\v 15 Awo oluvanyuma lw'enaku egyo ne tusitula emigugu ne tuniina e Yerusaalemi. \v 16 Era n'abayigirizwa abaviire e Kayisaliya ne baaba naife, ne baleeta omuntu Munasoni ow'e Kupulo omuyigirizwa ow'eira, ayaba okutusuzia.