lke_act_text_reg/23/06.txt

1 line
470 B
Plaintext
Raw Permalink Normal View History

\v 6 Naye Pawulo bwe yategeire ng'ekitundu ekimu kya Basadukaayo n'eky'okubiri kya Bafalisaayo, n'atumulira waigulu mu lukiiko nti Abasaiza ab'oluganda, nze ndi Mufalisaayo mwana w'Abafalisaayo: nsalirwa omusango olw'eisuubi n'okuzuukira kw'abafu. \v 7 Bwe yatumwire atyo ne wabbaawo okutongana Abafalisaayo n'Abasadukaayo, ekibiina ne kyawukanamu. \v 8 Kubanga Abasadukaayo bakoba nti wabula kuzuukira, waire malayika, waire omuzimu: naye Abafalisaayo baatula byombiri.