, wabula okubuulira Enjiri: ti mu magezi ge bigambo, omusalaba gwa Kristo gulekenga okubba ogw'obwereere.
\p
\v 18 Kubanga ekigambo eky'omusalaba niibwo busirusiru eri abo abagota; naye eri ife abalokokeibwe niigo maani ga Katonda.
\v 19 Kubanga kyawandiikibwe nti Ndizikirirya amagezi g'abagezigezi, N'obukabakaba bw'abakabakaba ndibutoolawo.
\p
\v 20 Omugezigezi aliwaina? Omuwaadiiki aliwaina? Omuwakani ow'omu nsi muno aliwaina? Katonda teyasiruwazirye magezi ge nsi?
\v 21 Kubanga mu magezi ga Katonda ensi olw'amagezi gaayo bw'etaategeera Katonda, Katonda n'asiima olw'obusirusiru obw'okubuulira okwo okulokola abo abaikirirya.
\v 22 Kubanga Abayudaaya basaba obubonero, n'Abayonaani basagira amagezi:
\v 23 naye ife tubuulira Kristo eyakomereirwe, eri Abayudaaya nkonge, n'eri ab'amawanga busirusiru;
\v 24 naye eri abo abeete Abayudaaya era n'Abayonaani, Kristo maani ga Katonda, era magezi ga Katonda.
\v 25 Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga abantu amagezi; n'obunafu bwa Katonda businga abantu amaani.
\p
\v 26 Kubanga mulingilire okwetebwa kwanyu, ab'oluganda, ng'ab'amagezi ag'omubiri ti bangi abayeteibwe, ab'amaani ti bangi, ab'ekitiibwa ti bangi:
\v 27 naye Katonda yalondere ebisirusiru eby'ensi, abagezigezi abakwatisye ensoni; era Katonda yalondere ebinafu eby'ensi, akwatisye ensoni eby'amaani;
\v 28 n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabirondere era n'ebibulawo, atoolewo ebiriwo:
\v 29 omubiri gwonagwona gulekenga okwenyumiriza mu maiso ga Katonda.
\v 30 Naye ku bw'oyo imwe muli mu Kristo Yesu, eyafuukire amagezi gye tuli okuva eri Katonda, era n'obutuukirivu n'okutukuzibwa, n'okununulibwa:
\v 31 nga bwe kyawandiikibwe nti Eyenyumirizia, yeenyumiririzienga mu Mukama.
\c 2
\cl Ensuula 2
\p
\v 1 Nzena, ab'oluganda, bwe naizire gye muli, tinaizire na maani mangi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda,
\v 2 Kubanga namaliriire obutamanya kigambo mu imwe, wabula Yesu Kristo era oyo eyakomereirwe.
\v 3 Nzena nabbanga naimwe mu bunafu ne mu kutya no mu kutengera okungi.
\v 4 N'ekigambo kyange n'okubuulira kwange tebyabbanga mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, wabula mu kutegeezia kw'Omwoyo n'amaani:
\v 5 okwikirirya kwanyu kulekenga okubba mu magezi g'abantu, wabula mu maani ga Katonda.
\p
\v 6 Naye amagezi tugatumula mu abo abatuukirira: naye amagezi agatali go mu mirembe gino, era agatali ga bakulu ab'omu mirembe gino, abawaawo:
\v 7 naye tutumula amagezi ga Katonda mu kyama, gadi agagisiibwe, Katonda ge yalagiire eira ensi nga gikaali okubbaawo olw'ekitiibwa kyaisu:
\v 8 abakulu bonabona ab'omu mirembe gino ge batategeeranga n'omumu: kuba singa baagategeire, tebandikomereire Mukama we kitiibwa:
\v 9 naye nga bwe kyawandiikibwe nti Eriiso bye litabonangaku, n'ekitu bye kitawuliranga, N'ebitayingiranga mu mwoyo gwo muntu, Byonabyona Katonda bye yategekeire abamutaka.
\p
\v 10 Naye ife Katonda yabitubikuliire ku bw'Omwoyo: kubanga Omwoyo asagira byonabyona era n'ebitategeerekeka ebya Katonda.
\v 11 Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu iye? Era kityo n'ebya Katonda wabula abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda.
\v 12 Naye ife tetwaweibwe mwoyo gwe nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, kaisi tutegeerenga Katonda by'atuwa obuwi.
\v 13 N'okutumula tutumula ebyo, ti mu bigambo amagezi g'abantu bye gegeresya, wabula Omwoyo by'ayegeresya; bwe tugeraageranya eby'omwoyo n'eby'omwoyo.
\v 14 Naye omuntu ow'omwoka obwoka taikirirya byo Mwoyo gwa Katonda: kubanga byo busirusiru gy'ali; era tayinza kubitegeera, kubanga bigisiibwe na mwoyo.
\v 15 Naye omuntu ow'omwoyo akebera byonabyona, naye iye mwene takeberwa muntu yenayena.
\q
\v 16 Kubanga yani eyabbaire ategeire okulowooza kwa Mukama waisu, kaisi amwegeresye? Naye ife tulina okulowooza kwa Kristo.
\c 3
\cl Ensuula 3
\p
\v 1 Nzena, ab'oluganda, tinasoboire kutumula naimwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo.
\v 2 Nabanyweserye mata, so ti mere; kubanga mwabbaire mukaali kuyingirya: naye era ne atyanu mukaali kuyingirya;
\v 3 kubanga mukaali bo mubiri: kubanga mu imwe nga bwe mukaali mulimu eiyali n'okutongana, temuli bo mubiri, era temutambula ng'abantu obuntu?
\v 4 Kubanga omuntu bw'atumula nti Nze ndi wa Pawulo; n'ogondi nti Nze ndi wa Apolo; nga temuli bantu buntu?
\v 5 Kale Apolo niikyo ki? Ne Pawulo niikyo ki? Baweereza buweereza ababaikirizisirye; era buli muntu nga Mukama waisu bwe yamuwaire.
\v 6 Nze nasigire, Apolo n'afukirira; naye Katonda niiye akulya.
\v 7 Kale kityo asiga ti kintu, wairee afukirira; wabula Katonda akulya.
\v 8 Naye asiga n'afukirira bali bumu: naye buli muntu aliweebwa empeera ye iye ng'omulimu gwe iye bwe gulibba.
\v 9 Kubanga Katonda tuli bakozi bainaye: muli nimiro ya Katonda, muli nyumba ya Katonda
\v 10 Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye naweweibwe, ng'omukolya w'abazimbi ow'amagezi n'asimire omusingi; ogondi n'azimbako. Naye buli muntu yeekuumenga bw'azimbaku.
\v 11 Kubanga wabula muntu ayinza kusima musingi ogundi wabula ogwo ogwasimiibwe, niiye Yesu Kristo.
\v 12 Naye omuntu yenayena bw'azimbanga ku musingi ogwo zaabu, feeza, amabbaale ag'omuwendo omungi, emisaale, eisubi, ebisasiro;
\v 13 omulimu gwa buli muntu gulibonesebwa: kubanga olunaku ludi luligubonesya, kubanga gulibikuliwa mu musyo; n'omusyo gwene gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana.
\v 14 Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbireku niigwo gulibbaawo, aliweebwa empeera.
\v 15 Omulimu ogwa buli muntu bwe gulyokyebwa, alifiirwa; naye iye mwene alirokoka; naye, kubita mu musyo.
\p
\v 16 Temumaite nga muli yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abba mu niimwe?
\v 17 Omuntu yenayena bw'azikiriryanga yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikirirya oyo; kubanga yeekaalu ya Katonda ntukuvu: niiyo imwe:
\v 18 Omuntu yenayena teyebbeeyanga; Omuntu yenayena bwe yeerowoozanga okubba omugezi mu imwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, kaisi afuuke omugezi.
\v 19 Kubanga amagezi ag'omu nsi muno niibwo busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwe nti Akwatisya abagezi enkwe gy'abwe:
\v 20 era ate nti Mukama ategeera empaka gy'abagezi nga gibulamu.
\v 21 Omuntu yenayena kyeyavanga naleka okwenyumirizia mu bantu. Kubanga byonabyona byanyu;
\v 22 oba Pawulo, oba Apolo, oba Keefa, oba nsi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebyaba okubbaawo; byonabyona byanyu;
\v 23 mwena muli ba Kristo; ne Kristo wa Katonda.
\c 4
\cl Ensuula 4
\p
\v 1 Omuntu atulowoozenga ati, nga tuli baweereza ba Kristo era abawanika b'ebyama bya Katonda:
\v 2 Era wano kigwanira abawanika, omuntu okubonekanga nga mwesigwa.
\v 3 Naye ku nze kigambo kitono inu imwe okunsalira omusango, oba omuntu yenayena: era nzena nzenka tinesalira musango:
\v 4 Kubanga tinemaiteku kigambo; naye ekyo tekimpeesya butuukirivu: naye ansalira omusango niiye Mukama waisu.
\v 5 Kale temusalanga musango gwe kigambo kyonakyona, ebiseera nga bikaali kutuuka, okutuusya Mukama waisu lw'aliiza, alimulikya ebigisiibwe eby'omu ndikirirya, era alibonekya okuteesia okw'omu mwoyo; buli muntu kaisi naweebwa eitendo lye eri Katonda.
\p
\v 6 Naye ebyo, ab'oluganda, mbigereire ku niinze ne Apolo ku lwanyu; kaisi mwegere ku ife obutasukanga ku byawandiikibwa; omuntu yenayena alekenga okwegulumizia olw'omumu okusinga ogondi.
\v 7 Kubanga akwawula niiye ani? Era olina ki ky'otaaweebwa? Naye okuweebwa oba nga waweweibwe, kiki ekikwenyumirizisia ng'ataweweibwe?
\v 8 Mumalire okwikuta, mumalire okugaigawala, mwafuga nga bakabaka awabula ife: era mubba kufuga nanditakire, era feena kaisi tufugire wamu naimwe.
\v 9 Kubanga ndowooza nga Katonda ife abatume yatwoleserye enkomerero ng'abataaleke kufa: kubanga twafuukire ekyebonerwa ensi na bamalayika n'abantu.
\v 10 Ife tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye imwe muli bagezigezi mu Kristo; ife tuli banafu, naye imwe muli ba maani; imwe muli be kitiibwa, ife tuli bo kunyoomebwa.
\v 11 Era n'okutuusia ekiseera kino, tulumwa enjala era n'ennyonta, era tubba bwereere, era tukubbibwa ebikonde, era tubulaku waisu;
\v 12 era tukola emirimu nga tutegana n'emikono gyaisu: bwe tuvumibwa, tubasabira omukisa; bwe tuyigganyizibwa, tugumiinkiriza;
\v 13 bwe tuwaayirizibwa, twegayirira: twafuukiire ng'ebisasiro eby'ensi; empitambiibbi egya byonabyona, okutuusia atyanu.
\p
\v 14 Ebyo timbiwandiika kubakwatisya nsoni, wabula okubabuulirira ng'abaana bange abatakibwa.
\v 15 Kuba waire nga mulina abegeresya mutwalo mu Kristo, naye mubula baitwanyu bangi; kubanga nze nabazaalisirye enjiri mu Kristo Yesu:
\v 16 Kyenva mbeegayirira okunsengereryanga:
\v 17 Kyenva ntuma Timoseewo gye muli niiye mwana wange omutakibwa omwesigwa mu Mukama waisu, alibaijukirya amangira gange agali mu Kristo, nga bwe njegeresya yonayona mu buli kanisa.
\v 18 Naye waliwo abandi abeegulumizia nga balowooza nga nze tinjaba kwiza gye muli.
\v 19 Naye ndiiza gye muli mangu, Mukama waisu bw'alitaka; era ndimanya amaani gaabwe abeegulumizia so ti kigambo kyabwe.
\v 20 Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kigambo, wabula mu maani.
\v 21 Mutakaku ki? Ngize gye muli n'omwigo, oba mu kutaka no mu mwoyo ogw'obuwombeefu?
\c 5
\cl Ensuula 5
\p
\v 1 N'okukoba bakoba nga mu imwe mulimu obwenzi, era obwenzi butyo obutali no mu b'amawaaga, omuntu okubba no mukali wa itaaye.
\v 2 Mwena mwegulumizirye; so temwanakuwaire bunakuwali, oyo eyakolere ekikolwa ekyo kaisi atolebwe wakati mu imwe.
\v 3 Kubanga nze bwe ntabbaayo mu mubiri naye nga ndiyo mu mwoyo; malire okusalira omusango oyo eyayonoona ekyo atyo,
\v 4 mu liina lya Mukama waisu Yesu, imwe nga mukuŋanire n'omwoyo gwange awamu n'amaani ga Mukama waisu Yesu,
\v 5 okuwaayo ali atyo eri Setaani omubiri okuzikirizibwa, omwoyo kaisi gweibbe ku lunaku lwa Mukama waisu Yesu.
\v 6 Okwenyumirizia kwanyu ti kusa: Tetumaite ng'ekizimbulukusya ekitono (ekidiidiri) kizimbulukusya ekitole kyonakyona?
\v 7 Mutoolemu Ekizimbulukusya eky'eira, kaisi mubbe ekitole ekiyaaka, nga mubulamu kizimbulukusya. Kubanga era n'Okubitaku kwaisu kwaitiibwe, niiye Kristo:
\v 8 kale tufumbe embaga, ti ne kizimbulukusya eky'eira, waire n'ekizimbulukusya eky'eitima n'obubbiibi, wabula n'ebitazimbulukuswa eby'obutali bukuusa n'amazima.
\p
\v 9 Nabawandiikiire mu bbaluwa yange obuteegaitanga na benzi;
\v 10 so ti kwewalira dala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyagi, oba abasinza ebifaananyi: kubanga bwe kibba kityo kyandibagwaniire okuva mu nsi:
\v 11 naye atyanu mbawandiikira obuteegaitanga naye, omuntu yenayena ayetebwa ow'oluganda bw'aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyagi; ali atyo n'okulya temulyanga naye.
\v 12 Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ewanza? Imwe temusalira musango bo munyumba?
\v 13 Naye ab'ewanza Katonda iye abasalira omusango. Omubbiibi einu mumutoole mu imwe.
\c 6
\cl Ensuula 6
\p
\v 1 Omuntu yenayena ku imwe bw'abba n'ekigambo ku mwinaye, alingiliire okuwozerya ensonga abatali batuukirivu, so ti eri abatukuvu?
\v 2 Oba temumaite ng'abatukuvu niibo balisalira ensi omusango? Era oba ng'ensi imwe muligisalira omusango, temusaanira kusala nsonga entono (endidiiri) einu.
\v 3 Temumaite nga tulisalira bamalayika omusango? Tulireka tutya okusala emisango egy'omu bulamu buno?
\v 4 Kale bwe mubba n'okusala emisango egy'omu bulamu buno, abanyoomebwa mu kanisa abo niibo ba muteekawo?
\v 5 Ntumwire kubakwatisya nsoni. Kiri kityo nti mu imwe temusobola kusuuka muntu mugezi, ayinza okusalira bagande ensonga,
\v 6 naye ow'oluganda awozie n'ow'oluganda, era ne mu maiso gaabo abatali baikirirya?
\v 7 Naye era mutyo mumalire okubaaku akabbiibi, kubanga mulina emisango mwenka na mwenka. Lwaki obutamala gakolwanga bubbiibi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga?
\v 8 Naye imwe abeene mukola bubbiibi, mulyazaamaanya, era n'ab'oluganda.
\v 9 Oba Temumaite ng'abatali batuukirivu tebalisikira obwakabaka bwa Katonda? Temubbeyebwanga: waire abakaba, waire abasinza ebifaananyi, waire abenzi, waire abafuuka abakali, waire abalya ebisiyaga,
\v 10 waire ababbiibi, waire abeegomba, waire abatamiivu, waire abavumi, waire abanyagi, tebalisikira obwakabaka bwa Katonda.
\v 11 Era abamu ku imwe Mwabbaire ng'abo: naye mwanaziibwe, naye mwatukuziibwe, naye mwaweweibwe obutuukirivu olw'eriina lya Mukama waisu Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waisu.
\p
\v 12 Byonabyona bisa gye ndi; naye byonabyona tebinsaanira. Byonabyona bisa gye ndi; naye nze tinjaba kufugibwanga kyonakyona.
\v 13 Eby'okulya bye kida, n'ekida kye byo kulya: naye Katonda alibitoolawo byombiri. Naye omubiri ti gwa bwenzi, naye gwa Mukama waisu; no Mukama waisu avunaana omubiri:
\v 14 era Katonda yazuukizirye Mukama waisu, era feena alituzuukizia olw'amaani ge.
\v 15 Temumaite ng'emibiri gyanyu niibyo ebitundu bya Kristo? Kale nkwateenga ebitundutund bya Kristo mbifuule bitundutundu by'omwenzi? Kitalo.
\v 16 Oba Temumaite ng'eyeegaita n'omwenzi niigwo mubiri gumu? Kubanga atumula nti Bombiri babbanga omubiri gumu.
\v 17 Naye eyeegaita no Mukama waisu niigwo mwoyo gumu.
\v 18 Mwewalenga obwenzi. Buli kibbiibi kyonakyona omuntu ky'akola kiri kungulu ku mubiri; naye ayenda akola ekibbiibi ku mubiri gwe iye:
\v 19 Oba Temumaite ng'omubiri gwanyu niiyo yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu imwe, gwe mulina eyaviire eri Katonda? Mweena temuli ku bwanyu;
\v 20 kubanga mwaguliibwe na muwendo: kale mugulumizienga Katonda mu mubiri gwanyu.
\c 7
\cl Ensuula 7
\p
\v 1 Naye ku ebyo bye mwampandiikiire; kisa omusaiza obutakwatanga ku mukali.
\v 2 Naye, olw'obwenzi, buli musaiza abbenga no mukali we iye, na buli mukali abbenga no musaiza we iye.
\v 3 Omusaiza asasulenga omukali we ekyo ekimugwanira: era n'omukali asasulenga atyo omusaiza.
\v 4 Omukali tafuga omubiri gwe iye, wabula musaiza we: era n'omusaiza atyo tafuga omubiri gwe iye, wabula omukali we.
\v 5 Temwimaŋananga, wabula koizi nga mulagaine ekiseera, kaisi mubbenga n'eibbanga ery'okusabiramu, ate kaisi mubbenga wamu, Setaani alekenga okubakema olw'obuteeziyizia bwanyu.
\p
\v 6 Naye ebyo mbitumula nga ngikirirya bwikiriri, so tinteeka iteeka.
\v 7 Naye nanditakire abantu bonabona okubbanga nga nze. Naye buli muntu alina ekirabo kye iye, ekiva eri Katonda, ogondi ati, n'ogondi ati.
\v 8 Naye abatafumbirwagananga na banamwandu mbakoba nti Kisa ibo okubbanga nga nze.
\v 9 Naye oba nga tebasobola kweziyizia, bafumbiraganenga: kubanga niikyo ekisa okufumbirwagananga okusinga okwakanga.
\v 10 Naye abaamalire okufuumbirwagana mbalagira, so ti ninze wabula Mukama waisu, omukali obutanobanga ku musaiza we
\v 11 (naye okunoba bw'anobanga, abbeerenga awo obutafumbirwanga, oba atabaganenga no musaiza we); era n'omusaiza obutalekangayo mukali we.
\v 12 Naye abandi mbakoba nze, ti Mukama waisu: ow'oluganda yenayena bw'abbanga n'omukali ataikirirya, omukali bw'atabagananga naye okubba naye, tamulekangayo.
\v 13 N'omukali bw'abbanga n'omusaiza ataikirirya; yeena bw'atabagananga naye okubba naye, tanobanga ku musaiza we.
\v 14 Kubanga omusaiza ataikirirya atukuzibwa na mukali, n'omukali ataikirirya atukuzibwa na w'oluganda: singa tekiri kityo, abaana banyu tebandibbaire balongoofu; naye atyanu batukuvu.
\v 15 Naye ataikirirya bw'ayawukananga, ayawukane: ow'oluganda omusaiza oba omukali tali mu bwidu mu bigambo ebiri bityo: naye Katonda yatweteire mirembe.
\v 16 Kubanga, iwe omukali; omaite otya nga tolirokola musaiza wo? Oba, iwe omusaiza, omaite otya nga tolirokola mukali wo?
\v 17 Kino kyonka, buli muntu nga Mukama waisu bwe yamugabiire, buli muntu nga Katonda bwe yamwetere, atambulenga atyo. Era bwe ndagira ntyo mu kanisa gyonagyona.
\v 18 Omuntu yenayena yayeteibwe nga mukomole? Teyetoolangaku bukomole bwe. Omuntu yenayena yayeteibwe nga ti mukomole? Takomolebwanga.
\v 19 Okukomolwa ti kintu n'obutakomolwa ti kintu wabula okukwatanga ebiragiro bya Katonda.
\v 20 Buli muntu abbenga mu kwetebwa kwe yayeteirwemu.
\v 21 Wayeteibwe ng'oli mwidu? Tokaali weralkiiriranga: naye okuyinza bw'osobolanga okuweebwa eidembe, wakiri bbanga nalyo.
\v 22 Kubanga mu Mukama waisu eyayeteibwe nga mwidu, awebwa Mukama waisu eidembe: atyo eyayeteibwe nga w'eidembe niiye mwidu wa Kristo.
\v 23 Mwaguliibwe na muwendo; temufuukanga baidu ba bantu.
\v 24 Ab'oluganda, okwetebwa buli muntu niikwo kwe yayeteirwemu, abbenga mu okwo wamu ne Katanda.
\p
\v 25 Naye ku by'obutafumbiraganwa mbula kiragiro kya Mukama waisu: naye mbakoba nze ng'omuntu Mukama waisu gwe yasaasiire okubbanga omwesigwa.
\v 26 Kale ndowooza kino okubba ekisa olw'okubonaabona okwa atyanu, nga kisa omuntu okubba nga bw'ali.
\v 27 Wasibiibwe n'omukali? Tosagiranga kusumululwa. Wasumululwa ku mukali? Tosagiranga mukali.
\v 28 Naye okukwa bw'okwanga, nga toyonoonere; n'omuwala bw'afumbirwanga, nga tayonoonere. Naye abali batyo babbanga n'okubonaabona mu mubiri: nzena mbasaasira.
\v 29 Naye kino kye ntumula, ab'oluganda, nti Ebiseera biyimpawaire, Okutandiika atyanu abalina abakali babbe ng'ababula:
\v 30 era n'abo abakunga babbe ng'abatakunga; nabo abasanyuka babbe ng'abatasanyuka; n'abo abagula babbe ng'ababula;
\v 31 n'abo abakolya eby'omu nsi babbe ng'abatabikolya bubbiibi: kubanga engeri ey'omu nsi muno ewaawo.
\v 32 Naye ntaka imwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waisu, bw'ayasanyusianga Mukama waisu:
\v 33 naye omufumbo yeeraliikirira byo mu nsi, bweyasanyusanga mukali we.
\v 34 Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waisu, abbenga mutukuvu omubiri n'omwoyo: naye afumbirwa yeeraliikirira byo mu nsi, bweyasanyusanga musaiza we.
\v 35 Ntumwire ekyo olw'okubagasa imwe beene; ti lwokubba nga kyambika, wabula olw'obusa era kaisi muweerezenga Mukama waisu obutategananga.
\v 36 Naye omuntu bw'alowoozanga nga takola kusa muwala we, oba nga abitiriire obukulu, era oba nga kigwana okubba kityo, akolenga nga bw'ataka; tayonoona; bafumbirwagane.
\v 37 Naye oyo aguma mu mu mwoyo gwe, nga takakibwa, naye ng'asobola okutuukirirya bw'ataka iye, era nga yamaliriire kino mu mwoyo gwe okukuumanga omuwala we, alikola kusa.
\v 38 Kale afumbirya omuwala we akola kusa; era n'oyo atalifumbilya iye alisinga okukola okusa.
\v 39 Omukali asibibwa musaiza we ng'akaali mulamu; naye omusaiza we bw'abba ng'agonere, nga wo bwereere afumbirwenga gw'ataka; kyoka mu Mukama waisu.
\v 40 Naye abba musanyufu okusigala nga bw'ali nga nze bwe ndowooza: era ndowooza nga nzeena nina Omwoyo gwa Katonda.
\c 8
\cl Ensuula 8
\p
\v 1 Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumaite nga tulina fenafena okutegeera. Okutegeera kwegulumizisya, naye okutaka okuzimba.
\v 2 Omuntu bw'alowoozanga ng'aliku ky'ategeire, nga akaali kutegeera nga bwe kimugwanira okutegeera;
\v 3 naye omuntu bw'ataka Katonda, oyo ategeerwa iye.
\v 4 Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumaite ng'ekifaananyi ti kintu mu nsi, era nga wabula Katonda ogondi wabula omumu.
\v 5 Kuba waire nga waliwo abayeteibwe bakatonda, oba mu igulu, oba mu nsi; nga bwe waliwo bakatonda abangi n'abaami abangi;
\v 6 naye gye tuli waliwo Katonda mumu, Itawaisu, omuva byonabyona, feena tuli ku bw'oyo; ne Mukama waisu mumu, Yesu Kristo, abbesyawo byonabyona, era atubbesyawo ife:
\v 7 Naye okutegeera okwo kubula mu bantu bonabona: naye abandi, kubanga baamanyirira ebifaananyi okutuusia atyanu, balya ng'ekiweweibwe eri ekifaananyi; n'omwoyo gwabwe, kubanga munafu, gubba n'empitambiibbi.
\v 8 Naye ekyokulya tekitusiimisia eri Katonda: era bwe tutalya tetuweebuuka: era bwe tulya tetweyongeraku.
\v 9 Naye mwekuumenga koizi obuyinza bwanyu obwo bulekenga okubba enkonge eri abanafu.
\v 10 Kubanga omuntu bw'akubona iwe alina okutegeera ng'otyaime ku mere mu isabo ly'ekifaananyi; omwoyo gw'oyo, bw'abba nga munafu, teguliguma okulya ebiweebwa eri ebifaananyi?
\v 11 Kubanga omunafu abula olw'okutegeera kw'ow'oluganda Kristo gwe yafiriire.
\v 12 Era kityo, bwe mwonoonanga ab'oluganda era ne mufumita omwoyo gwabwe, bwe gubba nga munafu, nga mwonoona Kristo.
\v 13 Kale, oba ng'ekyokulya kyesitazia mugande wange, tinalyenga nyama emirembe gyonagyona, ndekenga okwesitazia mugande wange.
\c 9
\cl Ensuula 9
\p
\v 1 Tindi w'eidembe? Tindi mutume? Tinaboine Yesu Mukama waisu? Imwe temuli mulimu gwange mu Mukama waisu?
\v 2 Oba nga tindi mutume eri abandi, naye ndi mutume eri imwe: kubanga imwe niiko akabonero k'obutume bwange mu Mukama waisu.
\v 3 Bwe mpozia nti eri abo abankemererya.
\v 4 Tubula buyinza okulyanga n'okunywanga?
\v 5 Tubula buyinza okutwalanga omukali ow'oluganda awamu naife, era ng'abatume abandi, na bagande ba Mukama waisu, no Keefa.
\v 6 Oba nze nzenka no Balunabba tubula buyinza obutakolanga mirimu?
\v 7 Yaani ayaba okutabaala yonayona n'atabaalya ebintu bye iye? Yaani asimba olusuku n'atalya ku mere yaamu? Oba yani aliisia ekisibo n'atanywa ku mata g'ekisibo ekyo?
\v 8 Ebyo ntumula byo buntu? Oba era n'amateeka tegatumula gatyo?
\v 9 Kubanga kyawandiikibwe mu mateeka ga Musa nti Togisibanga omunwa ente ng'ewuula. Katonda alowooza bye nte?
\v 10 Oba atumula ku lwaisu fenka? Kubanga kyawandiikibwe ku lwaisu: kubanga alima kimugwanira okulima ng'asuubira, era n'awuula kimugwanira okuwuula ng'asuubira okuweebwaku.
\v 11 Oba nga ife twabasigiremu eby'omwoyo, kye kitalo ife bwe tulikungula ebyanyu eby'omubiri?
\v 12 Oba nga abandi balina obuyinza obwo ku imwe, ife tetusinga ibo? Naye tetwakoleserye buyinza obwo; naye tugumiinkiriza byonabyona, tulekenga okuleeta ekiziyizia enjiri ya Kristo.
\v 13 Temumaite ng'abo abaweereza ebitukuvu balya ku by'omu yeekaalu, n'abo abaweereza ku kyoto bagabana na kyoto?
\v 14 Era ne Mukama waisu atyo yalagiire ababuulira enjiri baliisibwenga olw'enjiri.
\v 15 Naye nze timbikolyanga ebyo n'ekimu: so tiwandiitire ebyo kaisi kinkolerwenga nze kityo kubanga waakiri nze okufa, okusinga omuntu yenayena okufuula okwenyumirizia kwange okw'obwereere.
\v 16 Kubanga bwe mbuulira enjiri, timba ne kyo kwenyumirizia; kubanga nina okuwalirizibwa; kubanga ginsangire, bwe ntabuulira njiri.
\v 17 Kuba oba nga nkola ntyo n'okutaka, mba n'empeera: naye oba nga tinkola no kutaka, nagisisiibwe obuwanika.
\v 18 Kale mpeera ki gye nina? Mbuulira njiri kugifuula y'obwereere, ndeke okukolesya dala obuyinza bwange mu njiri.
\v 19 Kuba waire nga ndi w'eidembe eri bonabona, neefuula mwidu eri bonabona, kaisi nfunenga abangi.
\v 20 N'eri Abayudaaya nafuukire ng'Omuyudaaya, nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nafuukire ng'afugibwa amateeka, nze mwene nga tinfugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka;
\v 21 eri ababula mateeka nafuukire ng'abula mateeka, ti butabba na mateeka eri Katonda, naye nga mpulira amateeka eri Kristo, nfunenga ababula mateeka.
\v 22 Eri abanafu nafuukire munafu, nfunenga abanafu: eri bonabona nfuukire byonabyona, mu byonabyona kaisi ndokolenga abandi.
\v 23 Era nkola byonabyona olw'enjiri, kaisi ngikiriryenga kimu mu iyo.
\v 24 Temumaite ng'abairuka mu kuwakanya bairukira dala bonabona, naye aweebwaku empeera mumu? Mwirukenga mutyo kaisi muweebwe.
\v 25 Era buli muntu awakana yeegenderezia mu byonabyona. Kale ibo bakola batyo kaisi baweebwe engule eryonooneka, naye ife etayonooneka.
\v 26 Nze kyenva ngiruka nti, ti ng'atamaite; nwana nti ti ng'akubba eibbanga:
\v 27 naye neebonerezia omubiri gwange era ngufuga: koizi nga malire okubuulira abandi, nze nzenka ndeke okubba atasiimibwa.
\c 10
\cl Ensuula 10
\p
\v 1 Kubanga tintaka imwe obutategeera, ab'oluganda, bazeiza baisu bonabona bwe babbaire wansi w'ekireri, era bonabona bwe babitire mu nyanza;
\v 2 era bonabona bwe baabatiziibwe eri Musa mu kireri no mu nyanza;
\v 3 era bonabona ne balyanga emere imu ey'omwoyo; era bonabona ne banywanga ekyokunywa ekimu eky'omwoyo:
\v 4 kubanga baanywanga mu Iwazi olw'omwoyo olwabasengereryanga: n'olwazi olwo lwabbaire Kristo.
\v 5 Naye bangi ku ibo Katonda teyabasiimire: kubanga baazikiririziibwe mu idungu.
\v 6 Naye ebyo byabbaire byokuboneraku gye tuli, tulekenga okwegomba ebibbiibi, era nga ibo bwe beegombere.
\v 7 So temubbanga basinza be bifaananyi, ng'abamu ku ibo: nga bwe kyawandiikiibwe nti Abantu ne batyama okulya n'okunywa, ne basituka okuzanya.
\v 8 Era titwendanga, ng'abamu ku ibo bwe baayendere, ne bagwa ku lunaku olumu emitwaalo ibiri mu enkumi satu.
\v 9 Era tetukemanga Mukama waisu, ng'abamu ku ibo bwe baakemere, emisota egyo ne gibaita.
\v 10 Era temwemulugunyanga, ng'abamu ku ibo bwe beemulugunyire, ne bazikirizibwa omuzikirirya.
\v 11 Naye ebyo byababbaireku abo okubbanga ebyokuboneraku; era byawandiikiibwe olw'okutulabulanga ife abatuukiibweku enkomerero gy'emirembe.
\v 12 Kale alowooza ng'ayemereire yeekuumenga aleke okugwa.
\v 13 Wabula kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabalekenga kukemebwa okusinga bwe musobola; naye awamu n'okukemebwa era yateekangawo n'obwirukiro; kaisi musobolenga okugumiinkiriza.
\p
\v 14 Kale, bagande bange, mwirukenga okusinza ebifaananyi.
\v 15 Mbakoba ng'abalina amagezi; mulowooze kye ntumula.
\v 16 Ekikompe eky'omukisa, kye tusabira omukisa, ti niikwo kwikirirya ekimu omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenyaamenya ti niikwo kwikiriya ekimu omubiri gwa Kristo?
\v 17 Kubanga ife abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu: kubanga fenafena tugabana omugaati gumu.
\v 18 Mubone Isiraeri ow'omubiri: abalya sadaaka tebaikirirya kimu ne kyoto?
\v 19 Kale ntumula ki? Ekiweebwa eri ekifaananyi nga kintu, oba ekifaananyi nga kintu?
\v 20 Naye ntumula ng'ab'amawanga bye bawaayo bawa eri balubaale, so ti eri Katonda: nzeena tintaka imwe kubbanga abaikirirya ekimu na balubaale.
\v 21 Temusobola kunywa ku kikompe kya Mukama waisu no ku kikompe kya balubaale: temusobola kugabana ku meeza ya Mukama waisu no ku meeza ya balubaale.
\v 22 Oba Mukama waisu tumukwatisia eyali? Ife tumusinga amaani?
\p
\v 23 Byonabyona bisa; naye ebisaana ti byonabyona. Byonabyona bisa, naye ebizimba ti byonabyona.
\v 24 Omuntu yenayena tasagiranga bibye yenka, wabula ebyo mwinaye.
\v 25 Buli kye batundanga mu katale, mukiryenga, nga temubwirye kigambo olw'omwoyo;
\v 26 kubanga ensi ya Mukama waisu n'okwizula kwayo.
\v 27 Omumu ku abo abataikirirya bw'abeetanga, mwena bwe mutakanga okwaba; ekiteekebwanga mu maiso ganyu mukiryenga, nga temubwirye kigambo olw'omwoyo.
\v 28 Naye omuntu bw'abakobanga nti Kino kyaweweibwe okubba sadaaka, temukiryanga ku lw'oyo akobere, n'olw'omwoyo:
\v 29 bwe ntumula omwoyo, ti gugwo iwe naye gwa gondi; kubanga eidembe lyange lwaki okusalirwa omusango n'omwoyo gwa gondi?
\v 30 Nze bwe ndya n'okwebalya, kiki ekinvumisya olw'ekyo kye neebalya?
\v 31 Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonakyona, mukolenga byonabyona olw'ekitiibwa kya Katonda.
\v 32 Temuleetanga ekyesitalya eri Abayudaaya, waire eri Abayonaani, waire eri ekanisa ya Katonda:
\v 33 era nga nzeena bwe ntasagira magoba gange nze, wabula ag'abangi; kaisi balokoke.
\c 11
\cl Ensuula 11
\p
\v 1 Munsengereryenga nze, nga nzeena bwe nsengererya Kristo.
\p
\v 2 Mbatenderezia kubanga mwijukira mu byonabyona, era munywezia bye mwaweweibwe nga bwe nabibawaire.
\v 3 Naye ntaka imwe okumanya ng'omutwe gwa buli musaiza niiye Kristo; n'omutwe gw'omukali niiye musaiza; nomutwe gwa Kristo niiye Katonda.
\v 4 Buli musaiza bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga gubikiibweku, aswaza omutwe gwe.
\v 5 Naye buli mukali bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga tegubikiibweku, aswaza omutwe gwe: kubanga niibwo bumu dala ng'amwereibwe.
\v 6 Kuba oba ng'omukali tabikibwaku, era asalibwenga enziiri: naye oba nga kya nsoni omukazi okusalibwanga enziiri oba okumwebwanga, abikibwengaku.
\v 7 Kubanga omusaiza tekimugwanira kubikibwanga ku mutwe, kubanga oyo niikyo ekifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda: naye omukali niikyo kitiibwa ky'omusaiza.
\v 8 Kubanga omusaiza teyaviire mu mukali; wabula omukali niiye yaviire mu musaiza:
\v 9 era kubanga omusaiza teyatondeibwe lwo mukali; wabula omukali olw'omusajja:
\v 10 kyekiva kigwanira omukali okubbangaku akabonero ak'okufugibwa ku mutwe gwe olwa bamalayika.
\v 11 Era naye omukali tabbaawo awabula musaiza, era omusaiza tabbaawo awabula mukali, mu Mukama waisu.
\v 12 Kuba omukali nga bwe yaviire mu musaiza, era n'omusajja atyo azaaliibwa mukali; naye byonabyona biva eri Katonda:
\v 13 Musale omusango mweena mwenka: kisaana omukali asabenga Katonda nga tabikiibweku?
\v 14 Obuzaaliranwa bwonka tebubegeresya nga omusaiza bw'akulya enziiiri gimuswaza?
\v 15 Naye omukali bw'akulya enziiri; niikyo ekitiibwa gy'ali: kubanga yaweweibwe enziri gye mu kifo ky'ebivaalo.
\v 16 Naye omuntu yenayena bw'abba ng'ataka okuleeta empaka, ife tubula empisa ng'eyo, waire ekanisa gya Katonda.
\p
\v 17 Naye bwe mbalagira kino timbatenderezia, kubanga temukuŋaana lwo busa wabula olw'obubbiibi.
\v 18 Kubanga eky'oluberyeberye, bwe mukuŋaanira mu kanisa, mpulira nga waliwo okwawukana mu imwe; era nkikiririryamu.
\v 19 Kubanga era n'okwesalamu kikugwanira okubbangamu imwe, abasiimibwa kaisi babonesebwenga mu imwe.
\v 20 Kale bwe mukuŋaanira awamu, tekisoboka okulya emere ya Mukama waisu:
\v 21 kubanga mu kulya kwanyu buli muntu asooka mwinaye okutoola emere iye yenka; n'ogondi alumwa enjala, n'ogondi atamiira.
\v 22 Kiki ekyo? Mubula nyumba gyo kuliirangamu n'okunywerangamu? Oba munyooma ekanisa ya Katonda, ne muswaza ababula nyumba? Nabakobere ntya? Naabatendereza olw'ekyo? Timbatendereza.
\v 23 Kubanga nze naweweibwe eri Mukama waisu era ekyo kye nabawaire imwe, nga Mukama waisu Yesu mu bwire budi bwe yaliirirwemu olukwe yatoire omugaati;
\v 24 ne yeebalya, n'agumenyamu, n'atumula nti Guno niigwo mubiri gwange oguli ku lwanyu: mukolenga mutyo olw'okunjijukiranga nze.
\v 25 Era n'ekikompe atyo bwe baamalire okulya, ng'atumula nti Ekikompe kino niiyo endagaano enjaaka mu musaayi gwange: mukolenga mutyo buli lwe mwanywangaku, olw'okunjijukiranga nze.
\v 26 Kubanga buli lwe mwaalyanga ku mugaati guno no lwe mwaanywanga ku kikompe, mwabonekyanga okufa kwa Mukama waisu okutuusia lw'aliiza.
\v 27 Kyayaavanga airya omusango ogw'omubiri n'omusaayi gwa Mukama waisu buli eyaalyanga ku mugaati aba eyaanywanga ku kikompe kya Mukama waisu nga tasaanire.
\v 28 Naye omuntu yeekeberenga yenka kaisi alyenga ku mugaati atyo, era anywenga no ku kikompe.
\v 29 Kubanga alya era anywa, alya era anywa musango gwe iye, bw'atayawula mubiri.
\v 30 Mu imwe kyemuviire mubbamu abangi abanafu n'abalwaire, era bangiku abagonere:
\v 31 Naye singa twesalira omusango fenka, tetwandisaliirwe musango.
\v 32 Naye bwe tusalirwa omusango, tubuulirirwa Mukama waisu, tuleke okusingibwa omusango awamu nensi.
\v 33 Kale, bagande bange, bwe mukuŋaananga okulya, mulindaganenga.
\v 34 Omuntu bw'alumwanga enjala, alyenga eika; okukuŋaana kwanyu kulekenga okuba okw'ensobi. N'ebindi ndibirongoosya, we ndiziira wonawona.
\c 12
\cl Ensuula 12
\p
\v 1 Kale, ab'oluganda, eby'ebirabo eby'omwoyo tintaka imwe obutabitegeera.
\v 2 Mumaite bwe mwabbaire ab'amawanga nga mwakyamizibwanga eri ebifaananyi ebitatumula, nga mukyamizibwa mu ngeri yonayona.
\v 3 Kyenva mbategeeza nga wabula muntu bw'atumula mu Mwoyo gwa Katonda akoba nti Yesu Akolimiirwe; so wabula muntu ayinza okutumula nti Yesu niiye Mukama waisu, wabula mu Mwoyo Omutukuvu.
\p
\v 4 Naye waliwo enjawulo gy'ebirabo, naye Omwoyo ali mumu.
\v 5 Era waliwo enjawulo gy'okuweereza, era Mukama waisu ali mumu.
\v 6 Era waliwo enjawulo gy'okukola, naye Katonda ali mumu, akola byonabyona mu bonabona.
\v 7 Naye buli muntu aweebwa okulagibwa kw'Omwoyo olw'okugasia.
\v 8 Kubanga ogondi Omwoyo amuweesia ekigambo eky'amagezi; n'ogondi aweebwa ekigambo eky'okutegeeranga, ku bw'Omwoyo oyo
\v 9 ogondi okwikirirya, ku bw'Omwoyo oyo; n'ogondi ebirabo eby'okuwonyanga, ku bw'Omwoyo mumu;
\v 10 nogondi okukolanga eby'amagero; n'ogondi okubuuliranga; n'ogondi okwawulanga emyoyo: ogondi engeri gy'enimi; n'ogondi okuvuunuzanga enimi:
\v 11 naye ebyo byonabyona Omwoyo oyo omumu niiye abikola, ng'agabira buli muntu omumu nga iye bw'ataka.
\p
\v 12 Kuba omubiri nga bwe guli ogumu ne gubba n'ebitundu ebingi n'ebitundu byonabyona eby'omubiri, waire nga bingi, niigwo mubiri ogumu; era ne Kristo atyo.
\v 13 Kubanga mu Mwoyo omumu fenafena twabatiziibwe okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baidu oba beidembe; fenafena ne tunywesebwa mu Mwoyo mumu.
\v 14 Kubanga n'omubiri ti kitundu kimu, naye bingi.
\v 15 Ekigere bwe kitumula nti Kubanga tindi mukono, tindi wo ku mubiri; olwekyo tekibba ekitali kyo ku mubiri.
\v 16 Era ekitu bwe kitumula nti Kubanga tindi liiso, tindi wo ku mubiri; olwekyo tekibba kitali kyo ku mubiri.
\v 17 Omubiri gwonagwona singa liiso, okuwulira kwandibbaire waina? Gwonagwona singa kuwulira, okuwunyirirya kwandibbaire waina?
\v 18 Naye atyanu Katonda yatekerewo ebitundu buli kimu mu mubiri, nga bwe yatakire.
\v 19 Era byonabyona singa kyabbaire kitundu kimu, omubiri gwandibaire waina?
\v 20 Naye atyanu ebitundu biri bingi, naye omubiri gumu.
\v 21 N'eriiso terisobola kukoba mukono nti iwe tinkwetaaga: oba ate omutwe okukoba ebigere nti Imwe timbeetaaga.
\v 22 Naye, ekisinga einu, ebitundu bino eby'omubiri ebirowoozebwa okubba ebinafu byetaagibwa:
\v 23 n'ebyo eby'oku mubiri bye tulowooza obutabba ne kitiibwa einu, bye tuvaalisia ekitiibwa ekisinga obungi: n'ebitundu byaisu ebitali bisa niibyo bisinga okubba n'obusa;
\v 24 naye ebisa byaisu tebyetaaga: naye Katonda yagaitiire dala wamu omubiri, ekitundu ekyabulireku ng'akiwa ekitiibwa ekisinga obusa;
\v 25 walekenga okubbaawo okwawula mu mubiri; naye ebitundu bibberaganenga bumu byonka na byonka.
\v 26 Era ekitundu ekimu bwe kibonaabona, ebitundu byonabyona bibonabonera wamu nakyo; oba ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonabyona bisanyukira wamu nakyo.
\v 27 Naye imwe muli mubiri gwa Kristo, n'ebitundu byagwo, buli muntu.
\v 28 Era Katonda yatekerewo mu kanisa abandi, okusooka batume, ab'okubiri banabbi, ab'okusatu abegeresya, ate eby'amagero, ate ebirabo eby'okuwonyanga, abayambi, abafuga, abatumuli b'enimi.
\v 29 Bonabona batume? Bonabona banabbi? Bonabona begeresi? Bonabona bakola eby'amagero?
\v 30 Bonabona balina ebirabo eby'okuwonyanga? Bonabona batumula enimi? Bonabona baavuunula?
\v 31 Naye mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu. Era mbalaga engira esinga einu obusa.
\c 13
\cl Ensuula 13
\p
\v 1 Bwe ntumula n'enimi gy'abantu negya bamalayika, naye ne ntabba no kutaka, nga nfuukire ekikomo ekivuga n'ebitaasa ebiwaawaala.
\v 2 Era bwe mba no bunabbi ne ntegeera ebyama byonabyona n'okutegeera kwonakwona; era bwe mba n'okwikirirya kwonakwona, n'okutoolawo nentoolawo ensozi; naye ne ntabba no kutaka, nga tindi kintu.
\v 3 Era bwe ngabira abaavu bye ndina byonabyona okubaliisianga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokyebwa, naye ne ntabba no kutaka, nga mbulaku kye ngasirye.
\v 4 Okutaka kuguminkiriza, kulina ekisa; okutaka tekubba n'eiyali; okutaka tekwekulumbazya, tekwegulumizya
\v 5 tekukola bitasaana, tekusagira byakwo, tekunyiiga, tekusiba obubbiibi ku mwoyo;
\v 6 tekusanyukira bitali byo butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima;
\v 7 kuguminkiriza byonabyona, kwikirirya byonabyona, kusuubira byonabyona, kuzibiinkiriza byonabyona.
\v 8 Okutaka tekuwaawo emirembe gyonagyona: naye oba bunabbi, bulivaawo; oba nimi, girikoma; oba kutegeera, kulivaawo.
\v 9 Kubanga tutegeeraku kitundu, era tulagulaku kitundu:
\v 10 naye ebituukirivu bwe biriiza, eby'ekitundu birivaawo.
\v 11 Bwe nabbaire omutomuto, natumulanga ng'omutomuto, nategeeranga ng'omutomuto, nalowoozanga ng'omutomuto: bwe nakulire, ne ndeka eby'obutobuto.
\v 12 Kubanga atyanu tubonera mu ndabirwamu ebitaboneka okusa; naye mu biseera bidi tulibonagagana n'amaiso: atyanu ntegeeraku kitundu; naye mu biseera bidi nditegeerera dala era nga bwe nategeereirwe dala.
\v 13 Naye atyanu waliwo okwikirirya, okusuubira, okutaka, ebyo byonsatu; naye ku ebyo ekisinga obukulu kutaka.
\c 14
\cl Ensuula 14
\p
\v 1 Musereryenga okutaka; naye mwegombenga ebirabo eby'omwoyo, naye ekisinga mubuulirenga.
\v 2 Kubanga atumula olulimi tatumula eri bantu, wabula Katonda; kubanga wabula awulira; naye mu mwoyo atumula byama.
\v 3 Naye abuulira atumula eri abantu ebizimba, n'ebisanyusya, n'ebigumya.
\v 4 Atumula olulimi yeezimba yenka; naye abuulira azimba ekanisa.
\v 5 Kale mbataka mwenamwena mutumulenga enimi, naye wakiri mubuulirenga: era abuulira niiye asinga obukulu atumula enimi, wabula ng'ategeezia, ekanisa kaisi ezimbibwe.
\v 6 Naye atyanu, ab'oluganda, oba nga ndiiza gye muli nga ntumula enimi, ndibagasia ntya; bwe ntalitumula naimwe oba mu kubikula, oba mu kutegeera, oba mu kubuulira, oba mu kwegeresya?
\v 7 Era n'ebitali biramu, ebireeta, eidoboozi; oba ndere, oba nanga, bwe bitaleeta kwawula mu kuvuga, kitegeerwa kitya ekifuuwibwa oba ekikubbibwa?
\v 8 Kubanga n'akagombe bwe kavuga eidoboozi eritategeerekeka, yani alyeteekateeka okulwana?
\v 9 Mutyo mweena bwe mutaaleetenga mu lulimi eidoboozi eriwulikika amangu, eritumulibwa kyategeerwanga kitya? Kubanga mulitumulira mu ibbanga.
\v 10 Koizi waliwo mu nsi engeri gy'enimi giti, so wabula ngeri ebula makulu.
\v 11 Kale bwe ntamanya makulu g'eidoboozi, ndibba ng'ajoboja eri oyo atumula, n'oyo atumula alibba ng'ajoboja eri nze.
\v 12 Mutyo mwena, kubanga mwegomba eby'omwoyo, mutakenga okweyongera olw'okuzimba ekanisa.
\v 13 Kale atumula olulimi asabenga ategeezienga.
\v 14 Kubanga bwe nsaba mu lulimi, omwoyo gwange gusaba, naye amagezi gange tegabala bibala.
\v 15 Kale kiki? Naasabyanga omwoyo, era naasabyanga n'amagezi, nayembyanga mwoyo, era nayembyanga n'amagezi.
\v 16 Kubanga bw'osaba omukisa mu mwoyo, abba mu kifo ky'oyo atamaite yairangamu atya nti Amiina olw'okwebalya kwo, bw'atategeera ky'otumwire?
\v 17 Kubanga iwe weebalya kusa, naye ogondi tazimbibwa.
\v 18 Nebalya Katonda, mbasinga mwenamwena okutumula enimi;
\v 19 naye mu kanisa ntaka okutumulanga ebigambo bitaanu n'amagezi gange, kaisi njegeresyenga n'abandi, okusinga ebigambo mutwalo gumu mu lulimi obulimi.
\p
\v 20 Ab'oluganda, temubanga baana batobato mu magezi: naye mu itima mubbenga baana bawere, naye mu magezi mubbenga bakulu.
\v 21 Kyawandiikibwe mu mateeka nti Nditumula n'abantu bano mu bantu ab'enimi egindi no mu mimwa gya banaigwanga; era waire kityo tebalimpulira, bw'atumula Mukama.
\p
\v 22 Enimi kyegiva gibba akabonero, ti eri abo abaikirirya, wabula eri abataikirirya: naye okubuulira tekubba kabonero eri abataikirirya wabula eri abaikirirya.
\v 23 Kale ekanisa yonayona bw'eba ng'ekuŋaanire wamu, bonabona ne batumula enimi, ne wayingira abatamaite oba abataikirirya, tebalikoba nti mulalukire?
\v 24 Naye bonabona bwe babuuliira, ne wayingira ataikirirya oba atamaite, anenyezebwa bonabona, asalirwa bonabona omusango;
\v 25 ebyama eby'omu mwoyo gwe bibonesebwa; era atyo alivuunama amaiso, n'asinza Katonda, ng'atumula nga Katonda ali mu imwe dala.
\p
\v 26 Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋaana, buli muntu alina olwembo, alina okwegeresya, alina ekimubikuliwe, alina olulimi, alina okutegeeza. Byonabyona bikolebwenga olw'okuzimba.
\v 27 Omuntu bw'atumulanga olulimi, batumulenga babiri oba nga bangi, basatu, era mu buwu, era omumu avuunulenga:
\v 28 naye oba nga wabula avuunula, asirikenga mu kanisa; atumulenga mu meeme ye era ne Katonda.
\v 29 Ne banabbi batumulenga babiri oba basatu, n'abandi baawulilenga.
\v 30 Naye ogondi atyaime bw'abikuliwanga, esokere asirikenga.
\v 31 Kubanga mwenamwena musobola okubuuliranga mumu, bonabona bayegenga, era bonabona basanyusibwenga;
\v 32 n'emyoyo gya banabbi gifugibwa banabbi;
\v 33 kubanga Katonda ti wo kuyoogaana, naye we mirembe; nga mu kanisa gyonagyona egy'abatukuvu.
\v 34 Abakali basirikenga mu kanisa: kubanga tebalagiirwe kutumula; naye bafugibwenga, era nga n'amateeka bwe gatumula.
\v 35 Era bwe batakanga okwega ekigambo, babuulilyenga baibawabwe eika: kubanga kye nsoni omukali okutumulanga mu kanisa.
\v 36 Oba gye muli ekigambo kya Katonda gye kyaviire? Oba kyatuukire eri imwe mwenka?
\p
\v 37 Omuntu yenayena bwe yeerowoozanga okubba nabbi oba wo mwoyo, ategeerenga bye mbawandiikira, nga niikyo ekiragiro kya Mukama waisu.
\v 38 Naye omuntu yenayena bw'atategeera, aleke okutegeera.
\p
\v 39 Kale bagande bange, mwegombenga okubuuliranga, so temwegeresyanga kutumulanga enimi.
\v 40 Naye byonabyona bikolebwenga nga bwe kisaana era mu mpisa ensa.
\c 15
\cl Ensuula 15
\p
\v 1 Kale mbategeezia, ab'oluganda, enjiri gye nababuuliire, era gye mwaweweibwe, era gye munywereramu,
\v 2 era gye mulokokeramu; mbategeezia ebigambo bye nagibuuliriiremu, oba nga muginyweza, wabula nga mwaikiriirye bwereere.
\v 3 Kubanga nasookere okubawa imwe era kye naweeweibwe, nga Kristo yafiriire olw'ebibbiibi byaisu ng'ebyawandiikiibwe bwe bitumula;
\v 4 era nga yaziikiibwe; era nga yazuukiziibwe ku lunaku olw'okusatu ng'ebyawandiikibwa bwe bitumula;
\v 5 era nga yabonekeire Keefa; kaisi n'abonekera eikumi n'ababiri;
\v 6 kaisi n'abonekera ab'oluganda abasingawo ebitaano omulundi gumu, ku abo bangi abakaali abalamu okutuusia atyanu, naye abandi bagonere;
\v 7 kaisi n'abonekera Yakobo; kaisi n'abonekera abatume bonabona;
\v 8 era oluvannyuma lwa bonabona n'abonekera nzeena ng'omwana omusowole.
\v 9 Kubanga nze ndi mutomuto mu batume, atasaanira kwetebwa mutume, kubanga nayiganyanga ekanisa ya Katonda.
\v 10 Naye olw'ekisa kya Katonda bwe ndi bwe ndi; n'ekisa kye ekyabbaire gye ndi tekyabbaire kyo bwereere; naye nakolere emirimu mingi okusinga bonabona: naye ti niinze, wabula ekisa kya Katonda ekyabbaire nanze.
\v 11 Kale oba nze oba ibo, tutyo bwe tubuulira, era mutyo bwe mwaikiriirye.
\p
\v 12 Naye Kristo bw'abuulirwa nga yazuukiziibwe mu bafu, abamu mu imwe batumula batya nga wabula kuzuukira kwa bafu?
\v 13 Naye oba nga wabula kuzuukira kwa bafu, era ne Kristo teyazuukiziibwe;
\v 14 era oba nga Kristo teyazuukiziibwe, kale okubuulira kwaisu kubulamu, so n'okwikirirya kwanyu kubulamu.
\v 15 Era naye tuboneka ng'abajulizi ab'obubbeyi aba Katonda; kubanga twategeezerye Katonda nga yazuukizirye Kristo: gw'ataazuukizirye, oba ng'abafu tebazuukiziibwe.
\v 16 Kuba oba ng'abafu tebazuukiziibwe, era ne Kristo teyazuukiziibwe:
\v 17 era oba nga Kristo teyazuukiziibwe, okwikirirya kwanyu kubulaku kye kugasa; mukaali mu bibbiibi byanyu.
\v 18 Kale era n'abo abagonere mu Kristo baabula.
\v 19 Oba nga mu bulamu buno bwonka mwe tubbeereire neisuubi mu Kristo, tuli bo kusaasirwa okusinga abantu bonabona.
\p
\v 20 Naye atyanu Kristo yazuukiziibwe mu bafu, niigwo mwaka omuberyeberye ogw'abo abagonere.
\v 21 Kubanga okufa bwe kwabbairewo ku bw'omuntu, era nokuzuukira kw'abafu kwabbairewo ku bwo muntu.
\v 22 Kuba bonabona nga bwe baafiirire mu Adamu, era batyo mu Kristo bonabona mwe balifuukira abalamu.
\v 23 Naye buli muntu mu kifo kye iye: Kristo niigwo mwaka omuberyeberye; oluvanyuma aba Kristo mu kwiza kwe.
\v 24 Enkomerero kaisi n'etuuka bw'aliwaayo obwakabaka eri Katonda niiye Itaaye; bw'alibba ng'amalire okutoolawo okufuga kwonakwona n'amaani gonagona n'obuyinza.
\v 25 Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusia lw'aliteeka abalabe be bonabona wansi w'ebigere bye.
\v 26 Omulabe ow'enkomerero alitoolebwawo, niikwo kufa.
\v 27 Kubanga kyawandiikiibwe nti Yatekere byonabyona wansi w'ebigere bye. Naye bw'atumula nti Byonabyona byatekeibwe wansi, kitegeerekeka ng'oyo teyatekeibwe wansi eyateekere byonabyona wansi we.
\v 28 Naye byonabyona bwe birimala okuteekebwa wansi we, era n'Omwana mweene kaisi nateekebwa wansi w'oyo eyateekere byonabyona wansi we, Katonda Kaisi abbenga byonabyona mu byonabyona.
\p
\v 29 Kubanga balikola batya ababatiziibwe ku lw'abafu? Oba ng'abafu tebazuukiziibwe dala, kiki ekibabatizisya ku lw'abo?
\v 30 Feena lwaki okubba mu kabbiibi buli kaseera?
\v 31 Nfa buliijo, ndayire okwenyumirizia okwo ku lwanyu, kwe ndi nakwo mu Kristo Yesu Mukama waisu.
\v 32 Oba nga nalwaine n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, ngasibwa ntya? Oba ng'abafu tebazuukiziibwe, tulye tunywe, kubanga tufa eizo.
\p
\v 33 Temubbeyebwanga: Okukwana n'ababiibi kwonoona empisa ensa.
\v 34 Mutamiirukukenga mu butuukirivu, so temwonoonanga; kubanga abandi tebategeera Katonda: ntumwire kubakwatisya nsoni.
\p
\v 35 Naye omuntu alitumula nti Abafu bazuukiziibwe batya? Era mubiri ki gwe baizire nagwo?
\v 36 Musirusiru iwe, gy'osiga tebba namu wabula ng'efa:
\v 37 ne gy'osiga, tosiga mubiri ogulibba, wabula mpeke njereere, koizi ye ŋaanu, oba ye ngeri gendi;
\v 38 naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ataka, era buli nsigo agiwa omubiri gwayo yonka.
\v 39 Enyama yonayona ti nyama imu: naye egendi ya bantu, n'egendi ye nsolo, n'egendi ye nyonyi, n'egendi ye byenyanza.
\v 40 Era waliwo emibiri egy'omu igulu n'emibiri egy'omu nsi: naye ekitiibwa eky'egy'omu igulu kindi, n'eky'egy'omu nsi kindi.
\v 41 Ekitiibwa ky'eisana kindi, n'ekitiibwa ky'omwezi kindi, n'ekitiibwa ky'emunyenye kindi: kubanga emunyenye teyekankana ginaye kitiibwa.
\v 42 Era n'okuzuukira kw'abafu kutyo. Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda:
\v 43 gusigibwa awabula kitiibwa; guzuukizibwa mu kitiibwa; gusigibwa mu bunafu; guzuukizibwa mu maani:
\v 44 gusigibwa nga mubiri gw'omwoka; guzuukizibwa mubiri gw'omwoyo. Oba nga waliwo omubiri gw'omwoka, era waliwo n'ogw'omwoyo
\v 45 Era kityo kyawandiikibwe nti Omuntu ow'oluberyeberye Adamu yafuukire mwoka mulamu. Adamu ow'oluvanyuma yafuukire mwoyo oguleeta obulamu.
\v 46 Naye eky'omwoyo tekisooka, wabula eky'omwoka; oluvannyuma kyo mwoyo.
\v 47 Omuntu ow'oluberyeberye yaviire mu nsi, w'eitakali: omuntu ow'okubiri yaviire mu igulu.
\v 48 Ng'odi ow'eitakali bwe yabbaire, era n'ab'eitakali bali batyo: era ng'odi ow'omu igulu bw'ali; era n'ab'omu igulu bali batyo.
\v 49 Era nga bwe twatwaire ekifaananyi ky'odi ow'eitakali, era tulitwala n'ekifaananyi ky'odi ow'omu igulu.
\p
\v 50 Naye kino kye ntumula, ab'oluganda, ng'omubiri n'omusaayi tebisobola kusikira bwakabaka bwa Katonda so okuvunda tekusikira obutavunda.
\v 51 Bona, mbabuulira ekyama: tetuligona feena, naye feena tulifuusibwa,
\v 52 mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, feena tulifuusibwa.
\v 53 Kubanga oguvunda guno, kigugwanira okuvaala obutavunda, n'ogufa guno okuvaala obutafa.
\v 54 Naye oguvunda guno bwe gulibba nga gumalire okuvaala obutavunda, n'ogufa guno okuvaala obutafa, ekigambo ekyawandiikiibwe kaisi ne kituukirira nti Okufa kumiriibwe mu kuwangula.
\p
\v 55 Iwe okufa, okuwangula kwo kuli waina? Iwe okufa, okuluma kwo kuli waina?
\p
\v 56 Okuluma kw'okufa niikyo kibbiibi; n'amaani g'ekibbiibi niigo mateeka:
\v 57 naye Katonda yeebazibwe, atuwangulya ife ku bwa Mukama waisu Yesu Kristo.
\v 58 Kale, bagande bange abatakibwa, mugumirenga obutasagaasagana, nga mweyongeranga buliijo mu mulimu gwa Mukama waisu, kubanga mumaite ng'okufuba kwanyu ti kwo bwereere mu Mukama waisu.
\c 16
\cl Ensuula 16
\p
\v 1 Naye okukuŋaaniryanga ebintu abatukuvu, nga bwe nalagiire ekanisa egy'e Galatiya, mweena mukolenga mutyo.
\v 2 Ku lunaku olw'oluberyeberye mu sabbiiti buli muntu mu imwe agisenga ewuwe nga bw'ayambiibwe, ebintu bireke okukuŋaanyizibwa lwe ndiiza.
\v 3 Era bwe ndituuka be mulisiima mu bbaluwa abo be ndituma okutwala ekisa kyanyu mu Yerusaalemi:
\v 4 era oba nga kirinsaanira nzeena okwaba, balyaba nanze.
\v 5 Naye ndiiza gye muli bwe ndibba nga malire okubita mu Makedoni; kubanga ndibita mu Makedoni:
\v 6 naye koizi ndityama gye muli katono (kadiidiri), oba n'okumala ndimalayo ebiseera bya maizi byonka, imwe kaisi munsibirire gye ndyaba yonayona.
\v 7 Kubanga tintaka kubabona katono (kadiidiri) nga mbita bubiti: kubanga nsuubira okulwayo katono (kadiidiri) gye muli, Mukama waisu bw'alikirirya.
\v 8 Naye ndirwayo mu Efeso okutuusia ku Pentekoote;
\v 9 kubanga olwigi olunene era olw'emirimu emingi lungiguliirwewo, era abalabe bangi.
\p
\v 10 Naye oba nga Timoseewo aliiza, mubone aibbenga gye muli awabula kutya; kubanga akola omulimu gwa Mukama waisu era nga nze:
\v 11 kale omuntu yenayena tamunyoomanga. Naye mumusibirire n'emirembe, aize gye ndi: kubanga nsuubira okumubona awamu n'ab'oluganda.
\v 12 Naye ebya Apolo ow'oluganda, namwegayiriire inu okwiza gye muli awamu n'ab'oluganda: n'atatakira dala kwiza mu kiseera kino; naye aliiza bw'alifuna eibbanga.
\p
\v 13 Mumogenga, mugumenga mu kwikiriya, mubbenga basaiza, mubbenga ba maani.
\v 14 Byonabyona bye mukola bikolebwenga mu kutaka.
\p
\v 15 Naye mbeegayirira, ab'oluganda (mumaite enyumba ya Suteefana, nga niigwo mwaka omuberyeberye ogw'omu Akaya, era nga beeteekereteekere okuweereza abatukuvu),
\v 16 mweena muwulirenga abali ng'abo, na buli muntu akolera awamu naife afuba.
\v 17 Era nsanyukira okwiza kwa Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko: kubanga ebyagotere ku lwanyu baabituukirirya.
\v 18 Kubanga baawumwirye omwoyo gwange n'ogwanyu: kale mwikiriryenga abali ng'abo.
\p
\v 19 Ekanisa egy'omu Asiya gibasugirye. Akula ne Pulisika babasugiirye inu mu Mukama waisu; n'ekanisa eri mu nyumba yaabwe.
\v 20 Ab'oluganda bonabona babasugiirye. Musugiryagane n'okunywegera okutukuvu.
\p
\v 21 Kuno niikwo kusugirya kwange Pawulo n'omukono gwange.
\v 22 Omuntu yenayena bw'atatakanga Mukama waisu, akolimirwenga. Mukama waisu aiza.
\v 23 Ekisa kya Mukama waisu Yesu Kristo kibbenga naimwe.
\v 24 Okutaka kwange kubbenga naimwe mwenamwena mu Kristo Yesu. Amiina.