1 line
629 B
Plaintext
1 line
629 B
Plaintext
\v 30 Awo Koluneeriyo n’agamba nti Kaakano waakayitawo ennaku nnya nnali nga nsaba, okutuusa mu ssaawa eno okusaba okw'omu ssaawa ey'omwenda mu nnyumba yange; laba, omuntu n’ayimirira mu maaso gange eyalina engoye ezimamasa, \v 31 n'agamba nti Koluneeriyo, okusaba kwo kwawulirwa, okugaba kwo ne kujjukirwa mu maaso ga Katonda. \v 32 Kale tuma e Yopa, oyite Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero: oyo yakyazibwa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba eri okumpi n’annyanja. \v 33 Awo amangu ago ne nkutumira: n'okola bulungi bw'ozze. Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by'olagiddwa Mukama. |