1 line
408 B
Plaintext
1 line
408 B
Plaintext
\v 7 Era ne mpulira eidoboozi nga linkoba nti Peetero, yemerera osale olye \v 8 Naye nenkoba nti Bbe, Mukama wange; kubanga ekintu eky'omuzizo waire ekibbiibi tekiyingiranga mu munwa gwange n'akatono. \v 9 Naye eidoboozi ne lingiramu omulundi ogw'okubiri nga liva mu igulu nti Katonda bye yalongooserye tobifuulanga iwe eby'omuzizo. \v 10 Ne kibba kityo emirundi isatu; byonabyona ne biniisibwa ate mu igulu. |