\v 9 Abantu bonabona ne bamubona ng'atambula ng'atendereza Katonda, \v 10 ne bamutegeera nga niiye oyo eyatyamanga ku lwigi Olusa olwa yeekaalu okusabirizianga efeeza, ne bawuniikirira inu n'okwewuunya olw'ekyo ekimukoleibwe.