1 line
408 B
Plaintext
1 line
408 B
Plaintext
\v 7 Yusufu n'ayambuka okuziika itaaye: ne waaba naye abaidu bonabona aba Falaawo, abakaire ab'enyumba ye n'abakaire bonabona ab'ensi y'e Misiri, \v 8 n'enyumba yonayona eya Yusufu, ne baaba be n'enyumba ya itaaye: abaana baabwe abatobato, n'entama gyabwe n'ente gyabwe ebyo byonka bye baalekere mu nsi y'e Goseni. \v 9 Ne wayambuka naye amagaali era n'abeebagaire ku mbalaasi: ne kiba ekibiina ekinene einu. |