lke_hab_text_reg/02/06.txt

1 line
471 B
Plaintext

\v 6 Abo bonabona tebalimugereraku lugero ne bamukokoleraku ekikooko ne batumula nti Gimusangire oyo ayalya ebyo ebitali bibye! alituusya waina? era eyeebbinika emisingo! \v 7 Tebaliyimuka nga tomanyiriire abo abalikuluma, tebalizuuka abalikweraliikirirya, naiwe n'obba munyale gye bali? \v 8 Kubanga wanyagire amawanga mangi, ekitundu kyonakyona ekifiikirewo ku mawanga balikunyaga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'ekyeju ekyagiriirwe ensi n'ekibuga ne bonabona abakibbamu.