\v 4 N'awakaniranga mu ikuŋaaniro buli sabbiiti, n'asendasendanga Abayudaaya n'Abayonaani. \v 5 Naye Siira no Timoseewo bwe baaviire e Makedoni, Pawulo n'awalirizibwa ekigambo, ng'ategeeza Abayudaaya nga Yesu niiye Kristo. \v 6 Bwe baamutangiire ne bamuvuma, n’akunkumula engoye gye n'abakoba nti Omusaayi gwanyu gubbe ku mitwe gyanyu: nze ndi mulongoofu: okutandiika atyanu nayaba eri ab'amawanga.