|
\v 39 Ne wabbaawo empaka nyingi n'okwawukana ne baawukana, Balunabba n'atwala Mako n'awanika amatanga okwaba e Kupulo; \v 40 naye Pawulo n'alonda Siira, n'avaayo, ab'oluganda bwe baamusigiire ekisa kya Mukama waisu. \v 41 N'abita mu Busuuli ne Kirukiya ng'agumya ekanisa. |