\id LUK \ide UTF-8 \h Luka \toc1 Luka \toc2 Luka \toc3 luk \mt Luka \c 1 \cl Ensuula 1 \p \v 1 Bwe babbaire abangi abaatandika okuwandiika amakulu g'ebigambo ebyatuukiriziibwe mu ife, \v 2 nga bwe baabitubuuliire, abo abaasookere okuva ku luberyeberye okubba abajulirwa era abaweereza b'ekigambo, \v 3 awo bwe naliraanyizirye dala byonabyona okuva ku luberyeberye, era nzeena naboine nga kisa okukuwandiikira iwe, Teefiro omusa einu, nga bwe byaliraine; \v 4 kaisi omanye amazima g'ebigambo bye wayegereseibwe. \p \v 5 Awo mu mirembe gya Kerode, kabaka We Buyudaaya, wabbairewo kabona, eriina lye Zaakaliya, wo mu lulyo lwa Abiya: era yabbaire n'omukali ow'omu bawala ba Alooni, eriina lye Erisabesi. \v 6 N'abo bombiri babbaire batuukirivu mu maiso ga Katonda, nga batambulira mu biragiro byonabyona ne mu by'obutuukirivu ebya Mukama nga babulaku kabbiibi. \v 7 So tebabbaire no mwana, kubanga Erisabesi yabbaire mugumba, boona bombiri babbaire bakairiwire mu myaka gyabwe. \p \v 8 Awo olwatuukire, bwe yabbaire ng'akola omulimu ogw'obwa kabona mu maiso ga Katonda ng'oluwu lwe bwe lwaliraine, \v 9 awo akalulu ne kamugwaku ng'empisa ez'obwa kabona bwe gyabbaire okuyingira mu yeekaalu ya Mukama okwotererya obubaani. \v 10 Awo ekibiina kyonakyona eky'abantu kyabbaire nga kisabira wanza mu kiseera eky'okwotereryamu. \v 11 Awo malayika wa Mukama n'amubonekera ng'ayemereire ku luuyi olw muliiro olw'ekyoto eky'okwotereryaku. \v 12 Awo Zaakaliya bwe yamuboine ne yeeraliikirirya, n'atya. \v 13 Naye malayika n'amugamba nti Totya, Zaakaliya; kubanga okwegayirira kwo kuwuliirwe, mukazi wo Erisabesi alikuzaalira omwana ow'obulenzi, olimutuuma eriina Yokaana. \v 14 Olisanyuka, era olijaguza, era bangi abalisanyukira okuzaalibwa kwe. \v 15 Kubanga aliba mukulu mu maiso ga Mukama, so talinywa mwenge waire ekitamiilya; era alijjuzulibwa Omwoyo Omutukuvu, okuva mu kida kya maye. \v 16 Era bangi mu baana ba Isiraeri alibairya eri Mukama Katonda waabwe. \v 17 Alibatangira mu maiso ge: mu mwoyo n'amaani ge Eriya aliryawo emyoyo gya bazeiza eri abaana, n'abatawulira okutambuliranga mu magezi g'abatuukirivu; okutegekera Mukama abantu abateekeibweteekeibwe. \p \v 18 Awo Zaakaliya n'akoba malayika nti Nakimanyire ntya ekyo? Kubanga nze ndi mukaire, no mukali wange akairikire mu myaka gye. \v 19 Awo malayika n'airamu n'amukoba nti Ninze Gabulyeri, ayemerera mu maiso ga Katonda; era natumiibwe okutumula naiwe n'okukukobera ebigambo ebyo ebisa. \v 20 Kale, bona, olisirika era nga tosobola kutumula, okutuusia ku lunaku lwe biribbaawo ebyo, kubanga toikirirye bigambo byange, ebirituukirizibwa mu kutuuka kwabyo. \v 21 Awo abantu babbaire balindirira Zaakaliya, ne beewuunya bw'alwire mu yeekaalu. \v 22 Awo bwe yafulumire n'atasobola kutumula nabo: ne bategeera nti aboine okwolesebwa mu yeekaalu: n'alwawo ng'abawenya n'omukono ng'akaali asiriwaire. \v 23 Awo olwatuukire, enaku egy'okuweereza kwe bwe gyaweireyo, n'airayo eika ewuwe. \p \v 24 Awo enaku egyo bwe gyabitirewo omukali we Erisabesi n'abba ekida: ni yegisirara emyezi itaanu, ng'akoba nti \v 25 Atyo Mukama bw'ankolere mu naku gye yaningiririremu okuntoolaku ensoni mu bantu. \p \v 26 Awo mu mwezi ogw'omukaaga malayika Gabulyeri n'atumibwa Katonda mu kibuga eky'e Galiraaya eriina lyakyo Nazaaleesi, \v 27 eri omuwala atamaite musaiza eyabbaire ayogerezeibwe omusaiza eriina lye Yusufu ow'omu nyumba ya Dawudi; n'eriina ly'omuwala Malyamu. \v 28 Awo n'ayingira omumwe, n'akoba nti Mirembe iwe aweweibwe einu ekisa, Mukama ali naiwe. \v 29 Naye iye ne yeeraliikirira ekigambo ekyo, n'alowooza okulamusa okwo bwe kuli. \v 30 Awo malayika n'amukoba nti Totya, Malyamu; kubanga oboine ekisa eri Katonda. \v 31 Era, bona, olibba kida, olizaala omwana ow'obulenzi, olimutuuma eriina Yesu. \v 32 Oyo alibba mukulu, alyetebwa Mwana w'Oyo Ali waigulu einu. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi zeizawe: \v 33 era yafuganga enyumba ya Yakobo emirembe n'emirembe, so obwakabaka bwe tebuliwaawo. \p \v 34 Awo Malyamu n'akoba malayika nti Kiribba kitya ekyo, kubanga timaite musaiza? \p \v 35 Ne malayika n'airamu n'amukoba nti Omwoyo Omutukuvu alikwizira, n'amaanyi g'Oyo Ali waigulu einu galikusiikirizia: era ekyo ekirizaalibwa kyekiriva kyetebwa ekitukuvu, omwana wa Katonda. \v 36 Bona, Erisabesi mugande wo, era iye ali kida kyo mwana wo bulenzi mu bukaire bwe; guno niigwo mwezi gwe ogw'omukaaga eyayetebwanga omugumba. \v 37 Kubanga wabula kigambo ekiva eri Katonda kiribulwa maani. \p \v 38 Malyamu n'akoba nti Bona, nze ndi muzaana wa Mukama; kibbe ku nze nga bw'okobere. Awo malayika n'ava gy'ali. \p \v 39 Awo mu naku egyo Malyamu n'ayimuka n'ayaba mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga kya Yuda; \v 40 n'ayingira mu nyumba ya Zaakaliya n'alamusa Erisabesi. \v 41 Awo olwatuukire Erisabesi bwe yawuliire okulamusa kwa Malyamu, omwana n'abuukabuuka mu kida kye; Erisabesi n'aizulibwa Omwoyo Omutukuvu; \v 42 n'atumulira waigulu n'eidoboozi inene n'akoba nti Oweweibwe omukisa iwe mu bakali, n'ekibala eky'omu kida kyo kiweweibwe omukisa. \v 43 Nzeena kale ekigambo kino kiviire wa, maye wa Mukama wange okwiza gye ndi? \v 44 Kubanga bona, eidoboozi ly'okusugirya kwo bwe liyingiire mu matu gange, omwana n'abuukabuuka mu kida kyange, olw'eisanyu. \v 45 Aweweibwe omukisa eyaikirirye; kubanga birituukirizibwa ebyo bye wakobeibwe Mukama. \p \v 46 Malyamu n'akoba nti Emeeme yange etendereza Mukama, \v 47 N'omwoyo gwange gusanyukiire Katonda Omulokozi wange. \q \v 48 Kubanga aboine obunaku bw’omuzaana we: Kubanga, bona, okusooka atyanu ab’emirembe gyonagyona banjetanga Aweweibwe omukisa. \q \v 49 Kubanga Omuyinza ankoleire ebikulu; N'eriina ly'eitukuvu. \q \v 50 N'ekisa kye kiri mu bamutya; Emirembe n'emirembe. \q \v 51 Alagire amaani n'omukono gwe; Asaansaanyirye abalina amalala mu kuteerera kw'omu mwoyo gyabwe. \q \v 52 Abbingire abafuzi abeekudumbalya ku ntebe gyabwe, Agulumizirye abeetoowazia. \q \v 53 Abalina enjala abaikutirye ebisa; N'abagaiga ababbingire nga babula kintu. \q \v 54 Abbereire Isiraeri omwidu we Aijukire ekisa kye. \q \v 55 (Nga bwe yakobere bazeiza baisu) Eri Ibulayimu n'eizaire lye, emirembe gyonagyona. \p \v 56 Awo Malyamu n'amalayo emyezi ng'aisatu, n'aira ewuwe. \p \v 57 Awo ebiseera bya Erisabesi ne bituuka okuzaala: n'azaala omwana wo bulenzi. \v 58 Abaliraanwa be n'ab'ekika kye ne bawulira nga Mukama amugulumiririzirye ekisa kye, ne basanyukira wamu naye. \p \v 59 Awo olwatuukire ku lunaku olw'omunaana, ne baiza okukomola omwana; babbaire bataka okumutuuma eriina lya Itaaye Zaakaliya. \v 60 Maye n'airamu nakoba nti Bbe, yeena anaatuumibwa Yokaana. \v 61 Ne bamukoba nti Wabula wo mu kika kyo ayetebwa eliina eryo. \v 62 Ne bawenya Itaaye, bw'ataka okumutuuma. \v 63 N'ataka ekipande eky'okuwandiikaku, n'awandiika, n'akoba nti Eriina lye Yokaana. Ne beewuunya bonnabona. \v 64 Amangu ago omunwa gwe ne kazibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'atumula nga yeebalya Katonda. \v 65 Bonnabona ababbaire balirainewo ne batya. N'ebigambo ebyo byonabyona ne bibuna mu nsi yonayona ey'ensozi ey'e Buyudaaya. \v 66 Ne bonnabona abaabuwuliire ne babiteeka mu myoyo gyabwe, ne bakoba nti Kale omwana oyo alibba ki? Kubanga omukono gwa Mukama gwabbaire wamu naye. \p \v 67 Itaaye Zaakaliya n'aizulibwa Omwoyo Omutukuvu, n'alagula, ng'akoba nti \v 68 Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri; Kubanga akyaliire abantu be, era abanunwire, \v 69 Era atuyimusirye eiziga ery'obulokozi Mu nyumba y'omwidu we Dawudi. \q \v 70 (Nga bwe yatumuliire mu munwa gwa banabbi be abatukuvu, ababbairewo kasookedde ensi ebbaawo), \v 71 Okulokolebwa mu balabe baisu; no mu mikono gy'abo bonnabona abatukyawa; \v 72 Okutuukirirya ekisa kye yasuubizirye bazeiza baisu, N'okwijukira endagaanu ye entukuvu. \q \v 73 Okutuukirirya ekirayiro kye yalayiriire Zeiza waisu Ibulayimu, \v 74 Okukituwa ife; ife bwe tulokolebwa mu mikono gy'abalabe baisu, Kaisi tumuweereze nga tubulaku kye tutya, \v 75 Mu butukuvu no mu butuukirivu mu maiso ge enaku gyaisu gyonagyona. \q \v 76 Weena, omwana, okyetebwa naabbi w'Oyo Ali waigulu einu: Kubanga olitangira Mukama okulongoosia amangira ge; \v 77 Okumyansia abantu be obulokozi, Ebibbiibi byabwe bibatoolebweku \v 78 Olw'ekisa kya Katonda waisu ekisa eŋamba kyeviire etusalira eva mu igulu, \v 79 Okwakira abatyama mu ndikirirya, no mu kiwolyo ky'olumbe, Okuluŋamya ebigere byaisu mu ngira ey'emirembe. \p \v 80 Omwana n'akula, n'ayongerwaku amaani mu mwoyo; n'abba mu malungu okutuusia ku lunaku lwe yayoleseibwe eri Isiraeri. \c 2 \cl Ensuula 2 \p \v 1 Awo olwatuukire mu naku egyo eiteeka ne liva eri Kayisaali Augusito ab'ensi gyonagyona okuwandiikibwa. \v 2 Okwo niikwo kuwandiikibwa okwasookere okubbaawo Kuleniyo bwe yabbaire nga niiye afuga Obusuuli. \v 3 Bonnabona ne baaba okwewandiika, buli muntu mu kibuga kyabwe. \v 4 No Yusufu n'ava e Nazaaleesi mu kibuga eky'e Galiraaya, n'aniina e Buyudaaya, okwaba mu kibuga kya Dawudi, ekyetebwa Besirekemu, kubanga yabbaire wo mu nyumba era wo mu kika kya Dawudi, \v 5 yeewandiike no Malyamu, gwe yabbaire ayogereza, ng'ali kida. \v 6 Awo olwatuukire baabbaire bali eyo, enaku gye egy'okuzaala ne gituuka. \v 7 N'azaala omwana we omuberyeberye; n'amubiika mu ngoye egy'obwana obuwere n'amuzazika mu kisibo, kubanga tebaboine ibbanga mu kisulo ky'abageni. \p \v 8 Wabbairewo abasumba mu nsi eyo abaatyamanga ku itale, nga bakuuma ekisibo kyabwe obwire mu mpalo. \v 9 Awo malayika wa Mukama n'ayemerera we babbaire, n'ekitiibwa kya Mukama ne kibeetooloola nga kimasiamasia, ne batya inu. \v 10 Malayika n'abakoba nti Temutya; kubanga, bona, mbaleetera ebigambo ebisa eby'eisanyu eringi eririba eri abantu bonnabona: \v 11 kubaaga atyanu azaliibwe gye muli Omulokozi mu kibuga kya Dawudi, niiye Kristo Mukama waisu. \v 12 Kano niiko kabonero gye muli; mwabona omwana omuwere ng'abiikibwe mu ngoye ez'obwana obuwere ng'azazikiibwe mu kisibo. \v 13 Awo amangu ago wabbairewo na ba malayika obo bangi ab'omu igye ery'omu igulu nga batendereza Katonda, nga bakoba nti \v 14 Ekitiibwa kibbe eri Katonda waigulu einu; No mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa. \p \v 15 Awo olwatuukire, bamalayika bwe baaviire gye babbaire okwaba mu igulu, abasumba ne bakobagana nti Kale twabe e Besirekemu tubone ekigambo kino ekibbaireyo, Mukama ky'atutegeezerye. \v 16 Ne baiza mangu, ne babona Malyamu no Yusufu n'omwana omuwere ng'azazikiibwe mu kisibo. \v 17 Awo bwe bababoine, ne bategeeza ekigambo kye baabuuliirwe ku mwana oyo. \v 18 Bonnabona abaawuliire ne beewuunya ebyo abasumba bye baababuuliire. \v 19 Naye Malyamu ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonabyona, ng'abirowooza mu mwoyo gwe. \v 20 Awo abasumba ne bairayo, nga bagulumiza nga batendereza Katonda olw'ebigambo byonabyona bye baawuliire, bye baboine, nga bwe baabuuliirwe. \p \v 21 Awo enaku Omunaana bwe gyatuukire ez'okumukomoleramu, n'atuumibwa eriina lye Yesu, lidi eryatumwirwe malayika nga akaali kubba mu kida. \p \v 22 Awo enaku bwe zaatuukire ez'okulongooka kwabwe ng'amateeka ga Musa bwe gali, ne bamutwala ne bamwambukya e Yerusaalemi: okumwanjulira Mukama \v 23 (nga bwe kyawandiikiibwe mu mateeka ga Mukama nti Buli kisaiza ekigula kida kyayetebwanga kitukuvu eri Mukama), \v 24 n'okuwaayo sadaaka nga bwe kyatumwirwe mu mateeka ga Mukama, bukaamukuukulu bubiri, oba obuyemba obutobuto bubiri. \v 25 Era, bona, waaliwo omuntu mu Yerusaalemi eriina lye Simyoni, omuntu oyo yabbire mutuukirivu, era atya Katonda, ng'alindirira okusanyusibwa kwa Isiraeri: era Omwoyo Omutukuvu yabbaire ku iye. \v 26 Oyo yabikuliirwe Omwoyo Omutukuvu nti talibona kufa nga akaali kubona ku Kristo wa Mukama. \v 27 N'aizira mu Mwoyo mu yeekaalu: abakaire be bwe bayingiirye omwana Yesu okumukola nga bw'eri empisa y'amateeka, \v 28 awo iye n'amukwata mu mikono gye, ne yeebalya Katonda n'akoba nti \v 29 Mukama wange, atyanu osebule omwidu wo Emirembe, ng'ekigambo kyo bwe kyali. \q1 \v 30 Kubanga amaiso gange gaboine obulokozi bwo, \v 31 Bwe wateekereteekere mu maiso g'abantu bonnabona: \v 32 Okubba omusana ogw'okumulisia amawanga, N'okubba ekitiibwa ky'abantu bo Isiraeri. \p \v 33 Kitaaye no maye ne beewuunyanga ebigambo ebyo ebyamutumwirweku; \v 34 awo Simyoni n'abasabira omukisa, n'akoba Malyamu maye nti bona, ono ateekeibwewo bangi mu Isiraeri bagwenga bayemererenga, n'okubba akabonero akavumibwa; \v 35 era iwe ekitala kirikusumita mu meeme; ebirowoozo eby'emyoyo emingi kaisi bibikulwe. \v 36 Awo wabbairewo Ana, nabbi omukali, omuwala wa Fanweri, ow'omu kika kya Aseri (yabbaire Yaakamala emyaka mingi, yabbaire n'oibaye emyaka musanvu okuva mu butobuto bwe, \v 37 naye yabbaire namwandu nga yaakamala emyaka kinaana n'eina), ataavanga mu Yeekaalu, ng'asinza n'okusiibanga n'okwegayiriranga ebwire n'emisana. \v 38 Oyo bwe yazire mu kiseera ekyo ne yeebalya Katonda, n'abuulira ebigambo bye eri bonnabona ababbaire balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi. \v 39 Awo bwe baamalire okutuukirirya byonabyona ebiri mu mateeka ga Mukama, ne bairayo e Galiraaya mu kibuga ky'ewaabwe Nazaaleesi. \p \v 40 Awo omwana n'akula, n'ayongerwaku amaani, n'aizulibwa amagezi: ekisa kya Katonda ne kibbanga ku iye. \p \v 41 Awo bakaire be bayabanga e Yerusaalemi buli mwaka ku mbaga ey'Okubitako. \v 42 Awo bwe yabbaire Yaakamala emyaka ikumi n'ebiri, ne bayambuka nga bw'eri empisa y'embaga: \v 43 awo bwe baatuukirye enaku gyabwe, babbaire nga bairayo, omwana oyo yesu n'asigala mu Yerusaalemi, na bakaire be ne batamanya; \v 44 naye bwe baalowoozere ng'ali mu kisinde kyabwe, ne batambula olugendo lwa lunaku lumu, ne bamusagira mu bagande baabwe no mu mikwanu gyabwe: \v 45 bwe bataamuboine ne bairayo e Yerusaalemi, nga bamusagira. \v 46 Awo olwatuukire bwe waabitirewo enaku isatu ne bamusanga mu yeekaalu, ng'atyaime wakati mu begeresya, ng'abawulisisya, ng'ababuulya \v 47 bonnabona abaamuwuliire ne bawunikirira olw'amagezi ge n'okwiramu kwe. \v 48 Awo bwe baamuboine ne basamaalirira: maye n'amukoba nti Mwana wange, kiki ekikukoleserye iwe otyo? Bona, kitaawo nanze twakusagiire nga tunakuwaire. \v 49 N'abakoba nti Mwansagiriire ki? Temwamanyire nga kiŋwaniire okubba mu bigambo bya Itawange? \v 50 Ne batategeera kigambo ekyo kye yabakobere. \v 51 N'aserengeta nabo n'aiza e Nazaaleesi, n'abagonderanga: maye ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonabyona mu mwoyo gwe. \p \v 52 Awo Yesu ne yeeyongerangaku amagezi n'okukula, ne mu kisa eri Katonda n'eri abantu. \c 3 \cl Ensuula 3 \p \v 1 Awo mu mwaka ogw'eikumi n'eitaanu ku mirembe gya Tiberiyo Kayisaali, Pontiyo Piraato bwe yabbaire nga niiye weisaza ly'e Buyudaaya, no Kerode bwe yabbaire nga niiye afuga e Galiraaya, no Firipo mugande bwe yabbaire nga niiye afuga Ituliya n'ensi ey'e Tirakoniti, ne Lusaniya bwe yabbaire nga niiye afuga Abireene; \v 2 no Ana no Kayaafa bwe babbaire nga niibo bakabona abasinga obukulu, ekigambo kya Katonda ne kizira Yokaana omwana wa Zaakaliya, mu idungu. \v 3 N'aiza mu nsi yonayona eriraine Yoludaani, ng'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okutoolebwaku ebibbiibi; \v 4 nga bwe kyawandiikiibwe mu kitabo eky'ebigambo bya nabbi Isaaya nti Eidoboozi ly'oyo atumulira waigulu mu idungu nti mulongoosie oluguudo lwa Mukama, Muluŋamye amangira ge. \q1 \v 5 Na buli lusozi n'akasozi biritereezebwa: N'ekikyamire kirigololwa, N'amangira agatali masende galitereezebwa; \v 6 N'abalina omubiri bonabona balibona obulokozi bwa Katonda. \p \v 7 Awo n'akoba ebibiina ebyafulumanga okubatizibwa iye nti Imwe abaana b'emisota, yani eyabalabwire okwiruka obusungu obwaba okwiza? \v 8 Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kutumula mukati mwanyu nti Tulina zeiza niiye Ibulayimu: kubanga mbakoba nti Katonda asobola amabbaale gano okugafuuliranga Ibulayimu abaana. \v 9 Ne Atyanu empasa eteekeibwe ku kikolo ky'emisaale kale buli musaale ogutabala bibala bisa gutemebwa, gusuulibwa mu musyo. \p \v 10 Ebibiina ne bamubuulya nga bakoba nti Kale tukole ki? \p \v 11 N'airamu n'abakoba nti Alina ekanzo eibiri, amuweeku eimu abula, n'alina emere akole atyo. \p \v 12 N'abawooza ne baiza okubatizibwa, ne bamukoba nti Omuyigiriza tukole ki? \p \v 13 N'abakoba nti Temusoloozianga kusukirirya okusinga bwe mwalagiirwe. \p \v 14 Era basirikale ne bamubuulya, nga bakoba nti Feena tukole ki? N'abakoba nti Temujooganga muntu so temukakanga; era empeera yanyu ebamalenga. \p \v 15 Awo abantu bwe babbaire nga basuubira, era bonabona nga balowooza ebigambo bya Yokaana mu myoyo gyabwe oba nga koizi niiye Kristo; \v 16 Yokaana n'airamu n'akoba bonabona nti Mazima nze mbabatiza n'amaizi; naye aiza y'ansinga amaani, so nzeena timsaanira kusumulula lukoba lwe ngaito gye: niiye alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omusyo: \v 17 olugali niirwo luli mu mukono gwe, okulongoosia einu eiguuliro lye, n'okukuŋaanyirya eŋaanu mu kideero kye; naye ebisusunku alibyokya n'omusyo ogutazikira. \p \v 18 Era n'ababuulirira ebindi bingi ng'abuulira abantu ebigambo ebisa; \v 19 naye Kerode owiesaza, bwe yamunenyere olwa Kerodiya muka mugande, n'olw'ebigambo ebibbiibi byonabyona Kerode bye yakolere, \v 20 ate ku ebyo byonabyona n'ayongeraku kino, n'akwata Yokaana n'amuteeka mu ikomera. \p \v 21 Awo olwatuukire, abantu bonabona bwe babbaire nga babatizibwa, no Yesu bwe yamalire okubatizibwa, bwe yasabire, eigulu ne libikkuka. \v 22 Omwoyo Omutukuvu n'aika ku iye mu kifaananyi eky'omubiri ng'eiyeba, n'eidoboozi ne lifuluma mu igulu nti Niiwe mwana wange omutakibwa; nkusanyukira inu. \p \v 23 Era Yesu mwene, bwe yasookere okwegeresya, yabbaire yaakamala emyaka nga asatu nga niiye mwana (nga bwe yalowoozeibwe) owa Yusufu, mwana wa Eri, \v 24 mwana wa Matati, mwana wa Leevi, mwana wa Mereki, mwana wa Yanayi, mwana wa Yusufu, \v 25 mwana wa Mattasiya, mwana wa Amosi, mwana wa Nakumu, mwana wa Esuli, mwana wa Nagayi, \v 26 mwana wa Maasi, mwana wa Matasiya mwana wa Semeyini, mwana wa Yoseki, mwana wa Yoda, \v 27 mwana wa Yokanaani, mwana wa Lesa, mwana wa Zerubaberi, mwana wa Seyalutiyeeri, mwana wa Neeri, \v 28 mwana wa Mereki, mwana wa Addi, mwana wa Kosamu, mwana wa Erumadamu, mwana wa Eri, \v 29 mwana wa Yesu, mwana wa Eryeza, mwana wa Yolimu, mwana wa Matati, mwana wa Leevi, \v 30 mwana wa Simyoni, mwana wa Yuda, mwana wa Yusufu, mwana wa Yoaamu, mwana wa Eriyakimu, \v 31 mwana wa Mereya, mwana wa Mena, mwana wa Matasa, mwana wa Nasani, mwana wa Dawudi, \v 32 mwana wa Yese, mwana wa Obedi, mwana wa Bowaazi, mwana wa Salumooni, mwana wa Nakusoni, \v 33 mwana wa Aminadaabu, mwana wa Aluni, mwama wa Kezulooni, mwana wa Pereezi, mwana wa Yuda, \v 34 mwana wa Yakobo, mwana wa Isaaka, mwana wa Ibulayimu, mwana wa Teera, mwana wa Nakoli, \v 35 mwana wa Serugi, mwana wa Lewu, mwana wa Peregi, mwana wa Eberi, mwana wa Sera, \v 36 mwana wa Kayinaani, mwana wa Alupakusaadi, mwana wa Seemu, mwana wa Nuuwa, mwana wa Lameki; \v 37 mwana wa Mesuseera, mwana wa Enoki, mwana wa Yaledi, mwana wa Makalaleeri, mwana wa Kayinaani, \v 38 mwana wa Enosi, mwana wa Seezi, mwana wa Adamu, mwana wa Katonda. \c 4 \cl Ensuula 4 \p \v 1 Awo Yesu bwe yazwire Omwoyo Omutukuvu n'aira ng'ava ku Yoludaani, Omwoyo n'amutwala mu idungu, \v 2 n'amalayo enaku ana, ng'akemebwa Setaani. So tiyalyanga kintu mu naku egyo; awo bwe gyaweire, enjala n'emuluma. \v 3 Setaani n'amukoba nti Oba oli Mwana wa Katonda, koba eibbaale lino lifuuke emmere. \p \v 4 Yesu n'amwiramu nti Kyawandiikiibwe nti Omuntu tabbenga mulamu na mere yonka. \p \v 5 N'amuniinisia; n'amulaga obwakabaka bwonabwona obw'omu nsi mu kaseera katono. \v 6 Setaani n'amukoba nti Naakuwa iwe obuyinza buno bwonabwona, n'ekitiibwa kyamu; kubanga naweweibwe nze: era ngabira buli gwe ntaka. \v 7 Kale bw'ewansinza mu maaio gange, buno bwonabwona bwabba bubwo. \p \v 8 Yesu n'airamu n'amukoba nti Kyawandiikiibwe nti Osinzanga Mukama Katonda wo, gw'ewaweerezanga yenka. \p \v 9 N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya yeekaalu, n'amukoba nti Oba oli Mwana wa Katonda, yemerera wano, weesuule wansi; \v 10 kubanga Kyawandiikiibwe nti Alikulagiririrya bamalayika be bakukuumire dala; \v 11 Era nti Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleke okwesitala ekigere kyo ku ibbaale. \p \v 12 Yesu n'airamu n'amugamba nti Kyatumwirwe nti Tokemanga Mukama Katonda wo. \p \v 13 Setaani bwe yamalire buli kikemo n'amulekaku ekiseera. \p \v 14 Awo Yesu n'aira e Galiraaya mu maani ag'Omwoyo: eitutumu lye ne lyaba nga libuna mu nsi gyonagyona egirirainewo. \v 15 N'ayegeresyanga mu makuŋaaniro gaabwe bonabona nga bamutendereza. \p \v 16 N'aiza e Nazaaleesi gye yajuliire; ku lunaku olwa sabbiiti n'ayingira mu ikuŋaaniro nga bwe yabbaire empisa ye, n'ayemerera okusoma. \v 17 Ne bamuwa ekitabo kya nabbi Isaaya, n'abikkula ekitabo, n'abona ekitundu awawandiikiibwe nti \v 18 Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, Kubanga yanfukireku amafuta okubuulira abaavu ebigambo ebisa: Antumire okutendera abanyage okulekulibwa, N'okuzibula abazibe b'amaiso, Okubalekula ababetenteibwe, \v 19 Okutendera omwaka gwa Mukama ogwaikiriziibwe. \p \v 20 N'abikaku ekitabo, n'akirirya omuweereza n'atyama; abantu bonabona ababbaire mu ikuŋaaniro ne bamusimbaku amaiso. \v 21 N'atandiika okubakoba nti Atyanu ebyawandiikibwa bino bituukiriire mu matu ganyu: \v 22 Bonabona ne bamwetegerezia, ne beewuunya olw'ebigambo eby'ekisa ebiviire mu munwa gwe: ne bakoba nti Ono ti niiye Omwana wa Yusufu? \p \v 23 N'abakoba nti Temulireka kunkoba lugero luno nti Omusawo, weewonye wenka: byonabyona bye twawuliire nga bikolerwa e Kaperunawumu, bikolere na wano mu kyalo kyanyu. \v 24 N'akoba nti Mazima mbagamba nti wabula nabbi aikirizibwa mu kyalo kyabwe. \v 25 Naye mazima mbakoba nti Wabbairewo banamwandu bangi mu Isiraeri mu biseera bya Eriya, eigulu lwe lyaigaliirwe emyaka isatu ne emyezi mukaaga, enjala nyingi bwe yagwire ku nsi yonayona; \v 26 Eriya teyatumiibwe eri omumu ku ibo wabula e Zalefasi, mu nsi ya Sidoni, eri omukali namwandu. \v 27 Era waaliwo abantu bangi abagenge mu Isiraeri mu biseera bya Erisa nabbi; wabula n'omumu ku ibo eyalongooseibwe, wabula Naamani yenka Omusuuli. \v 28 Ne baizula obusungu bonabona ababbaire mu ikuŋaaniro bwe baawuliire ebigambo ebyo; \v 29 ne bayimuka, ne bamusindikira ewanza w'ekibuga ne bamutwala ku ibbanga ly'olusozi lwe baakubbireku ekibuga kyabwe, bamusuule wansi. \v 30 Naye n'ababitamu wakati n'ayaba. \p \v 31 N'aserengeta e Kaperunawumu, ekibuga eky'e Galiraaya: n'abegeresianga ku lunaku olwa sabbiiti: \v 32 ne bawuniikirira olw'okwegeresya kwe, kubanga ekigambo kye ky'abbaire n'obuyinza. \v 33 Awo mu ikuŋaaniro mwabbairemu omuntu eyabbaire ku dayimooni; n'akunga n'edoboozi inene \v 34 nti Woowe, Otuvunaana ki iwe, Yesu Omunazaaleesi? Oizire kutuzikirirya? Nkumaite iwe bw'oli, Omutukuvu wa Katonda. \p \v 35 Yesu n'amubbinga ng'akoba nti Sirika, muveeku. Dayimooni bwe yamuswire wakati n'amuvaaku nga tamukolere kabbiibi. \p \v 36 Okuwuniikirira ne kubakwata bonnabona ne beebuukyagana bonka na bonka nga bakoba nti Kigambo ki kino? Kubanga alagira n'obuyinza n'amaani badayimooni ne bavaaku. \v 37 Etutumu lye ne lyatiikirira mu buli kifo eky'ensi erirainewo. \p \v 38 N'ayimuka n'ava mu ikuŋaaniro n'ayingira mu nyumba ya Simooni. Awo maye wa muka Simooni yabbaire ng'akwatiibwe omusuja mungi, ne bamwegayirira ku lulwe. \v 39 N'ayimirira w'ali, n'aboggolera omusuja; ne gumuwonaku amangu ago n'agolokoka n'abaweereza. \p \v 40 Awo eisana bwe lyabbaire ligwa, bonabona ababbaire abalwaire ab'endwaire ezitali gimu ne babamuleetera, buli mumu ku abo n'amuteekaku emikono gye, n'abawonya. \v 41 Na badayimooni ne babavaaku bangi, ne bakunga nga bakoba nti Iwe oli Mwana wa Katonda: N'ababoggolera, n'atabaganya kutumula, kubanga baamanyire nga Niiye Kristo: \v 42 Awo obwire bwe bwakyeire, n'avaayo n'ayaba mu kifo ebula bantu: ebibiina ne bimusaagira ne baiza w'ali, ne bataka okumugaana aleke okubavaaku. \v 43 Naye n'abakoba nti Kiŋwaniire okubuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda no mu bibuga ebindi; kubanga kye kyantumirye. \p \v 44 Awo nabuuliranga mu makuŋaaniro g'e Galiraaya. \c 5 \cl Ensuula 5 \p \v 1 Awo olwatuukire ebibiina bwe byamunyigirirye ne bawulira ekigambo kya Katonda, iye yabbaire ng'ayemereire ku nyanza y'e Genesaleeti; \v 2 n'abona amaato mabiri nga gali ku nyanza: naye abavubi baabbaire bagaviiremu nga bayozia ebutiimba bwabwe. \v 3 N'asaabalaku eryato erimu, eryabbaire erya Simooni; n'amukoba okulisemberyayo katono okuva ku itale. N'atya n'ayegeresya ebibiina mu lyato. \v 4 Bwe yabbaire ng'amalire okutumula, n'akoba Simooni nti Sembera ebuliba, musuule obutiimba bwanyu, muvube. \p \v 5 Simooni n'airamu n'akoba nti Omwami, twateganire okukyesia obwire ne tutakwatisia kintu: naye olw'ekigambo kyo naasuula obutiimba. \v 6 Awo bwe baakolere batyo, ne bakwatisia ebyenyanza bingi inu kimu; obutiimba bwabwe ne butaka okukutuka; \v 7 ne bawenya bainaabwe mu lyato erindi, baize babayambe. Ne baiza ne baizulya amaato gombiri, n'okwika ne gataka okwika. \v 8 Naye Simooni Peetero, bwe yaboine, n'avuunama ku bigere bya Yesu, n'akoba nti Ndeka; kubanga ndi muntu alina ebibbiibi, Mukama wange. \v 9 Kubanga yawuniikiriire ne bonabona ababbaire naye olw'ebyenyanza ebingi bye baakwatisirye; \v 10 no Yakobo no Yokaana boona batyo, abaana ba Zebbedaayo, ababbaire baikirirya ekimu no Simooni. Yesu n'akoba Simooni nti Totya: okusooka atyanu wavubanga abantu. \v 11 Awo bwe baagoberye amaato gaabwe eitale, ne baleka byonabyona, ne baaba naye. \p \v 12 Awo olwatuukire bwe yabbaire mu kibuga kimu mu ebyo, bona, wabbairewo omuntu eyabbaire aizwire ebigenge; oyo bwe yaboine Yesu, n'avuunama amaiso ge n'amwegayirira, ng'akoba nti Mukama wange, bw'otaka, osobola okunnongoosia. \p \v 13 N'agolola omukono gwe n'amukwataku ng'akoba nti Ntaka, longooka. Amangu ago ebigenge bye ne bimuwonaku. \p \v 14 Iye n'amukuutira obutakoberaku muntu; naye yaba, weerage eri kabona, oweeyo eby'okulongooka kwo, nga Musa bwe yalagiire, okubba omujulizi gye bali. \v 15 Naye ebigambo bye ne byeyongera bweyongeri okubuna, ebibiina bingi ne bikuŋaana okuwulira n'okuwonyezebwa endwaire gyabwe. \v 16 Naye iye ne yeeyawula n'ayaba mu malungu n'asaba. \p \v 17 Awo olwatuukire ku lunaku lumu mu egyo, yabbaire ng'ayegeresya; n'Abafalisaayo n'abegeresya b'amateeka baabbaire batyaime awo, ababbaire baviire mu buli kibuga eky'e Galiraaya, n'e Buyudaaya n'e Yerusaalemi: n'amaani ga Mukama gabbaire naye okuwonya. \v 18 Bona, abantu ne baleetera omuntu ku kitanda eyabbaire akoozimbire: ne basala amagezi okumwegeresya, n'okumuteeka mu maiso ge. \v 19 Bwe bataboine wo kumuyingirirya olw'ekibiina, ne baniina waigulu ku nyumba, ne bamuyisia mu matafaali ne bamwikirya ku kitanda kye wakati mu maiso ga Yesu. \v 20 Awo bwe yaboine okwikirirya kwabwe, n'akiba nti Omuntu, ebibbiibi byo bikutooleibweku. \p \v 21 Abawandiiki n'Abafalisaayo ne batandikiika okuwakana, nga bakoba nti Yani ono aytumula eby'okuvoola? Yani asobola okutoolaku ebibbiibi, wabula Katonda yenka? \p \v 22 Naye Yesu bwe yategeire okuwakana kwabwe n'airamu n'abakoba nti Muwakana ki mu myoyo gyanyu? \v 23 Ekyangu kiriwaina, okukoba nti Ebibbiibi byo bikuooleibweku; oba okukoba nti Golokoka otambule? \v 24 Naye mutegeere nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okutoolaku ebibbiibi (n'akoba oyo eyabbaire akoozimbire), Nkukoba nti Yimuka, ositule ekitanda kyo, oireyo mu nyumba yo. \v 25 Amangu ago n'ayimuka mu maiso gaabwe, n'asitula ekyo kye yabbaire agalamiireeku, n'ayaba ewuwe, ng'agulumiza Katonda. \p \v 26 Okuwuniikirira ne kubakwata bonabona, ne bagulumiza Katonda; ne batya inu, nga bakoba nti Tuboine eby'ekitalo atyanu. \p \v 27 Awo oluvanyuma lw'ebyo n'avaayo n'abona omuwooza eriina lye Leevi, ng'atyaime mu iwoolezio, n'amukoba nti Bita nanze. \v 28 N'aleka byonabyona, n'agolokoka, n'abita naye. \p \v 29 Leevi n'amufumbira embaga nene mu nyumba ye: era wabbairewo ekibiina kinene eky'abawooza n'eky'abandi ababbaire batyaime nabo ku mere. \v 30 Abafalisaayo n'abawandiiki baabwe ne beemulugunyizia abayigirizwa be, nga bakoba nti Kiki ekibaliisia n'okunywera awamu n'abawooza n'abantu abalina ebibbiibi? \p \v 31 Yesu n'airamu n'abakoba nti Abalamu tebeetaaga musawo; wabula abalwaire. \v 32 Nze tinaizire kweta batuukirivu wabula abantu abalina ebibbiibi okwenenya. \p \v 33 Boona ne bamukoba nti Abayigirizwa ba Yokaana basiiba emirundi mingi, era basaba; era n'ab'Abafalisaayo batyo; naye ababo balya, banywa. \p \v 34 Yesu n'abakoba nti Kale musobola okusiibya abaana b'obugole, akweire omugole bw'abba ng'ali nabo? \v 35 Naye enaku giriiza; awo akweire omugole lw'alibatoolebwaku, ne kaisi ne basiiba mu naku egyo. \v 36 Era n'abagerera olugero nti wabula muntu akanula ku lugoye oluyaka ekiwero n'akitunga mu lugoye olukaire; kuba bw'akola atyo, oluyaaka lukanula olukaire era n'ekiwero kikanula ku luyaka tekifaanana na lukaire. \v 37 So wabula muntu afuka omwenge omusu mu nsawo egy'amawu enkaire; kubanga omwenge omusu gwabya ensawo egy'amawu, ne guyiika, n'ensawo egy'amawu gifaafaagana. \v 38 Naye kigwana omwenge omusu okugufuka mu nsawo egy'amawu enjaka. \v 39 So wabula muntu anyire ku mwenge omukulu ataka omutomuto; kubanga akiba nti Omukulu niigwo musa. \c 6 \cl Ensuula 6 \p \v 1 Awo olwatuukire ku sabbiiti bwe yabbaire abita mu nimiro gy'eŋaanu; abayigirizwa be ne banoga ebirimba by'eŋaanu, ne balya, nga bakunya mu ngalo gyaabwe. \v 2 Naye Abafalisaayo abamu ne bakoba nti Kiki ekibakozesya eky'omuzizio okukolera ku sabbiiti? \p \v 3 Yesu n'abairamu n'akoba nti Era kino temukisomangaku, Dawudi kye yakolere, bwe yalumirwe enjala iye ne be yabbaire nabo; \v 4 bwe yayingiire mu nyumba ya Katonda, natoola emigaati egy'okulaga n'alya, era n'agiwa be yali nabo; egy'omuzizo okulya wabula bakabona bonka? \v 5 N'abakoba nti Omwana w'omuntu niiye mukama wa sabbiiti. \p \v 6 Awo olwatuukire ku sabbiiti egendi, n'ayingira mu ikuŋaaniro n'ayegeresya; mwabbaire mu omuntu omukono gwe omuliiro gwabbaire gukalire. \v 7 Awo abawandiiki n'Abafalisaayo ne bamulingilira, oba ng'ayawonyerya ku sabbiiti, kaisi babone bwe bamuloopa. \v 8 Naye n'amanya ebirowoozo byabwe, n'akoba omuntu eyabbaire n'omukono ogukalire nti Golokoka, oyemerere wakati. N'agolokoka n'ayemerera. \v 9 Awo Yesu n'abakoba nti Mbabuulya imwe, Kisa ku sabbiiti okukola okusa, oba kukola kubbiibi, okuwonya obulamu oba kubuzikirizia? \v 10 N'abeetooloolya amaiso bonabona, n'amugamba nti Golola omukono gwo. N'akola atyo; omukono gwe ne guwona. \v 11 Naye ne balaluka, ne batumula bonka na bonka bwe bakola Yesu. \p \v 12 Awo olwatuukire mu naku egyo, n'avaayo n'ayaba ku lusozi okusaba; n'akyeesia obwire ng'asaba Katonda. \v 13 Awo obwire bwe bwakyeire, n'ayeta abayigirizwa be; mu ibo n'alondamu ikumi na babiri, n'okweta n'abeeta abatume; \v 14 Simooni era gwe yatuumire Peetero, no Andereya mugande, no Yakobo no Yokaana, no Firipo no Batolomaayo, \v 15 ne Matayo no Tomasi, no Yakobo, omwana wa Alufaayo, no Simooni eyayeteibwe Zerote, \v 16 no Yuda mugande wa Yakobo, no Yuda Isukalyoti eyamuliiremu olukwe; \v 17 n'aika nabo, n'ayemerera awatereevu, n'ekibiina kinene eky'abayigirizwa be n'abantu bangi abaaviire e Buyudaaya yonayona n'e Yerusaalemi, n'abaaviire ku itale ly'enyanza ey'e Tuulo n'e Sidoni, abaizire okumuwulira n'okuwonyezebwa endwaire gyabwe; \v 18 n'ababbaire babonyaabonyezebwa dayimooni ne bawonyezebwa. \v 19 N'ekibiina kyonakyona ne kisala amagezi okumukwataku bukwati: kubanga amaani gaavanga mu iye ne gabawonya bonabona. \p \v 20 N'ayimusirya amaiso abayigirizwa be n'akoba nti Mulina omukisa abaavu; kubanga obwakabaka bwa Katonda niibwo bwanyu. \v 21 Mulina omukisa abalumwa enjala atyanu; kubanga mulikutibwa. Mulina omukisa, abakunga atyanu; kubanga muliseka. \v 22 Mulina omukisa, abantu bwe babakyawanga, bwe babeewalanga, bwe babavumanga, bwe bagadyanga eriina lyayu nga Ibbiibi, okubavunaania Omwana w'omuntu. \v 23 Musanyukanga ku lunaku olwo, mujuukanga olw'eisanyu: kubanga, bona, empeera yanyu nyingi mu igulu: kubanga bazeiza banyu bwe baakolanga banabbi batyo. \v 24 Naye gibasangire imwe abagaiga! Kubanga mumalire okuba n'eisanyu lyanyu. \v 25 Gibasangire imwe abaikutire atyanu! Kubanga mulirumwa enjala. Gibasangire imwe abaseka atyanu! Kubanga mulinakuwala, mulikunga. \v 26 Gibasangire, abantu bonabona bwe balibasiima! Kubanga batyo bazeiza babwe bwe baakolanga banabbi ab'obubbeyi. \p \v 27 Naye mbakoba mwe abawulira nti Mutakenga abalabe banyu, mukolenga kusa ababakyawa, \v 28 musabirenga omukisa ababakolimira, musabirenga ababakolera ekyeju. \v 29 Oyo akukubbanga olusaya mukyusiryenga n'olw'okubiri; n'akutoolangaku omunagiro gwo, n'ekanzo togimugaananga. \v 30 Buli akusabanga omuwanga; n'oyo akutoolangaku ebintu byo tobimusabanga ate. \v 31 Era nga bwe mutakanga abantu okubakolanga, mweena mubakolenga mutyo. \v 32 Kale bwe mutaka abo ababataka imwe, mwebalibwa ki? Kubanga n'abantu abalina ebibbiibi bataka abo ababataka. \v 33 Era bwe mukola okusa ababakola okusa imwe, mwebazibwa ki? Kubanga n'abantu abalina ebibbiibi bakola batyo. \v 34 Era bwe mubaazika abo be musuubira okubawa, mwebazibwa ki? N'abantu abalina ebibbiibi baazika abalina ebibbiibi, era baweebwe batyo. \v 35 Naye mutakaganenga abalabe banyu mubakolenga kusa, mwazikenga so temulekangayo kusuubira; n'empeera yanyu eribba nyingi, mweena mulibba baana b'Oyo Ali waigulu einu: kubanga iye musa eri abateebaza n'ababi. \v 36 Mubbe n'ekisa, nga Itawanyu bw'alina ekisa. \v 37 Era temusalanga musango, mweena temulisalirwa: era temusingisyanga musango, mweena temulisingibwa musango: musonyiwenga, mweena mulisonyiyibwa: \v 38 mugabenga, mweena muligabirwa; ekipimo ekisa, ekikatiirwe, ekisuukundiibwe, eky'omuyiika, kye balibaweera mu kifubba. Kubanga ekipimo ekyo kye mupimira, mweena kye mulipimirwa. \p \v 39 Era n'abakoba n'olugero, nti Omuzibe w'amaiso ayinza okutangira omuzibe mwinaye? Tebagwa bombi mu bwina? \v 40 Omuyigirizwa tasinga amwegeresya: naye buli muntu bw'alituukirizibwa alibba ng'amwegeresya. \v 41 Kiki ekikulingirirya akantu akali ku liiso lya mugande wo, so tolowooza ekisiki ekiri ku liiso lyo iwe? \v 42 Oba oyinza otya okukoba mugande wo nti Mugande wange, ndeka nkutooleku akantu akali ku liiso lyo, so nga tobona ekisiki eri ku liiso lyo iwe? Munanfuusi iwe, sooka otooleku ekisiki ku liiso lyo iwe; kaisi obone kusa okutoolaku akantu akali ku liiso lya mugande wo. \v 43 Kubanga wabula musaale musa ogubala ebibala ebibbiibi, waire omusaale omubbiibi ogubala ebibala ebisa. \v 44 Kubanga buli musaale gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga tebanoga itiini ku busyoono, so tebanoga izabbibu ku mwera mainu. \v 45 Omuntu omusa ekisa akitoola mu iterekero eisa ery'omwoyo gwe; n'omubbiibi ekibbiibi akitoola mu iterekero eibbiibi: kubanga ku ebyo ebizula mu mwoyo imunwa gwe bye gutumula. \p \v 46 Era munjetera ki Mukama wanyu, Mukama wanyu, so nga temukola bigambo bye ntumula? \v 47 Buli muntu yenayena aiza gye ndi n'awulira ebigambo byange n'abikola, yabbanga gw'afaanana: \v 48 afaanana ng'omusaiza azimba enyumba n'asima wansi einu, omusingi n'aguteeka mu lwazi; awo amaizi bwe gayanjaire, omwiga ne gukulukutira ku nyumba eyo olwa maani okugisuula, n'okusobola ne gutasobola na kuginyeenya: kubanga yazimbiibwe kusa. \v 49 Naye oyo awulira n'atakola afaanana ng'omuntu eyazimbire enyumba ku itakali n'atasima musingi; awo omwiga ne gugikulukutiraku olwa maani n'ewa amangu ago, n'okugwa kw'ennyumba eyo ne kubba kunene. \c 7 \cl Ensuula 7 \p \v 1 Awo bwe yamalire okutumula ebigambo bye byonabyona mu bantu, n'ayingira e Kaperunawumu. \p \v 2 Awo wabbairewo omwami w'ekitongole omwidu we gwe yabbaire ataka inu yali ng'alwaire ng'ayaba kufa. \v 3 N'oyo bwe yawuliirwe ebigambo bya Yesu n'atuma bakaire b'Abayudaaya gy'ali ng'amusaba okwiza okulokola omwidu we. \v 4 Boona bwe baizire eri Yesu, ne bamwegayirira inu, ne bakoba nti Asaaniire iwe okumukolera ekyo; \v 5 kubanga ataka eigwanga lyaisu, n'eikuŋaaniro niiye alituzimbira. \p \v 6 Awo Yesu n'ayaba nabo. Awo bwe yabbaire nga tali wala n'enyumba, omwami oyo n'atuma mikwanu gye gy'ali, ng'amukoba nti Sebo, teweetawanya kwiza, kubanga nze tnisaanira iwe kuyingira wansi wa kasulya kange: \v 7 era kyenviire nema okwesaanyizia nzenka okwiza gy'oli, naye tumula kigambo bugambo, n'omwana wange yawona. \v 8 Kubanga nzeena ndi muntu mutwalibwa, nga nina basirikale be ntwala: bwe nkoba omumu nti Yaba, ayaba, n'ogondi nti Iza, aiza, n'omwidu wange nti Kola kino, akola. \p \v 9 Yesu bwe yawuliire ebyo n'amwewuunya n'akyukira ebibiina ebyabbaire bimusengererya n'akoba nti Mbakoba nti Timbonanga kwikirirya kunene nga kuno waire mu Isiraeri. \v 10 Awo abantu abaatumiibwe bwe bairire mu nyumba, ne basanga omwidu ng'awonere. \p \v 11 Awo olwatuukire bwe wabitirewo eibbanga itono n'ayaba mu kibuga ekyetebwa Nayini; abayigirizwa be n'ekibiina kinene ne baaba naye. \v 12 Awo bwe yasembeire ku wankaaki w'ekibuga, bona, omulambo nga gufulumizibwa ewanza, gwo mwana maye gwe yazaire mumu, no maye oyo nga namwandu; n'abantu bangi ab'omu kibuga omwo nga bali naye. \v 13 Awo Mukama waisu bwe yamuboine n'amusaasira, n'amukoba nti Tokunga. \v 14 N'asembera n'akoma ku lunyu: badi ababbaire beetikire ne bemerera. N'akoba nti Omulenzi, nkukoba nti Golokoka. \v 15 Oyo eyabbaire afiire n'agolokoka, n'atyama n'atandiika okutumula. N'amuwa maye. \p \v 16 Okutya ne bubakwata bonabona, ne bagulumiza Katonda; nga bakoba nti Nabbi omukulu ayimukiire mu ife: era Katonda akyaliire abantu be. \v 17 N'ekigambo kye ekyo ne kibuna mu Buyudaaya bwonabwona no mu nsi yonayona erirainewo. \p \v 18 Awo abayigirizwa ba Yokaana ne bamubuulira ebigambo ebyo byonabyona. \v 19 Yokaana n'ayeta abayigirizwa be babiri n'abatuma eri Mukama waisu; ng'akoba nti Niiwe oyo aiza, aba tulindirire ogondi? \p \v 20 Awo abantu abo bwe baatuukire gy'ali, ne bamukoba nti Yokaana Omubatiza atutumire gy'oli ng'agamba nti Niiwe oyo aiza, oba tulindirire ogondi? \p \v 21 Awo mu kiseera ekyo n'awonya bangi endwaire n'okubonaabona no dayimooni, n'abazibe b'amaiso bangi n'abawa okuboa. \v 22 Yesu n'airamu n'abakoba nti Mwabe, mubuulire Yokaana ebyo bye muboine, ne bye muwuliire; abazibe b'amaiso babona, abaleme batambula, abagenge balongoosebwa, abaigali b'amatu bawulira, abafu bazuukira, abaavu babuulirwa enjiri. \v 23 Era alina omukisa oyo atalinneesitalaku. \p \v 24 Awo ababaka ba Yokaana bwe bamalire okwaba n'atanula okutumula n'ebibiina ebya Yokaana nti Kiki kye mwagendereire mu idungu okubona? Lugada olunyeenyezebwa n'empewo? \v 25 Naye kiki kye mwagendereire okubona? Omuntu avaire engoye eginekaaneka? Bona, abavaala engoye ez'obuyonjo, abalya emere ensa, babba mu luya lwa bakabaka. \v 26 Naye kiki kye mwagendereire okubona? Nabbi? Niiwo awo, mbakoba, era asingira dala nabbi. \v 27 Oyo niiye yawandiikibweku nti Bona, nze ntuma omubaka wange mu maiso go, Alirongoosia oluguudo lwo gy'oyaba. \v 28 Mbakoba nti mu abo abazaalibwa abakali, wabula asinga Yokaana obukulu: naye omutomuto mu bwakabaka bwa Katonda niiye omukulu okusinga iye. \v 29 N'abantu bonabona bwe baawuliire n'abawooza ne baikirirya Katonda okubba omutuukirivu abaabatizibwa mu kubatiza kwa Yokaana. \v 30 Naye Abafalisaayo n'abegeresya b'amateeka ne beegaanira okuteesia kwa Katonda kubanga tebaabatizibwe iye. \v 31 Kale abantu b'emirembe gino naabafaananya ki? Era balinga ki? \v 32 Balinga abaana abatyama mu katale, nga bayetagana; abakoba nti Tubafuuwire emirere ne mutakina; tukubbire ebiwoobe, ne mutakunga maliga. \v 33 Kubanga Yokaana Omubatiza yaizire nga talya mere so nga tanywa mwenge; ne mukoba nti Aliku dayimooni. \v 34 Omwana w'omuntu yaizire ng'alya ng'anywa, ne mukoba nti Bona, omuntu omuluvu, omutamiivu, mukwanu gw'abawooza era ogw'abalina ebibbiibi. \v 35 Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'abaana baago bonabona. \p \v 36 Awo Omufalisaayo omumu n'amweta okulya naye. N'ayingira mu nnyumba ey'Omufalisaayo oyo n'atyama ku mere. \v 37 Kale, bona, omukali eyabbaire mu kibuga omwo, eyabbaire n'ebibbiibi, bwe yamanyire ng'atyaime ku mere mu nyumba ey'Omufalisaayo, n'aleeta ecupa ey'amafuta ag'omusita, \v 38 n'ayemerera emagere ku bigere bye ng'akunga, n'atanula okumutonyerya amaliga ku bigere bye n'abisangula n'enziiri egy'oku mutwe gwe, n'anywegera ebigere bye n'abisiiga amafuta ago. \v 39 Awo Omufalisaayo eyamwetere bwe yaboine, n'atumula munda mu iye nti Omuntu ono, singa abaire nabbi, yanditegeire omukali amukwataku bw'ali, era bw'afaanana, ng'alina ebibbiibi. \p \v 40 Yesu n'airamu n'amukoba nti Simooni, ndiku kye ntaka okukukobera. N'akoba nti Omwegeresya, tumula. \p \v 41 Waliwo omuntu eyawolanga, naye yabbaire na b'abanja babiri; omumu ng'abanjibwa edinaali bitaano, n'ogondi ataanu. \v 42 Awo bwe baabbaire nga babula kyo kumusasula n'abasonyiwa bombiri. Kale ku abo alisinga okumutaka aliwaina? \p \v 43 Simooni n'airamu n'akoba nti Ndowooza oyo gwe yasingire okusonyiwa enyingi: N'amukoba nti Osalire kusa. \v 44 N'akyukira omukali oyo, n'akoba Simooni nti Obona omukali ono? Nyingiire mu nyumba yo, n'otompaire maizi ge bigere byange: naye ono atonyezerye amaliga ge ku bigere byange, n'abisiimuulya enziiri gye. \v 45 Tonywegeire iwe: naye ono we naakayingirira akaali kulekayo kunywegera bigere byange. \v 46 Tonsiigire mafuta ku mutwe gwange: naye ono ansiigire amafuta ag'omusita ku bigere byange. \v 47 Kyenva nkukoba nti Asonyiyibwe ebibbiibi bye ebingi kubanga okutaka kwe kungi; naye asonyiyibwa akatono, okutaka kwe kutono. \v 48 N'amukoba nti Osonyiyibwe ebibbiibi byo. \p \v 49 Awo ababbaire batyaime ku mere naye ne batandika okutumula bonka na bonka nti Ono niiye ani asonyiwa n'ebibbiibi? \p \v 50 N'akoba omukali nti Okwikirirya kwo kukulokoire; yaba mirembe. \c 8 \cl Ensuula 8 \p \v 1 Awo olwatuukire oluvanyumakuuku katono n'atambula mu bibuga no mu mbuga ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda, badi eikumi n'ababiri nga bali naye, \v 2 n'abakali abaawonyezeibweku dayimooni n'endwaire, Malyamu eyayeteibwe Magudaleene, eyaviireku dayimooni omusanvu, \v 3 no Yowaana, muka Kuza, omuwanika wa Kerode, ne Susaana, n'abandi bangi abaabaweerezanga n'ebintu bye baalina. \p \v 4 Awo ekibiina ekinene bwe kyakuŋaanire n'abaavanga mu buli kibuga bwe baizire w'ali, n'agera olugero nti \v 5 Omusigi yafulumire okusiga ensigo gye; bwe yabbaire ng'asiga, egindi ne gigwa ku mbali kw'engira; ne giniinirirwa, enyonyi gy'o mu ibbanga ne gigirya. \v 6 Egindi ne gigwa ku lwazi; bwe gyamalire okumera ne giwotookerera; olw'obutabba na mazi. \v 7 Engindi ne gigwa wakati mu mawa; amawa ne gamerera wamu nagyo ne gagizisya. \v 8 Egindi ne gigwa ku itakali eisa, ne gimera, ne zibalaku emere buli mpeke kikumi. Bwe yamalire okwogera ebigambo ebyo, n'atumulira waigulu nti Alina amatu ag'okuwulira awulire. \p \v 9 Awo abayigirizwa be ne bamubuulya nti Olugero olwo kiki? \v 10 N'akoba nti Imwe muweweibwe okumanya ebyama eby'obwakabaka bwa Katonda: naye abandi mu ngero; era bwe babona baleke okulaba, era bwe bawulira baleke okutegeera. \v 11 Era olugero niilw luno: Ensigo nookyo kigambo kya Katonda. \v 12 Badi ab'oku mbali kw'engira niibo bawuliire; awo Setaani n'aiza n'akwakula ekigambo mu myoyo gyabwe baleke okwikirirya n'okulokolebwa. \v 13 N'ab'oku lwazi noobo abawulira ekigambo ne baikirirya n'eisanyu; kyoka babula mizi, baikiriryaku akaseera, era mu biseera eby'okukemebwa baterebuka. \v 14 N'egyo egyagwire mu mawa, abo niibo abawulira, awo bwe baaba ne baziyizibwa n'okweraliikirira n'obugaiga n'eisanyu ery'omu bulamu buno ne batatuukirirya kukulya mere. \v 15 N'egyo ez'omu itakali eisa, abo niibe bawuliire ekigambo mu myoyo omugolokofu, omusa, ne bakinywezia, ne babala emere n'okugumiinkirizia. \p \v 16 Era wabula akoleezia etabaaza n'agisaanikira mu kiibo, oba kugiteeka wansi w'ekiri; naye agiteeka ku kikondo abayingiramu babone bw'eyaka. \v 17 Kubanga wabula kigambo ekyakisiibwe ekitabonesebwa; waire ekyagisiibwe ekitalimanyibwa ne kiboneka mu lwatu. \v 18 Kale mwekuumenga bwe muwulira; kubanga buli alina, aliweebwa; era buli abula n'ekyo ky'alowooza nti ali nakyo kirimutoolebwako. \p \v 19 Awo maye na bagande be ne baiza gy'ali, ne batasobola kumutuukaku olw'ekibiina. \v 20 N'abakobeirwe nti Mawo na bagande bo bayemereire ewanza bataka okukubona. \v 21 Naye n'airamu n'abakoba nti Mawange na bagande bange niibo bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikola. \p \v 22 Awo olwatuukire ku lunaku olumu ku egyo n'asaabala mu lyato iye n'abayigirizwa be; n'abakoba nti Tuwunguke twabe emitala w'ennyanza; ne baaba. \v 23 Awo bwe baabbaire nga baseeyeeya na gona endoolo. Omuyaga mungi ne gukunta ku nyanza; amaizi ne gabba nga gataka okwizula, ne babba mu kabbiibi. \v 24 Ne baiza w'ali ne bamuzuukya, nga bakoba nti Mukama waisu, Mukama waisu, tufa. N'azuuka, n'aboggolera omuyaga n'okwefuukuula kw'amaizi; ne biikaikana, n'ebba nteefu. \v 25 N'abakoba nti Okwikirirya kwanyu kuli waina? Ne batya ne beewuunya, ne batumulagana bonka na bonka nti Kale yani ono, kubanga n'empewo n'amaizi abiragira ne bimuwulira? \p \v 26 Awo ne bagoba ku nsi y'Abagerasene eyolekeire e Galiraaya. \v 27 Awo bwe yaviiremu n'atuuka ku itale, n'asanga omuntu ng'ava mu kibuga eyalmbbaireku dayimooni, nga yaakamala enaku nyingi nga tavaala lugoye no mu nyumba nga tatyamamu, naye ng'abba mu ntaana. \v 28 Bwe yaboine Yesu n'atumulira waigulu n'avuunama mu maiso ge, n'atumula n'eidoboozi inene nti Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda ali waigulu einu? Nkwegayiriree, tombonerezia. \v 29 Kubanga yalagiire dayimooni okuva ku muntu oyo. Kubanga Yabbaire Yaakamala ebiseera bingi nga amukwaite: yasibibwanga mu njegere no mu masamba ng'akuumibwa; n'akutulanga ebyamusibire, dayimooni n'amusengereryanga mu idungu. \p \v 30 Yesu n'amubuulya nti Eriina lyo niiwe ani? N'akoba nti Liigyoni; kubanga dayimooni bangi abaamuyingiiremu. \v 31 Ne bamwegayirira aleke okubalagira okuvaaku okwaba mu bwina. \v 32 Awo wabbairewo eigana ly'embizi nyingi nga girya ku lusozi, ne bamwegayirira abalagire bagiyingiremu. N'abalagira. \v 33 Awo badayimooni ne bava ku muntu ne bayingira mu mbizi: eigana ne lifubutukira mu ibbanga ne gigwa mu nyanza ne gifa amaizi. \v 34 Awo abasumba bwe bababoine ebibbairewo ne bairuka ne babitumula mu kibuga ne mu byalo. \v 35 Abantu ne bavaayo okubona ebibbairewo; ne baiza eri Yesu ne babona omuntu oyo eyaviireku badayimooni ng'atyaime awali ebigere bya Yesu, ng'avaire olugoye, ng'okutegeera kwe kumwiriremu: ne batya: \v 36 Boona ababoine ne bakobera bwe yakoleibwe oyo eyabbaire akwatiibwe badayimooni. \v 37 N'abantu bonabona ab'ensi y'Abagerasene eriraanyeewo ne bamwegayirira ave gye bali, kubanga okutya bungi bwabbaire kubakwaite: awo n'asaabala mu lyato n'airayo. \p \v 38 Naye omuntu eyaviiku badayimooni n'amwegayirira abbe naye; naye n'amuseebula ng'akoba nti \v 39 Irayo mu nyumba yo, onyonyole ebigambo Katonda by'akukoleire bwe biri ebikulu. N'ayaba ng'abuulira ekibuga kyonakyona bwe biri ebikulu Yesu bye yamukoleire. \p \v 40 Awo Yesu bwe yayirire, ekibiina ne kimusangalira n'eisanyu; kubanga bonabona baabbaire nga bamulindiriire. \v 41 Kale, bona, omuntu eriina lye Yayiro omukulu w'eikuŋaaniro n'aiza n'agwa awali ebigere bya Yesu n'amwegayirira okuyingira mu nyumba ye: \v 42 kubanga yabbaire no muwala we eyazaaliibwe omumu nga yaakamala emyaka ikumi n'eibiri, era oyo yabbaire ng'ayaba kufa. Naye bwe yabbaire ng'ayaba ebibiina ne bimunyigirirya. \p \v 43 N'omukali eyabbaire alwaire ekikulukuto ky'omusaayi emyaka ikumi n'eibiri, eyawanga abasawo ebintu bye byonabyona n'atasobola kuwonyezebwa muntu yenayena, \v 44 oyo n'amufuluma enyuma n'akwata ku lukugiro lw'olugoye lwe: amangu ago ekikulukuto kye ne kikala. \v 45 Yesu n'akoba nti Yani ankwaiteku? Awo bwe beegaine bonabona, Peetero na bainaye ne bakoba nti Mukama waisu, ebibiina bikwetooloire bikunyigirirya. \p \v 46 Naye Yesu n'akoba nti Omuntu ankwaiteku: kubanga mpuliire ng'amaani ganviiremu. \v 47 Awo omukali oyo bwe yaboine nga tagisiibwe, n'aiza ng'atengera n'amufukaamirira n'amukobera mu maiso g'abantu bonabona ensonga bw'eri emukwatisiryeku, no bw'awonere amangu ago. \v 48 N'amukoba nti Mwana wange, okwikirirya kwo kukuwonyerye; yaba mirembe. \p \v 49 Awo yabbaire akaali atumula, ne waiza omuntu eyaviire mu nyumba y'omukulu w'eikuŋaaniro ng'akoba nti Omuwala wo afiire; toteganya Omwegeresya. \p \v 50 Naye Yesu bwe yawuliire n'amwiramu nti Totya: ikiirirya bwikiriryi yabba mulamu. \v 51 Awo bwe yatuukire ku nnyumba n'ataganya muntu gondi kuyingira naye wabula Peetero no Yokaana n Yakobo no itaaye w'omuwala no maye. \v 52 Awo baabbaire nga bakunga bonabona, nga bamulirira; iye n'akoba nti Temukunga, kubanga tafiiree, naye agonere ndoolo. \v 53 Ne bamusekerera inu, kubanga baamanyire ng'afiire. \v 54 Iye n'amukwata ku mukono n'atumurira waigulu ng'akoba nti Omuwala, golokoka. \v 55 Omwoyo gwe ne gwira n'ayemerera amangu ago. N'alagira okumuwa eky'okulya. \v 56 Abazairee be ne bawuniikirira; naye iye n'abakuutira baleke kukoberaku muntu ebibbairewo. \c 9 \cl Ensuula 9 \p \v 1 N'abeetera wamu abayigirizwa be eikumi n'ababiri n'abawa amaani n'obuyinza ku badayimooni bonabona n'okuwonya endwaire. \v 2 N'abatuma okubuulira obwakabaka bwa Katonda, n'okuwonya abalwaire. \v 3 N'abakoba nti Temutwala kintu kyo mu ngira, waire omwigo, waire olukoba, waire emere, waire feeza; so temubba ne kanzo eibiri. \v 4 Na buli nyumba mwe muyingiranga, mubbenga omwo, era mwe mubba muvanga. \v 5 Era bonabona abatabaikiriryenga, bwe mubbanga muva mu kibuga ekyo, enfuufu ey'omu bigere byanyu mugikunkumulenga ebbe omujulizi eri bo. \v 6 Awo ne baaba ne beetooloola mu bibuga byonabyona nga babuulira enjiri, nga bawonya abantu mu buli kifo. \p \v 7 Awo kabaka Kerode owessaza n'awulira byonabyona ebyakoleibwe; n'abuusabuusa inu kubanga abantu bakobere nti Yokaana azuukiiree mu bafu; \v 8 abandi nti Eriya abonekere; n'abandi nti Banabbi ab'eira omumu ku ibo azuukiire. \v 9 Kerode n'akoba nti Yokaana niinze namutemaku omutwe: naye oyo yani gwe mpuliraku ebigambo ebyekankana awo? N'ataka okumubona. \p \v 10 Awo abatume bwe baamalire okwira, ne bamunyonyola byonabyona bye baakolere. N'abatwala ne yeeyawula n'ayaba nabo kyama mu kibuga ekyetebwa Besusayida. \v 11 Naye ebibiina bwe bategeire ne bamusengererya; n'abasangalira, n'atumula nabo ebigambo by'obwakabaka bwa Katonda, n'ababbaire beetaaga okuwonyezebwa n'abawonya. \v 12 Awo eisana ky'abbaire ligwa; abo eikumi n'ababiri ne baiza w'ali ne bamukoba nti Siibula ekibiina baabe mu mbuga no mu byalo eby'okumpi bagone, basagire eby'okulya; kubanga wano tuli mu itale lyereere. \p \v 13 N'abakoba nti Imwe mubawe eby'okulya. Ne bakoba nti Tubula kintu wabula emigaati itaanu n'ebyenyanza bibiri; kyonka twabe tubagulire eby'okulya abantu bano bonabona. \p \v 14 Kubanga baali abasajja ng'enkumi itaanu. N'akoba abayigirizwa be nti Mubatyamisye nyiriri ng'aotaanu itaanu. \v 15 Ne bakola batyo, ne babatyamisya bonabona. \v 16 N'akwata emigaati eitaanu n'ebyenyanza ebibiri, n'ayimusia amaiso mu igulu, n'abwebalya n'abimenyamu, n'awa abayigirizwa be okubuteeka mu maiso g'ekibiina. \v 17 Ne balya ne baikuta bonabona; ne bulondebwa obukunkumuka bwe baalemerwe, ebiibo ikumi na bibiri. \p \v 18 Awo olwatuukire bwe yabbaire ng'asaba yenka, abayigirizwa be babbaire naye wamu. N'ababuulya ng'akoba nti Ebibiina binjeta yani? \p \v 19 Ne bairamu ne bakoba nti Yokaana Omubatiza; naye abandi nti Eriya; n'abandi nti Ku banabbi ab'eira omumu ku abo azuukiire. \p \v 20 N'abagamba nti Naye imwe munjeta yani? Peetero n'airamu n'akoba nti niiwe Kristo wa Katonda. \p \v 21 Naye n'abakuutira n'abalagira baleke okukoberaku omuntu ekigambo ekyo; \v 22 ng'akoba nti Kigwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakaire na bakabona abakulu n'abawandiiki, n'okwitibwa, era ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa. \v 23 N'abakoba bonabona nti Omuntu bw'ataka okunsengererya, yeefiirize yenka, yeetikenga omusalaba gwe buli lunaku, ansengererye. \v 24 Kubanga buli ataka okulokola obulamu bwe alibugotya; naye buli aligotya obulamu bwe ku lwange oyo alibulokola. \v 25 Kubanga kulimugasa ki omuntu okulya ensi yonayona nga yegoterye oba nga yeetundire? \v 26 Kubanga buli ankwatirwa ensoni nze n'ebigambo byange, oyo n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensoni, lw'aliizira mu kitiibwa kye no mu kya Itaaye no mu kya bamalayika abatukuvu. \v 27 Naye mbakoba mazima nti Waliwo abayemereire wano abatalirega ku kufa okutuusia lwe balibona obwakabaka bwa Katonda. \p \v 28 Awo olwatuukire oluvanyuma lw'ebigambo ebyo nga wabitirewo enaku munaana, n'atwala Peetero no Yokaana no Yakobo, n'aniina ku lusozi okusaba. \v 29 Awo bwe yabbaire ng'asaba, ekifaananyi ky'amaiso ge ne kibba kindi, n'ekivaalo kye ne kibba kyeru nga kimasiamasia. \v 30 Kale, bona abantu babiri ne batumula naye, abo baabbaire Musa no Eriya; \v 31 ababonekere nga balina ekitiibwa, ne batumula ku kufa kwe kw'ayaba okutuukirirya mu Yerusaalemi. \v 32 Awo Peetero ne be yabbaire nabo baabbaire bakwatiibwe endoolo: naye bwe bamogere, ne babona ekitiibwa kye n'abantu ababiri abayemereire w'ali. \v 33 Awo olwatuukire bwe baabbaire baaba okwawukana naye, Peetero n'akoba Yesu nti Mukama wange, kisa ife okubba wano; tukole ebigangu bisatu, ekimu kikyo, ekimu kya Musa, ekimu kya Eriya; nga tamaite ky'atumula. \v 34 Awo yabbaire ng'akaali atumula ebyo, ekireri ne kiiza ne kibasiikirizia: bwe baayingire mu kireri ne batya. \v 35 Eddoboozi ne lifuluma mu kireri ne likoba nti Oyo niiye Mwana wange gwe neerobozere: mumuwulire iye. \v 36 N'eidoboozi eryo bwe lyaizire, Yesu n'aboneka yenka. Boona ne basirika busiriki, enaku egyo ne batakoberaku muntu kigambo ne kimu ku ebyo bye baboine. \p \v 37 Awo olwatuukire ku lunaku olw'okubiri bwe baaviire ku lusozi, ekibiina kinene ne kimusisinkana. \v 38 Era, bona, omuntu ow'omu kibiina n'atumulira waigulu n'akoba nti Omwegeresya, nkwegayirira okubona ku mwana wange, kubanga namuzaire mumu: \v 39 era, bona, dayimooni amukwata n'akunga amangu ago; n'amutaagula n'okubbimba n'abbimba eiyovu, era amuvaaku lwe mpaka, nga amumenyeremenyere inu. \v 40 Nzeena neegayirire abayigirizwa bo okumubbingaku; ne batasobola. \p \v 41 Yesu n'airamu n'akoba nti Imwe ab'emirembe egitaikirirya era egyakyamire, ndituusia wa okubba naimwe n'okubagumiinkiriza? Leeta wano omwana wo. \v 42 Awo yabbaire ng'akaali atumula, dayimooni n'amusuula n'amutaagula inu. Naye Yesu n'abogolera dayimooni n'awonya omulenzi n'amwirya eri Itaaye. \v 43 Bonabona ne bawuniikirira olw'obukulu bwa Katonda. Naye bonabona bwe baabbaire nga beewuunya byonabyona bye yakolere, n'akoba abayigirizwa be nti \v 44 Ebigambo ebyo mubiteeke mu matu ganyu: kubanga Omwana w'omuntu agayaba okuweebwayo mu mikono gy'abantu. \v 45 Naye ibo ne batategeera kigambo ekyo, era kyabbaire kibagisiibwe baleke okukitegeera: ne batya okumubuulya ekigambo ekyo bwe kiri. \p \v 46 Awo ne wabbaawo okuwakana mu ibo alibba omukulu mu ibo bw'ali. \v 47 Naye Yesu bwe yaboine okuwakana mu myoyo gyabwe, n'atwala omwana omutomuto, n'amuteeka ku lusegere lwe, \v 48 n'abakoba nti Buli anaasembelyanga omwana omutomuto ono mu liina lyange, ng'asembeirye nze, na buli eyasembezanga nze, ng'asembeirye eyantumire: kubanga asinga obutobuto mu imwe mwenamwena oyo niiye mukulu. \p \v 49 Yokaana n'airamu n'agamba nti Mukama waisu, twaboine omuntu ng'abbinga dayimooni mu liina lyo: ne tumugaana, kubanga tabita naife. \v 50 Naye Yesu n'amukoba nti Temumugaana; kubanga atali mulabe wanyu, ali ku lwanyu. \p \v 51 Awo olwatuukire enaku gye egy'okutwalibwa waigulu bwe gyabbaire giri kumpi okutuuka, n'asimbira dala amaiso ge okwaba e Yerusaalemi, \v 52 n'atuma ababaka mu maiso ge; ne baaba ne bayingira mu mbuga y'Abasamaliya, okumutegekera. \v 53 Ne batamusemberya kubanga amaiso ge gabbaire galagire kwaba Yerusaalemi. \v 54 Abayigirizwa be Yakobo ni Yokaana bwe baboine ne bakoba nti Mukama waisu, otaka ndagire omusyo guve mu igulu okubazikirizya, nga Eriya bwe yakolere? \v 55 Naye n'akyuka n'abanenya n'atumula nti Temumaite omwoyo bwe guli gwe mulina. Kubanga Omwana w'omuntu teyaizire kuzikirizia bulamu bwa bantu, wabula okubulokola. \v 56 Awo ne baaba mu mbuga egendi. \p \v 57 Awo bwe baabbaire nga baaba mungira, omuntu n'amukoba nti Nakusengereryanga gyewaybanga wonawona. \p \v 58 Yesu n'amukoba nti Ebibbe birina obwina, n'enyonyi egy'omu Ibbanga girina ebisu, naye Omwana w'omuntu abula w'ateka mutwe gwe. \v 59 N'akoba ogondi nti Nsengererya. Naye iye n'akoba nti Mukama wange, ndeka male okwaba okuziika Itawange. \p \v 60 Naye n'amukoba nti Leka abafu baziike abafu baabwe, naye iwe yaba obuulire obwakabaka bwa Katonda. \p \v 61 N'ogondi n'akoba nti Nakusengereryanga, Mukama wange; naye sooka ondeke male okusebubula ab'omu nyumba yange. \p \v 62 Naye Yesu n'amukoba nti Wabula muntu akwata ekyoma ekirima n'alinga enyuma asaanira obwakabaka bwa Katonda. \c 10 \cl Ensuula 10 \p \v 1 Awo oluvannyuma lw'ebyo Mukama waisu n'alonda abandi nsanvu, n'abatuma babiri babiri mu maiso ge okwaba mu buli kibuga na buli kifo gy'ayaba okwiza iye. \v 2 N'abakoba nti Okukungula niikwo kungi, naye abakunguli niibo batono: kale musabe Mukama w'okukungula okutuma abakunguli mu kukungula kwe. \v 3 Mwabe: bona, mbatuma imwe ng'abaana b'entama wakati mu misege. \v 4 Temutwala nsawo, waire olukoba, waire engaito; so temusugisugirya muntu mu ngira. \v 5 Na buli nyumba gye muyingirangamu, musookenga okukoba nti Emirembe gibbe mu nyumba muno. \v 6 Oba nga mulimu omwana w'emirembe emirembe gyanyu gyabbanga ku iye; naye oba nga ti kityo, ate gyayabanga gye muli. \v 7 Mubbenga mu nyumba omwo nga mulya nga munywa eby'ewaabwe, kubanga omukozi w'omulimu asaanira empeera ye. Temuvanga mu nyumba eimu okuyingira mu gendi. \v 8 Na buli kibuga kye mutuukangamu, ne babasemberya, mulyanga buli bye basanga mu maiso ganyu; \v 9 muwonyenga abalwaire abalimu, mubakobenga nti Obwakabaka bwa Katonda bubasembereire kumpi. \v 10 Naye buli kibuga kye mutuukangamu ne batabasemberya, mufulumanga mu nguudo gyakyo, mukobanga nti \v 11 N'enfuufu ey'omu kibuga kyanyu, etusaabaanire mu bigere, tugibakunkumulira imwe; naye mutegeere kino ng'obwakabaka bwa Katonda busembeire. \v 12 Mbakoba imwe nti Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiinkirizikika ku lunaku ludi okusinga ekibuga ekyo. \v 13 Gikusangire, Kolaziini! Gikusangire, Besusayida kubanga, eby'amaani ebyakoleibwe ewanyu singa byakoleibwe Tuulo n'e Sidoni, singa beenenyere ira nga batyaime mu bibukutu n'eikoke. \v 14 Naye Tuulo ne Sidoni biribba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiinkirizika ku lunaku olw'omusango, okusinga imwe. \v 15 Weena Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu igulu? Oliikibwa okutuuka e Magombe. \v 16 Abawulira imwe, ng'awulira nze; era anyooma imwe ng'anyooma nze; n'oyo anyooma nze ng'anyooma eyantumire. \p \v 17 Awo abo ensanvu ne baira n'eisanyu nga bakoba nti Mukama waisu, na badayimooni batuwulira mu liina lyo. \p \v 18 N'abakoba nti Naboine Setaani ng'aviire mu igulu okugwa ng'okumyansia. \v 19 Bona, mbawaire obuyinza obw'okuniinanga ku misota n'enjaba egy'obusagwa, n'amaani gonagona ag'omulabe: so wabula kintu ekyabakolanga obubbiibi n'akatono \v 20 Naye ekyo temukisanyukira, kubanga badayimooni babawulira; naye musanyuke kubanga amaina ganyu gawandiikiibwe mu igulu. \p \v 21 Awo mu saawa eyo n'asanyukira mu Mwoyo Omutukuvu n'agamba nti Nkwebalya, Kitange, Mukama w'eigulu n'ensi, kubanga bino wabigisire abagezi n'abakabakaba, n'obibikkulira abaana abatobato: niiwo awo, Itawange; kubanga bwe kyasiimiibwe kityo mu maiso go. \v 22 Byonabyona byampeweibwe Itawange; wabula muntu amaite Omwana bw'ali, wabula Itawaisu; waire Itawaisu bw'ali, wabula Omwana, n'oyo Omwana gw'ataka okumubikulira. \v 23 N'akyukira abayigirizwa be n'abakoba kyama nti Galina omukisa amaiso agabona bye mubona: \v 24 kubanga mbakoba nti Banabbi bangi na bakabaka batakanga okubona bye mubona imwe, ne batabibona; n'okuwulira bye muwulira ne batabiwulira. \p \v 25 Kale, bona, omwegeresya w'amateeka n'ayemerera ng'amukema ng'akoba nti Omwegeresya, nkolenga ki okusikira obulamu obutawaawo? \p \v 26 N'amukoba nti Kyawandiikiibwe kitya mu mateeka? Osoma otya? \p \v 27 N'airamu n'akoba nti Takanga Mukama Katonda wo n'omwoyo gwo gwonagwona, n'emeeme yo yonayona, n'amaani go gonagona, n'amagezi go gonagona; no muliraanwa wo nga iwe bwe wetaka wenka. \p \v 28 N'amukoba nti Oiriremu kusa; kola otyo, wabbbanga n'obulamu. \v 29 Naye iye obutataka kuwangulikika, n'akoba Yesu nti Muliraanwa wange niiye ani? \p \v 30 Yesu n'airamu n'akoba nti Waaliwo omuntu eyabbaire ava e Yerusaalemi ng'aserengeta e Yeriko; n'agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukubba emiigo, ne baaba ne bamuleka ng'abulaku katono okufa. \v 31 Awo kabona yabbaire ng'aserengetera inu ngira eyo nga tamanyiriiree; kale bwe yamuboine, n'amwebalama n'abitawo. \v 32 N'Omuleevi atyo bwe yatuukire mu kifo ekyo, n'amubona, n'amwebalama n'abitawo. \v 33 Naye Omusamaliya bwe yabbaire ng'atambula, n'aiza w'ali: awo bwe yamuboine n'amukwatirwa ekisa, \v 34 n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu bye, ng'afukamu amafuta n'omwenge; n'amuteeka ku nsolo ye, n'amuleeta mu kisulo ky'abageni, n'amwijanjaba. \v 35 Awo bwe bwakyeire amakeeri n'atoola edinaali ibiri, n'agiwa mwene we nyumba n'amukiba nti Mujanjabe; n'ekintu kyonakyona ky'oliwaayo okusukawo, bwe ndiira ndikusasula. \v 36 Kale olowooza otya, aliwa ku abo abasatu, eyabbaire muliraanwa w'oyo eyagwire mu batemu? \p \v 37 N'akoba nti odi eyamukoleire eby'ekisa. Yesu n'amukoba nti weena yaba okole otyo. \p \v 38 Awo bwe babbaire baaba, n'ayingira mu kyalo: omukali eriina lye Maliza n'amusemberya mu nyumba ye. \v 39 Naye yabbaire no mugande ayetebwa Malyamu, eyatyamanga awali ebigere bya Mukama waisu n'awuliranga ekigambo kye. \v 40 Naye Maliza yabbanga n'emitawaana egy'okuweererya okungi; n'aiza w'ali, n'amukoba nti Mukama wange, tofaayo nga mugande wange andekere okuweererya nzenka? Kale mukobe anyambe. \p \v 41 Naye Mukama waisu n'airamu n'amukoba nti Maliza, Maliza, weeraliikirira, olina emitawaana egy'ebigambo bingi; \v 42 naye ekyetaagibwa kiri kimu: kubanga Malyamu alonderewo omugabo ogwo omusa ogutalimutoolebwaku. \c 11 \cl Ensuula 11 \p \v 1 Awo olwatuukire bwe yabbaire ng'ali mu kifo ng'asaba, bwe yamalire, ku bayigirizwa be omumu n'amukoba nti Mukama waisu, twegeresye okusaba, era nga Yokaana bwe yayegeresyanga abayigirizwa be. \p \v 2 N'abakoba nti Bwe musabanga, mukobanga nti Itawaisu, Eriina lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bwize. \q \v 3 Otuwenga buli lunaku emere yaisu ey'olunaku. \q \v 4 Era otusonyiwe ebyonoono byaisu; kubanga feena tumusonyiwa buli gwe tubanja. So totutwala mu kukemebwa. \p \v 5 N'abakoba nti Yani ku imwe alina ow'omukwanu alyaaba ewuwe eitumbi, n'amukoba nti Mukwanu gwange, mpola emigaati isatu; \v 6 kubanga mukwanu gwange aizire, ava mu lugendo, nzeena mbula kya kuteeka mu maiso ge; \v 7 n'odi ali mulati n'amwiramu n'akoba nti Tonteganya; atyanu olwigi lwigale, abaana bange nanze tumalire okugona, tinsobola kugolokoka kukuwa? \v 8 Mbakoba nti waire nga tagolokoka n'amuwa kubanga mukwanu gwe, naye olw'okumulemeraku kwe yagolokoka n'amuwa byonabyona bye yeetaaga. \v 9 Nzeena mbakoba imwe nti Musabe, muliweebwa; musagire, mulibona; mweyanjule, muliigulirwawo. \v 10 Kubanga buli muntu yenayena asaba aweebwa; n'asagira abona; n'eyeeyanjula aliigulirwawo. \v 11 Era yani ku imwe itaaye w'omuntu omwana we bw'alimusaba omugaati, alimuwa eibbaale? Oba ekyenyanza, n'amuwa omusota mu kifo ky'ekyenyanza? \v 12 Oba bw'alisaba eigi, n'amuwa enjaba? \v 13 Kale oba nga imwe ababbiibi mumaite okuwa abaana banyu ebirabo ebisa, talisinga inu Itawanyu ali mu igulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abamusaba. \p \v 14 Yabbaire ng'abbinga dayimooni omusiru. Awo dayimooni bwe yamuviireku, kasiru n'atumula, ebibiina ne byewuunya. \v 15 Naye abamu ne bakoba nti Abbinga dayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu we dayimooni. \v 16 N'ababona, ne bamutakirya akabonero akava mu igulu, nga bamukema. \p \v 17 Naye iye, bwe yamanyire bye balowooza, n'abakoba nti Buli bwakabaka bwonabwona bwe bwawukanamu ibwo bwonka buzikirira; n'enyumba bw'eyawukanamu enyumba eyo egwa. \v 18 No Setaani bw'ayawukanamu iye yenka, obwakabaka bwe bulyemererawo butya? Kubanga mukoba nti mbiinga dayimooni ku bwa Beeruzebuli. \v 19 Era oba nga nze mbiinga dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana banyu bagibbinga ku bw'ani? Kyebaliva babba abalamuzi banyu. \v 20 Naye bwe mba mbingisya dayimooni engalo ya Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubaiziire. \v 21 Omuntu ow'amaani ng'alina ebyokulwanisa bw'akuuma oluya lwe, ebintu bye bibba mirembe: \v 22 naye amusinga amaani bw'amwiziira n'amuwangula, amutoolaku ebyokulwanisya bye byonabyona bye yeesiga, n'agaba ebintu bye. \v 23 Atabba nanze niiye mulabe wange; era atakuŋaanyirya wamu nanze asaansaanya. \v 24 Dayimooni bw'ava ku muntu, abita mu bifo ebibulamu maizi ng'asagira aw'okuwumulira; bw'abulwa akoba nti Ka ngireyo mu nyumba yange mwe naviire. \v 25 Bw'aiza, agibona ng'eyereibwe etimbiibwe. \v 26 Kale ayaba, n'aleeta badayimooni abandi musanvu, ababbiibi okumusinga iye, ne bayingira ne babba omwo: kale eby'oluvanyuma eby'omuntu oyo bibba bibbiibi okusinga eby'oluberyeberye. \p \v 27 Awo olwatuukire ng'atumula ebyo, omukali ow'omu kibiina n'ayimusia eidoboozi lye n'amukoba nti kirina omukisa ekida olwakuzaire n'amabeere ge wayonkereku. \p \v 28 Naye iye n'akoba nti Ekisinga, balina omukisa abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyekuuma. \p \v 29 Awo ebibiina bwe byabbaire nga bikuŋaanira w'ali, n'atanula okukoba nti Emirembe gino mirembe mibbiibi: gisagira akabonero, so tegiriweebwa kabonero wabula akabonero ka Yona. \v 30 Kuba Yona nga bwe yabbaire akabonero eri ab'e Nineevi, atyo n'Omwana w'omuntu bw'alibba eri emirembe gino. \v 31 Kabaka omukali ow'okuluda omuliiro alyemerera mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, alibasingisya omusango: kubanga yaviire ku nkomerero gy'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, bona, asinga Sulemaani ali wanu. \v 32 Abantu ab'e Nineevi balyemerera mu musango wamu n'emirembe gino, baligisingisya omusango: kubanga beenenya olw'okubuulira kwa Yona; era, laba, asinga Yona ali wanu. \p \v 33 Wabula akwatisya etabaaza n'agiteeka mu bwina, oba mukati mu kiibo, wabula ku kikondo, abayingira babone bw'eyaka. \v 34 Etabaaza y'omubiri gwo niiryo eriiso lyo; eriiso lyo bwe ribona okusa, n'omubiri gwo gwonagwona gubba gwizwire omusana; naye bwe libba ebbiibi, n'omubiri gwo nga gwizwire endikirirya. \v 35 Kale weekuumenga omusana ogukulimu gulekenga okubba endikirirya. \v 36 Kale omubiri gwo gwonagwona bwe gwizula omusana, nga gubula kitundu kimu kya kyendikirirya, gwonagwona guliizula musana ng'etabaaza bw'ekumulisirya n'okutangaala kwayo. \p \v 37 Awo bwe yabbaire ng'atumula, Omufalisaayo n'amweta okulya emere ewuwe: n'ayingira n'atyama ku mere. \v 38 Omufalisaayo bwe yaboine, ne yeewuunya kubanga tasookere kunaaba nga akaali kulya. \v 39 Mukama waisu n'amukoba nti Imwe Abafalisaayo munaabya kungulu w'ekikompe n'ow'ekibya; naye munda mwanyu mwizwire obunyazi n'obubi. \v 40 Imwe abasiru, oyo eyakolere kungulu ti niiye yakolere no mukati? \v 41 Naye ebiri mukati mubiwengayo okubba eby'okusaasira; era, bona, byonabyona birongoofu gye muli. \p \v 42 Naye gibasangire imwe, Abafalisaayo kubanga muwa ekitundu eky'eikumi ekya nabbugira n'akakubbansuna n'eiva lyonalyona, naye omusango n'okutaka Katonda mubibita kumbali: ebyo kibagwaniire okubikolanga, na biri obutabirekangayo \v 43 Gibasangire imwe, Abafalisaayo! Kubanga mutaka entebe egy'omumaiso mu makuŋaaniro n'okugiribwa mu butale. \v 44 Gibasangire! Kubanga mufaanana amalaalo agataboneka, abantu ge batambuliraku nga tebagamaite. \p \v 45 Awo omumu ku begeresya b'amateeka n'airamu n'amukoba nti Omwegeresya, bw'okoba otyo ovuma feena. \v 46 N'akoba nti Mweena, abegeresya b'amateeka, Gibasangire! Kubanga mutiika abantu emigugu egiteetikika, imwe beene gye mutataka kukwataku na lugalo lwanyu. \v 47 Gibasangire! Kubanga muzimba amalaalo ga banabbi, naye bazeiza banyu niibo baabaitire. \v 48 Mutyo muli bajulizi era musiima ebikolwa bya bazeiza banyu: kubanga ibo babatire, mweena muzimba amalaalo gaabwe. \v 49 N'amagezi ga Katonda kyegaava gakoba nti Ndibatumira banabbi n'abatume; abamu ku ibo balibaita balibayiganya; \v 50 omusaayi gwa banabbi bonabona, ogwayiikikire okuva ku kutondebwa kw'ensi, gubuulibwe eri emirembe gino; \v 51 okuva ku musaayi gwa Abbeeri okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyatiirwe wakati w'ekyoto ne yeekaalu: mazima mbakoba imwe nti Gulibuuzibwa eri emirembe gino. \v 52 Zibasangire imwe, abegeresya b'amateeka! Kubanga mwatwaire ekisulumuzo eky'okutegeera: niimwe beene temwayingiire, n'abaadi abayingira mwabaziyizirye. \p \v 53 Awo bwe yaviireyo, Abawandiiki n'Abafalisaayo ne batandi okumuteganya inu n'okumukemerelya ebigambo bingi; \v 54 nga bamutega, okutega ekigambo ekyaava mu munwa gwe, balyoke bamuwaabire. \c 12 \cl Ensuula 12 \p \v 1 Mu biseera ebyo abantu b'ekibiina emitwalo n'emitwalo bwe baabbaire bakuŋaanire n'okuniinagana nga baniinagana, n'asookera ku bayigirizwa be okubakoba nti Mwekuumenga ekizimbulukusya eky'Abafalisaayo, niibwo bunanfuusi. \v 2 Naye wabula ekyabikkiibwe ekitalibikulwa; waire ekyakisiibwe ekitalitegeerwa. \v 3 Kale byonabyona bye mwabbaire mutumwire mu mundikirirya biriwulirirwa mu musana; n'ekyo kye mwabbaire mutumuliire mu kitu mu bisenge kiribuulibwa ku kasulya k'enyumba. \v 4 Era mbakoba imwe, mikwanu gyange, nti Temutyanga abo abaita omubiri, oluyanyuma ababula kigambo kyo kukola ekisingawo. \v 5 Naye naabalabula gwe mwaatyanga: Mutyenga oyo, bw'amala okwita alina obuyinza okusuula mu Geyeena, niiwo awo, mbakoba nti Oyo gwe mubbe mutyenga. \v 6 Enkalyaluya eitaano tebagitundamu mapeesa mabiri? Naye wabula n'eimu ku egyo eyerabiwa mu maiso ga Katonda. \v 7 Naye n'enziiri egy'oku mitwe gyanyu zibaliibwe gyonagyona. Temutyanga: imwe musinga enkazaluya enyingi. \v 8 Era mbakoba nti Buli alinjatulira mu maiso g'abantu, oyo Omwana w'omuntu yeena alimwatulira mu maiso ga bamalayika ba Katonda; \v 9 naye aneegaanira mu maiso g'abantu alyegaanirwa mu maiso ga bamalayika ba Katonda. \v 10 Na buli muntu ayogera ekigambo ku Mwana w'omuntu kirimusonyiyibwa: naye oyo avoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa. \v 11 Era bwe babaleetanga mu makuŋaaniro n'eri abaamasaza, n'abalina obuyinza, temweraliikiriranga bwe mwiramu oba kye mwairamu oba kye mwatumula; \v 12 kubanga Omwoyo Omutukuvu yabegeresyanga mu kiseera ekyo ebibagwaniire okutmula. \p \v 13 Awo omuntu ow'omu kibiina n'amukoba nti Omwegeresya, koba mugande wange agabane nanze eby'obusika bwaisi. \p \v 14 Naye iye n'amukoba nti Omuntu, yani eyanteekerewo okubba omulamuzi oba omugabi wanyu? \v 15 N'abagamba nti Mumoge, mwekuumenga okwegomba kwonakwona; kubanga obulamu bw'omuntu s ti by'ebintu ebingi by'abba nabyo. \v 16 N'abagerera olugero ng'akoba nti Wabbairewo omuntu omugaiga, enimiro ye n'ebalya: \v 17 n'alowooza mukati mu iye ng'akoba nti Nakola ntya, kubanga mbula we naakuŋaanyirya bibala byange? \v 18 N'akoba nti Nakola nti: naamenya ebideero gange ne nzimba ebindi ebisinga obunene; ne nkuŋaanyirya omwo emere yange enkalu yonayona n'ebintu byange. \v 19 Ndikoba emeeme yange nti Emeeme, olina ebintu bingi ebigisiibwe eby'emyaka emingi; wumula, olye, onywe, osanyuke. \v 20 Naye Katonda n'amukoba nti Musiru iwe, mu bwire buno emeeme yo bagikutoolaku; kale ebintu by'otegekere byabba by'ani? \v 21 Atyo bw'ali eyeeterekera obugaiga, so nga ti mugaiga eri Katonda. \p \v 22 N'akoba abayigirizwa be nti Kyenva mbakoba nti Temweraliikiriranga bulamu bwanyu, kye mwalya; waire emibiri gyanyu, kye mwavaala. \v 23 Kubanga obulamu businga emere, n'omubiri gusinga ebyokuvaala. \v 24 Mulowooze banamuŋoona, bwe batasiga so tebakungula; ababula bideero, waire ebigisiro; era Katonda abaliisya; imwe temusinga enyonyi mirundi mingi? \v 25 Yani ku imwe bwe yeeraliikirira asobola okwongera ku bukulu bwe omukono ogumu? \v 26 Kale bwe mutasobola ekisinga obutono, kiki ekibeeraliikirirya ebindi? \v 27 Mubone amalanga bwe gamera: tegakola mulimu so tegalanga lugoye; naye mbakoba nti No Sulemaani mu kitiibwa kye kyonakyona teyavaalanga ng'erimu ku igo. \v 28 Naye Katonda bw'avaalisya atyo omudo ogw'oku itale, ogubbaawo atyanu, eizo nga bagusuula ku kikoomi; talisinga inu okuvaliisya imwe, abalina okwikirirya okutono? \v 29 Mweena temusagiranga kye mwalya oba kye mwanywa, so temubbanga na myoyo egibuusabuusa. \v 30 Kubanga ebintu ebyo byonabyona bisagiribwa amawanga ag'ensi: naye Itwanyu amaite nga mwetaaga ebyo. \v 31 Naye musagire obwakabaka bwe, n'ebintu ebyo mulibyongerwaku. \v 32 Totyanga, iwe ekisibo ekitono; kubanga Itawanyu asiima okubawa imwe obwakabaka. \v 33 Mumogenga bye muli nabyo, muwengayo eby'okusaasira; mwetungirenga ensawo egitakairiwa, obugaiga obutawaawo mu igulu; omubbiibi gy'atasembera, n'enyenje gye gitayonoonera. \v 34 Kubanga obugaiga bwanyu gye buli, n'emyoyo gyanyu gye gibba. \p \v 35 Mwesibenga emisipi mu nkende gyanyu, n'etabaaza zanyu nga gyaka; \v 36 mweena beene mubbenga ng'abantu abalindirira mukama waabwe, w'alirira ng'ava ku mbaga ey'obugole; bw'aliiza n'akoona ku lwigi, bamwigulirewo amangu ago. \v 37 Balina omukisa abaidu abo, mukama waabwe bw'aliiza b'alisanga nga bamoga; mazima mbakoba ng'alyesiba n'abatyamisya ku mere, n'aiza n'abaweereza. \v 38 Awo bw'aliiza mu kisisimuko eky'okubiri, oba mu ky'okusatu, n'abasanga atyo, balina omukisa abaidu abo. \v 39 Naye mutegeere kino, nga mwene we nyumba singa amanya ekiseera omubbiibi w'eyaizira, yakamogere, teyandirekere nyumba ye kusimibwa. \v 40 Mweena mwegisirenga: kubanga Omwana w'omuntu aizira mu kiseera mwe mutalowoozerya. \p \v 41 Peetero n'akoba nti Mukama waisu, olugero luno olugereire niife oba bonabona? \p \v 42 Mukama waisu n'akoba nti Kale yani oyo omuwanika omwesigwa ow'amagezi, mukama we gw'alisigira ab'omu nyumba ye, okubagabiranga omugabo gwabwe ogw'emere mu kiseera kyayo? \v 43 Alina omukisa omwidu oyo mukama we bw'aliiza gw'alisanga ng'akola atyo. \v 44 Mazima mbakoba ng'alimusigira byonabyona by'ali nabyo. \v 45 Naye omwidu oyo bw'alitumula mu mwoyo gwe nti Mukama wange alwiire okwiza; n'atandika okukubba abaidu n'abazaana, n'okulya n'okunywa n'okutamiira; \v 46 kale mukama w'omwidu oyo aliiza ku lunaku lw'atamulowoozeryaku, ne mu kiseera ky'atamaite, alimutemaatema alimuwa omugabo gwe wamu n'abataikirirya \v 47 N'omwidu oyo eyamanyire mukama we kye yatakire, n'atategeka n'atatuukirirya kye yayatakire, alikubbibwa mingi; \v 48 naye ataamanyire n'akola ebisaaniire okumukubbya, alikubbibwa mitono; na buli eyaweweibwe ebingi, alisagiribwaku bingi; n'oyo gwe bagisisirye ebingi, gwe balisinga okubuulya ebingi. \p \v 49 Naizire kusuula musyo ku nsi; gwoona oba nga atyanu gwaka, ntaka ki? \v 50 Naye ndina okubatizibwa kwe ndibatizibwa; nzeena nga mbonaabona okutuusya lwe kulituukirizibwa! \v 51 Mulowooza nti naizire kuleeta mirembe ku nsi? Mbakoba nti Bbe; wabula okwawukana obwawukani; \v 52 kubanga okutandika atyanu walibbaawo bataano mu nyumba eimu nga baawukaine, abasatu n'ababiri, era ababiri n'abasatu. \v 53 Balyawukana, itaaye n'omwana we, era omwana no itaaye; maye no muwala we, era omuwala no maye; era nazaala no muk'omwana we, era muk'omwana we no nazaala we. \p \v 54 N'akoba ebibiina byoona nti Bwe mubona ekireri nga kyekuluumulula ebugwaisana, amangu ago mukoba nti amaizi gatonya; era bwe kibba kityo. \v 55 Bwe mubona empewo ng'efuluma ku mukino omuliiro mukoba nti Lyabba ibbugumu; era bwe kibba. \v 56 Bananfuusi, mumaite okukebera ekifaananyi ky'ensi n'eigulu; naye kiki ekibaloberya okumanya okukebera obwire buno? \v 57 Era mweena mwenka ekibaloberya kiki okusala eby'ensonga? \v 58 Kubanga bw'obba oyaba n'akuloopa eri omulamuzi, onyiikiriranga mu ngira okutabagana n'akuvunaana; aleke okukuwalulira ewa katikkiro, no katikkiro n'akuwa omumbowa, n'omumbowa n'akusuula mu ikomera. \v 59 Nkukoba nti Toliva omwo n'akatono, okutuusya lw'olisasulirira dala buli sente. \c 13 \cl Ensuula 13 \p \v 1 Awo mu biseera ebyo wabbairewo abantu ababbaire bali awo abaamukobeire eby'Abagaliraaya badi, Piraato be yatukobeire omusaayi gwabwe ne sadaaka gyabwe. \v 2 N'airamu n'abakoba nti Mulowooza nga Abagaliraaya abo babbaire boonoonyi okusinga Abagaliraaya bonabona, kubanga baabonyaabonyezebwa batyo? \v 3 Mbakoba nti te kiri kityo: naye bwe muteenenya, mulizikirira mwenamwena mutyo. \v 4 Oba badi eikumi n'omunaana, ekigo eky'omu Sirowamu be kyagwireku ne kibaita, mulowooza babbaire bakozi bo bubbiibi okusinga abantu bonabona ababbaire mu Yerusaalemi? \v 5 Mbakoba nti Te kiri kityo: naye bwe muteenenya, mulizikirira mwenamwena inu. \p \v 6 N'atumula olugero luno, nti Waaliwo omuntu eyabbaire no omutiini ogwabbaire gusimbibwe mu lusuku lwe olw'emizabbibu; n'auza ng'agusagiraku ebibala n'atabibona. \v 7 N'akoba omulimi nti Bona, atyanu emyaka isatu nga ngiza okusagira ebibala ku mutiini guno, ne ntabibona; guteme; n'okwemala gwemalira ki ekifo obwereere? \p \v 8 Iye n'airamu n'amukoba nti Mukama wange, guleke mu mwaka guno era, ngutemeretemere, nguteekeku obusa; \v 9 bwe gulibala ebibala oluvannyuma, kisa; naye oba nga te kiri kityo, oligutema. \p \v 10 Awo ku lunaku lwa sabbiiti yabbaire ng'ayegeresya mu limu ku makuŋaaniro. \v 11 Era, bona, omukali eyabbaire yaakalwalira dayimooni ow'obunafu emyaka ikumi n'omunaana; ng'agongobaire nga tayinza kwegolola n'akatono. \v 12 Awo Yesu bwe yamuboine, n'amweta n'amukoba nti Omukali, osumulwirwe obulwaire bwo. \v 13 N'amuteekaku emikono, amangu ago n'abba mugolokofu, n'atendereza Katonda. \p \v 14 Naye omukulu w'eikuŋaaniro bwe yanyiigire kubanga Yesu awonyerye omuntu ku sabbiiti, n'airamu n'akoba ekibiina nti Waliwo enaku omukaaga egigwana okukolerangaku emirimu: kale mukolenga ku egyo okuwonyezebwa, naye ti ku lunaku lwa sabbiiti. \p \v 15 Naye Mukama waisu n'amwiramu n'akoba nti Bananfuusi, buli mumu ku imwe ku lunaku lwa sabbiiti tasumulula nte ye oba ndogoyi ye mu kisibo, n'agitwala okuginywisya? \v 16 Era oyo omwana wa Ibulayimu eyasibiibwe Setaani, bona, emyaka ikumi na munaana, tagwaniire kusumululwa mu busibe obwo ku lunaku lwa sabbiiti? \v 17 Awo bwe yabbaire ng'atumula ebyo, abalabe be bonabona ne baswala: n'ekibiina kyonakyona ne basanyukira byonabyona eby'ekitiibwa ebikoleibwe iye. \p \v 18 Kyeyaviire akoba nti Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? Era naabufaananya na ki? \v 19 Bufaanana akaweke ka kalidaali, omuntu ke yakwaite n'akasuula mu nimiro ye; ne kakula, ne kabba musaale; enyonyi egy'omu ibbanga ne gityama ku matabi gaagwo. \p \v 20 Ate n'akoba nti Obwakabaka bwa Katonda naabufaananya na ki? \v 21 Bufaanana ekizimbulukusya, omukali kye yakwaite n'akigisa mu biibo bisatu eby'obwita, bwonabwona ne buzimbulukuka. \p \v 22 N'atambula mu bibuga no mu mbuga ng'ayegeresya ng'ayaba e Yerusaalemi. \v 23 Omuntu n'amukoba nti Mukama wange, niibo batono abakoleibwe? Iye n'abakoba nti \v 24 Mufubenga okuyingira mu mulyango omufunda: kubanga mbakoba nti bangi abalisaagira okuyingira, so tebalisobola. \v 25 Mweene we nyumba bw'alimala okugolokoka, n'aigalawo olwigi, ne musooka okwemerera ewanza, n'okukonkona ku lwigi, nga mukoba nti Mukama waisu, twigulirewo; kale alibairamu n'abakoba nti Timbamaite gye muva; \v 26 Kaisi ne mutandika okukoba nti Twaliiranga era twanywiranga mu maiso go, era wayigiririzanga mu nguudo gyaisu; \v 27 kale alikoba nti Mbakoba nti timaite gye muva: muve we ndi; mwenamwena abakola ebitali byo butuukirivu. \v 28 Eyo eribbaayo okukunga n'okuluma ensaya bwe mulibona Ibulayimu no Isaaka no Yakobo na banabbi bonabona mu bwakabaka bwa Katonda, mweena nga musuuliibwe ewanza. \v 29 Baliiza nga bava ebuvaisana n'ebugwaisana, n'oku Mukono omugooda n'omuliiro, balityama mu bwakabaka bwa Katonda. \v 30 Era, bona, waliwo ab'oluvanyuma abalibba ab'oluberyeberye, era waliwo ab'oluberyeberye abalibba ab'oluvanyuma \v 31 Mu kiseera ekyo Abafalisaayo ne baiza, ne bamukoba nti Va wano, weyabire: kubanga Kerode ataka kukwita. \p \v 32 N'abagamba nti Mwabee mukobe enkeretanyi eyo nti bona, ngoba dayimooni mponya abantu atyanu n'eizo, no ku lunaku olw'okusatu ndituukirizibwa. \v 33 Naye kiŋwanire okutambulaku atyanu n'eizo n'olw'eibiri; kubanga tekisoboka nabbi kizikirira wanza wa Yerusaalemi. \v 34 Iwe Yerusaalemi, Yerusaalemi, aita banabbi, akubba amabbaale abatumibwa gy'ali! Emirundi imeka nga njantaka okukuŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋaanyirya obwana bw'ayo mu biwawa byayo, so temwaikirirye! \v 35 Bona, enyumba yanyu ebalekeibwe kifulukwa; era mbakoba nti Temulimbona, okutuusya lwe mulikoba nti Aweweibwe omukisa aiza mu liina lya Mukama. \c 14 \cl Ensuula 14 \p \v 1 Awo abawooza bonabona n'ababbaire n'ebibbiibi babbaire nga bamusemberera okumuwulira. \v 2 Abafalisaayo era n'abawandiiki ne beemulugunya, nga bakoba nti Ono asembezia abalina ebibbiibi, era alya nabo. \v 3 N'abagerera olugero luno, ng'akoba nti \v 4 Muntu ki ku imwe alina entama ekikumi, bw'abulwaku eimu, ataleka gidi ekyenda mu mwenda ku itale, n'asengererya edi eyagotere, okutuusya lw'aligibona? \v 5 Kale bw'aligibona, agiteeka ku ibega lye ng'asanyuka. \v 6 Bw'atuuka eika, ayeta emikwanu gye na baliraanwa be, n'abakoba nti Munsanyukireku, kubanga nzwire entama yange eyabbaire egotere. \p \v 7 Mbakoba nti kityo lyabbanga isanyu mu igulu olw'oyo alina ebibbiibi omumu eyeenenya, okusinga abatuukirivu ekyenda mu mwenda, abateetaaga kwenenya. \v 8 Oba mukali ki alina empiya ekumi, bw'agoteebwaku empiya imu, atakoleezia tabaaza n'ayera enyumba, n'anyiikira okusagira okutuusya lw'agizuula? \v 9 Bw'agibona, ayeta mikwanu gye na baliraanwa be nakoba nti Munsanyukireku, kubanga nzwire empiya eyabbaire egotere. \v 10 Mbakoba nti kityo libba isanyu mu maiso ga bamalayika ba Katonda olw'oyo alina ebibbiibi omumu eyeenenya. \v 11 N'akoba nti Waaliwo omuntu eyabbaire alina abataane babiri: \v 12 omutomuto n'akoba itaaye nti Itawange, mpa omugabo gw'ebintu oguŋwaniire. Kale n'abagabira eby'obulamu bwe. \v 13 Awo oluvanyuma lw'enaku ti nyingi, oyo omwana omutomuto n'akuŋaanya ebibye byonabyona, n'atambula n'ayaba mu nsi ey'ewala; n'asaansaanyirya eyo ebintu bye mu mpisa embiibi. \v 14 Awo bwe yamalire okubirya byonabyona, enjala nyingi n'egwa mu nsi omwo, n'atandika okudaaga. \p \v 15 N'ayaba ne yeegaita n'omwami ow'omu nsi eyo; oyo n'amusindika mu kyalo kye okuliisyanga embizi. \p \v 16 Ne yeegombanga okwikuta ebikuta embizzi bye gualyanga: ne watabbaawo muntu amuwa. \v 17 Naye bwe yeiriremu, n'akoba nti Abaweereza bameka ab'empeera aba itawange abaikuta emmere ne balemwa, nzeena nfiira wano enjala! \p \v 18 Naagoloka ne njaba eri itawange, ne mukoba nti itawange, nyonoonere eri eigulu no mu maiso go; \v 19 tinkaali nsaana kwetebwa mwana wo; nfuula ng'omumu ku baweereza bo ab'empeera. \p \v 20 N'agolokoka n'aiza eri itaaye. Naye yabbaire ng'akaali ali wala, itaaye n'amulengera, n'amusaasira, n'airuka mbiro, n'amugwa mu kifubba, n'amunywegera inu. \p \v 21 Oyo omwana n'amukoba nti Itawange, nyonoonere eri eigulu no mu maiso go; ti nkaali nsaana kwetebwa mwana wo. \p \v 22 Naye Itaaye n'akoba abaidu be nti Mwabe muleete mangu olugoye olusinga gyonagyona, mulumuvaalisye: mumuteeke empeta ku ngalo, n'engaito mu bigere bye: \v 23 muleete n'enyana ensavu, mugiite, tulye, tusanyuke; \v 24 kubanga omwana wange ono yabbaire afwire, azuukiire; yabbaire azawire, azaawukire. Ne batandika okusanyuka. \p \v 25 Naye omwana we omukulu yabbaire mu kyalo; bwe yaizire ng'ali kumpi okutuuka ku nyumba, n'awulira eŋoma n'amakina. \v 26 Ku baidu n'ayetaku mumu, n'amubuukya ebyo bwe bibbaire. \v 27 N'amukoba nti Omugande wo aizire: no Itaawo amwitiire enyana ensavu kubanga amuzaawire nga mulamu: \v 28 Naye n'asunguwala, n'atataka kuyingira: itaaye n'afuluma n'amwegayirira. \v 29 Naye iye n'aiamu n'akoba itaaye nti Bona, emyaka gino mingi nga nkuweereza, so tikusobyanga n'akatono ky'ondagiire; nzeena enaku gyonagyna tompanga na kabuli ko kusanyuka ne mikwanu gyange; \v 30 naye omwana wo oyo, eyaliire eby'obulamu bwo wamu n'abenzi, bw'aizire, ng'omwitira enyana ensavu. \v 31 Iye n'amukoba nti Mwana wange, niiwe buliijo ng'oli wamu nanze, era byonabyona ebyange niibyo ebibyo. \v 32 Naye okujaguza n'okusanyuka kwe nsonga: kubanga mugande wo oyo yabbaire afwire, azuukiire; era yabbaire azaawire, azaawukire. \v 33 Kale kiri kityo buli muntu yenayena ku imwe ateefirizienga byonabyona by'ali nabyo, tasobolenga kubba muyigirizwa wange. \v 34 Kale omungu musa: naye n'omunyu bwe gujaaluka, muliiryamu ki? \v 35 Tegusaanira nimiro waire olubungo, bagusuula wanza. Alina amatu ag'okuwulira, awulire. \c 15 \cl Ensuula 15 \p \v 1 Awo abawooza bonabona n'ababbaire n'ebibbiibi babbaire nga bamusemberera okumuwulira. \v 2 Abafalisaayo era n'abawandiiki ne beemulugunya, nga bakoba nti Ono asembezia abalina ebibbiibi, era alya nabo. \p \v 3 N'abagerera olugero luno, ng'akoba nti \v 4 Muntu ki ku imwe alina entama ekikumi, bw'abulwaku eimu, ataleka gidi ekyenda mu mwenda ku itale, n'asengererya edi eyagotere, okutuusya lw'aligibona? \v 5 Kale bw'aligibona, agiteeka ku ibega lye ng'asanyuka \v 6 Bw'atuuka eika, ayeta emikwanu gye na baliraanwa be, n'abakoba nti Munsanyukireku, kubanga nzwire entama yange eyabbaire egotere. \v 7 Mbakoba nti kityo lyabbanga isanyu mu igulu olw'oyo alina ebibbiibi omumu eyeenenya, okusinga abatuukirivu ekyenda mu mwenda, abateetaaga kwenenya. \p \v 8 Oba mukali ki alina empiya ekumi, bw'agoteebwaku empiya imu, atakoleezia tabaaza n'ayera enyumba, n'anyiikira okusagira okutuusya lw'agizuula? \v 9 Bw'agibona, ayeta mikwanu gye na baliraanwa be nakoba nti Munsanyukireku, kubanga nzwire empiya eyabbaire egotere. \v 10 Mbakoba nti kityo libba isanyu mu maiso ga bamalayika ba Katonda olw'oyo alina ebibbiibi omumu eyeenenya. \p \v 11 N'akoba nti Waaliwo omuntu eyabbaire alina abataane babiri: \v 12 omutomuto n'akoba itaaye nti Itawange, mpa omugabo gw'ebintu oguŋwaniire. Kale n'abagabira eby'obulamu bwe. \v 13 Awo oluvanyuma lw'enaku ti nyingi, oyo omwana omutomuto n'akuŋaanya ebibye byonabyona, n'atambula n'ayaba mu nsi ey'ewala; n'asaansaanyirya eyo ebintu bye mu mpisa embiibi. \v 14 Awo bwe yamalire okubirya byonabyona, enjala nyingi n'egwa mu nsi omwo, n'atandika okudaaga. \v 15 N'ayaba ne yeegaita n'omwami ow'omu nsi eyo; oyo n'amusindika mu kyalo kye okuliisyanga embizi. \v 16 Ne yeegombanga okwikuta ebikuta embizzi bye gualyanga: ne watabbaawo muntu amuwa. \v 17 Naye bwe yeiriremu, n'akoba nti Abaweereza bameka ab'empeera aba itawange abaikuta emmere ne balemwa, nzeena nfiira wano enjala! \v 18 Naagoloka ne njaba eri itawange, ne mukoba nti itawange, nyonoonere eri eigulu no mu maiso go; \v 19 tinkaali nsaana kwetebwa mwana wo; nfuula ng'omumu ku baweereza bo ab'empeera. \v 20 N'agolokoka n'aiza eri itaaye. Naye yabbaire ng'akaali ali wala, itaaye n'amulengera, n'amusaasira, n'airuka mbiro, n'amugwa mu kifubba, n'amunywegera inu. \v 21 Oyo omwana n'amukoba nti Itawange, nyonoonere eri eigulu no mu maiso go; ti nkaali nsaana kwetebwa mwana wo. \p \v 22 Naye Itaaye n'akoba abaidu be nti Mwabe muleete mangu olugoye olusinga gyonagyona, mulumuvaalisye: mumuteeke empeta ku ngalo, n'engaito mu bigere bye: \v 23 muleete n'enyana ensavu, mugiite, tulye, tusanyuke; \v 24 kubanga omwana wange ono yabbaire afwire, azuukiire; yabbaire azawire, azaawukire. Ne batandika okusanyuka. \p \v 25 Naye omwana we omukulu yabbaire mu kyalo; bwe yaizire ng'ali kumpi okutuuka ku nyumba, n'awulira eŋoma n'amakina. \v 26 Ku baidu n'ayetaku mumu, n'amubuukya ebyo bwe bibbaire. \v 27 N'amukoba nti Omugande wo aizire: no Itaawo amwitiire enyana ensavu kubanga amuzaawire nga mulamu: \v 28 Naye n'asunguwala, n'atataka kuyingira: itaaye n'afuluma n'amwegayirira. \v 29 Naye iye n'aiamu n'akoba itaaye nti Bona, emyaka gino mingi nga nkuweereza, so tikusobyanga n'akatono ky'ondagiire; nzeena enaku gyonagyna tompanga na kabuli ko kusanyuka ne mikwanu gyange; \v 30 naye omwana wo oyo, eyaliire eby'obulamu bwo wamu n'abenzi, bw'aizire, ng'omwitira enyana ensavu. \p \v 31 Iye n'amukoba nti Mwana wange, niiwe buliijo ng'oli wamu nanze, era byonabyona ebyange niibyo ebibyo. \v 32 Naye okujaguza n'okusanyuka kwe nsonga: kubanga mugande wo oyo yabbaire afwire, azuukiire; era yabbaire azaawire, azaawukire. \c 16 \cl Ensuula 16 \p \v 1 Awo n'akoba abayigirizwa be boona nti Wabbairewo omuntu omugaiga eyabbaire no omuwanika we; oyo ne bamuloopa gy'ali ng'asaansaanya ebintu bye. \v 2 N'amweta n'amukoba nti Kiki kino kye mpulira ku iwe? Bona omuwendo ogw'obuwanika bwo; kubanga tosobola ate kubaa muwanika \v 3 Oyo omuwanika n'atumula mukati mu iye nti Naakola ntya, kubanga mukama wange antoolaku obuwanika bwange? Mbula galima; n'okusabirirya nkwatibwa ensoni. \v 4 Maite kye naakola, bwe naagobebwa mu buwanika, bansembezie mu nyumba gyabwe. \v 5 N'ayeta buli alina eibbanja lya mukama we, n'akoba ow'oluberyeberye nti Mukama wange akubanja ki? \p \v 6 N'akoba nti Ebigera by'amafuta kikumi. N'amukoba nti Twala ebbaluwa yo, otyame mangu owandiike ataanu. \p \v 7 Ate n'akoba ogondi nti Weena obanjibwa ki? N'akoba nti Emitwalo gy'eŋaanu kikumi. N'amukoba nti Twala ebbaluwa yo, owandiike kinaana. \v 8 Awo mukama we n'atendereza oyo omuwanika omulyazaamaanya kubanga akolere bya magezi: kubanga abaana ab'ebiseera bino bagezigezi mu mirembe gyabwe okusinga abaana b'omusana. \v 9 Nzeena mbakoba nti Mwekwanirenga emikwanu mu mamona atali mutuukirivu; bw'aliwaawo, babasembezie mu weema gidi ezitawaawo. \v 10 Abba omwesigwa ku kintu ekitono einu, no ku kinene abba mwesigwa: era abba omulyazaamaanya ku kintu ekitono einu, no ku kinene abba mulyazaamaanya. \v 11 Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, yani alibagisisya obugaiga obw'amazima? \v 12 Era bwe mutaabbenga beesigwa ku ekyo ekya beene, ekyanyu yani alikibawa? \v 13 Wabula muweereza ayinza okuweereza abaami ababiri; kubanga oba alikyawaku omumu n'ataka ogondi; oba aligumira ku mumu n'anyooma ogondi. Tasobola kuweerezanga Katonda no mamona. \p \v 14 N'Abafalisaayo, ababbaire abataki b'efeeza, ne bawulira ebyo byonabyona; ne bamusekerera. \v 15 N'abakoba nti Imwe muumwo abeefuula abatuukirivu mu maiso g'abantu; naye Katonda amaite emyoyo gyanyu; kubanga ekigulumizibwa mu bantu kyo muzizo mu maiso ga Katonda. \v 16 Amateeka na banabbi byabbairewo okutuuka ku Yokaana: okuva olwo enjiri y'obwakabaka bwa Katonda ebuulirwa, era buli muntu abuyingiramu lwa maani. \v 17 Naye kyangu eigulu n'ensi okuwaawo, okusinga enyukuta eimu ey'amateeka okuwaawo. \p \v 18 Buli muntu yenayena eyabbinganga omukali we n'akwa ogondi, ng'ayendere; n'oyo eyakwanga eyabbingibwe abba ng'ayendere \v 19 Awo wabbairewo omuntu omugaiga eyavaalanga olugoye olw'efulungu ne bafuta ensa, ng'asanyukanga buliijo mu kwesiima: \v 20 era wabbairewo n'omwavu eriina lye Laazaalo eyagalamizibwanga ku mulyango gwe, eyabbaire awumukirewumukire amabbwa, \v 21 nga yeegomba okwikukuta ebyagwanga okuva ku meenza y'omugaiga; era embwa gyoona gyalyaga ne gimukombereranga amabbwa ge \v 22 Awo olwatuukire omwavu n'afa, n'asitulibwa bamalayika nateekebwa mu kifubba kya Ibulayimu. N'omugaiga n'afa, n'aziikibwa. \v 23 N'ayimusirya amaiso ge mu Magombe ng'ali mu kulumizibwa, n'alengera Ibulayimu wala, no Laazaalo ng'ali mu kifubba kye. \v 24 N'atumulira waigulu n'akoba nti Itawange Ibulayimu, nsaasira, otume Laazaalo, ainike ensonda y'olugalo lwe mu maizi, ampolyewolye olulimi lwange; kubanga numwa mu musyo guno. \p \v 25 Naye Ibulayimu n'amugamba nti Mwana wange, ijukira nga waweebwanga ebisa byo mu bulamu bwo, era no Laazaalo atyo ebbiibi; naye atyanu iye asanyusibwa, iwe olumwa. \v 26 Era ku ebyo byonabyona, wakati waisu naimwe waliwo olukonko oluwanvu olwateekeibwewo, abataka okuva eno okwiza gye muli balekenga okusobola, era balekenga okuva eyo okubitawo okwiza gye tuli. \p \v 27 N'akoba nti Kale, nkwegayiriire, itawange, omutume mu nyumba ya itawange; \v 28 kubanga nina ab'oluganda bataanu; abategeezye baleke okwiza boona mu kifo kino ekirimu okulumwa. \p \v 29 Naye Ibulayimu n'akoba nti Balina Musa na banabbi; babawulirenga abo. \p \v 30 N'akoba nti Bbe, itawange Ibulayimu; naye omumu ku bafu bw'alyaba gye bali balyenenya. \p \v 31 N'amukoba nti Nga bwe batawuliire Musa ne banabbi, era waire omumu ku bafu bw'alizuukira, talibaikiririsya. \c 17 \cl Ensuula 17 \p \v 1 N'akoba abayigirizwa be nti Tekisoboka ebyesitalya obutaiza; naye zimusanze oyo abireeta! \v 2 Waakiri oyo okusibibwa olubengo mu ikoti lye, okusuulibwa mu nyanza, okusinga okwesitazya omumu ku abo abatobato. \v 3 Mwekuumenga: muganda wo bw'ayonoonanga, omubuuliriranga; bwe yeenenyanga, omusonyiwanga. \v 4 Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi omusanvu n'akukyukira ng'akoba nti Nenenyerye; omusonyiwanga. \p \v 5 Abatume ne bakoba Mukama waisu nti Otwongereku okwikirirya. \p \v 6 Mukama waisu n'akoba nti Singa mulina okwikirirya okutono ng'akampeke ka kalidaali, mwandikobere omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nyanza; era gwandibawuliire. \v 7 Naye yani ku imwe, alina omwidu ng'alima oba ng'aliisya entama, bw'ayingira ng'ava mu lusuku, alimukoba nti Iza mangu ago otyame olye; \v 8 naye atamukoba nti Iwula emere ndye, weesibe, ompeererye, male okulya n'okunywa; weena kaisi olye era onywe? \v 9 Amwebalya omwidu oyo olw'okukola by'alagiibwe? \v 10 Era mweena mutyo, bwe mumalanga okukola byonabyona bye mwalagiirwe, mukobenga nti Ife tuli baidu abatasaana; ebyatugwaniire okukola bye tukolere. \p \v 11 Awo olwatuukire bwe babbaire mu ngira nga bagende e Yerusaalemi yabbaire ng'abita wakati we Samaliya ne Galiraaya. \v 12 Awo bwe yayingira mu mbuga eimu ne bamusisinkana abantu ikumi abagenge, abaayemereire ewala; \v 13 ne batumulira waigulu ne bakoba nti Yesu, Mukama waisu, otusaasire. \p \v 14 Bwe yababoine n'abakoba nti Mwabe mwerage eri bakabona. Awo olwatuukire bwe babbaire nga baaba ne balongoosebwa. \v 15 Awo Omumu ku ibo, bwe yaboine ng'awonere, n'aira n'atendereza Katonda n'eidoboozi inene; \v 16 n'avuunama awali ebigere bye, ng'amwebalya: era oyo yabbire Musamaliya. \v 17 Yesu n'airamu nakoba nti Eikumi bonabona tebalongooseibwe? Naye badi omwenda bali luda waina? \v 18 Tebabonekere abaira okutendereza Katonda, wabula omugeni ono? \v 19 N'amugamba nti Yimuka, oyabe: okwikirirya kwo kukuwonyerye. \p \v 20 Bwe yabuuziibwe Abafalisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bwiza di? N'abairamu n'akoba nti Obwakabaka bwa Katonda tebwiza nga bweyolekere: \v 21 so tebalikoba nti Bona, buli waano! Oba nti Buli waadi! Kubanga, bona, obwakabaka bwa Katonda buli mukati mu imwe! \p \v 22 N'akoba abayigirizwa be nti Enaku gyaba kwiza lwe mulyegomba okubonaa olumu ku naku gy'Omwana w'omuntu, so temulilubona. \v 23 Kale balibakoba nti Bona, wadi! Bona, wano! Temwabanga, so temusengereryanga; \v 24 kubanga okumyansia bwe kumyansirye ku luuyi olumu olw'eigulu, nga bwe kumasamasirye no ku luuyi olundi olw'eigulu, atyo Omwana w'omuntu bw'alibba ku lunaku lwe. \v 25 Naye okusooka kimugwanira okubonyaabonyezebwa ebingi n'okugaanibwa ab'emirembe gino. \v 26 Era nga bwe byabbaire mu nnaku gya Nuuwa, bityo bwe biribba no mu naku gy'Omwana, w'omuntu. \v 27 Babbaire nga balya, nga banywa, nga bakwa, nga babayirya, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingiire mu lyato, amataba ne gaiza, ne gabazikirirya bonabona. \v 28 Era nga bwe byabbaire mu naku gya Luti; babbaire nga balya, nga banywa, nga bagula nga batunda, nga basiga, nga bazimba; \v 29 naye ku lunaku ludi Luti lwe yaviire mu Sodoma, omusyo n'ekibiriiti ne bitonnya okuva mu igulu ne bibazikirirya bonabona: \v 30 bityo bwe biribba ku lunaku Omwana w'omuntu lw'alibikuliwa. \v 31 Ku lunaku olwo, alibaa waigulu ku nyumba, n'ebintu bye nga biri mu nyumba, taikanga kubitoolamu; n'ali mu lusuku atyo tairanga nyuma. \v 32 Mwijukire muki wa Luti. \v 33 Buli asagira okulokola obulamu bwe alibugotya; naye buli abugotya alibuwonya. \v 34 Mbakoba nti Mu bwire obwo babiri balibba ku kitanda kimu; omumu alitwalibwa, n'ogondi alirekebwa. \v 35 Abakali babiri balibba nga basyeera wamu; omumu alitwalibwa, n'ogondi alirekebwa. \v 36 Ababiri balibba mu lusuku; omumu alitwalibwa, n'ogondi alirekebwa. \p \v 37 Ne bairamu ne bamukoba nti Waina, Mukama waisu? N'abakoba nti Awabba omulambo eyo n'ensega we girikuŋaanira. \c 18 \cl Ensuula 18 \p \v 1 N'abagerera olugero bwe kibagwanira okusabanga buliijo, obutakoowanga; \v 2 n'akoba nti Waaliwo omulamuzi mu kibuga kimu, atatya Katonda, era nga tateekamu muntu kitiibwa; \v 3 era wabbairewo namwandu mu kibuga ekyo; n'aizanga w'ali ng'akoba nti Namula n'omulabe wange. \p \v 4 N'atasooka kwikirirya; naye oluvanyuma n'atumula mukati mu iye nti waire nga ti ntya Katonda, era nga tintekamu muntu kitiibwa; \v 5 naye olw'okunteganya namwandu ono kw'anteganya namulamula, aleke okuntengeiza ng'aiza kiseera. \v 6 Mukama waisu n'akoba nti Muwulire omulamuzi oyo atali mutuukirivu ky'akoba. \v 7 Kale no Katonda taliramula balondebe abamukungirira emisana n'obwire, ng'akaali agumiinkiriza? \v 8 Mbagamba nti Alibalamula mangu. Naye Omwana w'omuntu bw'aliiza, alibona okwikirirya ku nsi? \p \v 9 N'abandi ababbaire beerowooza ku bwabwe okubba abatuukirivu nga banyooma abandi bonabona, n'abakoba olugero luno, nti \v 10 Abantu babiri baniinire mu yeekaalu okusaba, omumu Mufalisaayo, ogondi muwooza. \v 11 Omufalisaayo n'ayemerera n'asaba yenka ebigambo bino nti Ai Katonda, nkwebalya kubanga tindi nga bantu abandi bonabona, abanyagi, abalyazaamaanya, abenzi, waire ng'ono omuwooza. \v 12 Nsiiba emirundi ibiri mu sabbiiti; mpaayo ekitundu eky'eikumi ku byonabyona bye nfuna. \p \v 13 Naye omuwooza n'ayemerera wala, n'atataka no kuyimusya maiso ge mu igulu, naye ne yeekubba mu kifuba ng'akoba nti Ai Katonda, onsaasire nze alina ebibbiibi. \v 14 Mbakoba nti Oyo yanka okwirayo mu nyumba ye ng'aweereirwe obutuukirivu okusinga odi; kubanga buli eyeegulumizya alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowazya aligulumizibwa. \p \v 15 Awo ne baleeta n'abaana abatobato w'ali, okubakwataku: naye abayigirizwa bwe baboine, ne bababogolera. \v 16 Naye Yesu n'abeeta ng'akoba nti Muleke abaana abatobato baize gye ndi, temubagaana: kubanga abali ng'abo obwakabaka bwa Katonda niibwo bwabwe. \v 17 Mazima mbakoba nti Buli ataikiriryenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omutomuto, talibuyingiramu n'akatono. \p \v 18 N'omuntu omukulu omumu n'amubuulya ng'akoba nti Omwegeresya omusa, nkole ntya okusikira obulamu obutawaawo? \p \v 19 Yesu n'amukoba nti Onjetera ki omusa? Wabula musa okutoolaku omimu, niiye Katonda. \v 20 Amateeka ogamaite nti Toyendanga, Toitanga, Toibbanga, Towaayirizanga, Oteekangamu ekitiibwa itaawo no mawo. \p \v 21 N'akoba nti Ebyo byonabyona nabikwatanga okuva mu butobuto bwange. \p \v 22 Yesu bwe yawulire n'amukoba nti Okyaweebuukireku kimu; tunda by'oli nabyo byonabyona, obigabire abaavu, awo olibba n'obugaiga mu igulu: kaisi oize onsengererye. \p \v 23 Naye bwe yawuliirwe ebyo n'anakuwala inu; kubanga yabbaire mugaiga inu. \v 24 Awo Yesu bwe yamuboine n'akba nti Nga kizibu abalina obugaiga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! \v 25 Kubanga kyangu eŋamira okubita mu nyindo y'empisyo, okusinga omugaiga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. \p \v 26 Abawuliire ne bakoba nti Kale yani ayinza okulokoka? \p \v 27 Naye n'akoba nti Ebitasoboka eri abantu bisoboka eri Katonda. \p \v 28 Peetero n'akoba nti Bona, ife twalekere ebyaisu ne tukusengererya. \p \v 29 N'abakoba nti Mazima mbakoa nti Wabula muntu eyalekere enyumba, oba mukali, oba bo luganda, oba bazaire, oba baana, olw'obwakabaka bwa Katonda, \v 30 ataweebwa ate emirundi mingi mu biseera bino, no mu biseera ebyaba okwiza obulamu obutawaawo. \p \v 31 N'atwala abo eikumi n'ababiri n'abakoba nti Bona, tuniina e Yerusaalemi, n'ebyo byonabyona ebyawandiikiibwe banabbi birituukirira ku Mwana w'omuntu. \v 32 Kubanga aliweebwayo mu b'amawanga, aliduulirwa, alikolebwa ekyeju, alifujirwa amanta: \v 33 balimukubba enkoba, balimwita; era ku lunaku olw'okusatu alizuukira. \v 34 Boona ne batategeerawo ku ebyo n'ekimu; n'ekigambo ekyo kyabbaire kibagisiiwe, ne batategeera ebyatumwirwe. \p \v 35 Awo olwatuukire bwe yabbaire ng'alikumpi okutuuka e Yeriko, omuzibe w'amaiso yabbaire ng'atyaime ku ngira ng'asabirirya; \v 36 awo bwe yawuliire ekibiina nga kibita, n'abuulya nti kiki ekyo: \v 37 Ne bamukobera nti Yesu Omunazaaleesi abita. \v 38 N'atumulira waigulu ng'akoba nti Yesu, omwana wa Dawudi, onsassire. \v 39 N'abo ababbaire batangiire ne bamubogolera okusirika; naye iye ne yeeyongera inu okutumulira waigulu nti iwe omwana wa Dawudi, onsaasire. \p \v 40 Yesu n'ayemerera, n'alagira okumuleeta w'ali; awo bwe yasembeire okumpi, n'amubuulya nti \v 41 Otaka nkukolere ki? N'akoba nti Mukama wange, ntaka okuzibula. \p \v 42 Yesu n'amukoba nti Zibula: okukkirirya kwo kukulokoire. \v 43 Amangu ago n'azibula, n'amusengererya ng'agulumizia Katonda: n'abantu bonabona bwe baboine ne batenderezya Katonda. \c 19 \cl Ensuula 19 \p \v 1 Nayingira mu Yeriko n'abba ng'agibitamu. \v 2 Kale, wabbairewo omuntu eyabbaire ayetebwa eriina lye Zaakayo, naye yabbaire mukulu w'ebawooza, era nga mugaiga. \v 3 N'asala amagezi okubona Yesu bw'ali; n'atasobola olw'ekibiina, kubanga ekigera kye yabbaire mumpi. \v 4 N'airuka n'akumutangira, n'aniina ku musaale omusikamooli amubone: kubanga yabbaire agenda kubita mu ngira eyo. \v 5 Awo Yesu bwe yatuukire mu kifo w'ali, n'alinga waigulu, n'amukoba nti Zaakayo, ika mangu; kubanga atyanu kiŋwaaniire okutyama mu nyumba yo. \v 6 N'aika mangu, n'amusangaliira ng'asanyuka. \v 7 Bwe baboine, ne bamwemulugunyirya bonabona, nga bakoba nti Ayingiire okugona omw'omuntu alina ebibbiibi. \v 8 Zaakayo n'ayemerera n'akoba Mukama waisu nti Bona, Mukama wange, ekitundu ky'ebintu byange mbawa abaavu; oba nga nalyazaamaanyire omuntu yenayena ekintu kye, muliyirira emirundi ina. \p \v 9 Yesu n'amukoba nti Atyanu okulokolebwa kwizire mu nyumba muno, kubanga yeena mwana wa Ibulayimu. \v 10 Kubanga Omwana w'omuntu yaizire okusagira n'okulokola ekyo ekyagotere. \p \v 11 Awo bwe bawuliire ebyo ne yeeyongera n'agera olugero, kubanga yabbaire kumpi ne Yerusaalemi, era kubanga babbaire balowooza ng'obwakabaka bwa Katonda bwaba kuboneka mangu ago. \v 12 Kyeyaviire akoba nti Waaliwo omuntu omukulu eyayabire mu nsi y'ewala, okulya obwakabaka kaisi aire. \v 13 N'ayeta abaidu be ikumi, n'abawa esente bibiri, n'abakoba nti Musuubuzenga okutuusya we ndizira. \p \v 14 Naye basaiza be ne bamukyawa, ne batuma ababaka enyuma we, nga bakoba nti Tetutaka oyo kutufuga. \v 15 Awo olwatuukire bwe yairire ng'amalire okulya obwakabaka, n'alagira okweta abaidu abo be yawaire efeeza, kaisi amanye amagoba ge baasuubwire. \p \v 16 Ow'oluberyeberye n'aiza n'akoba nti Mukama wange, esente gyo abiri gaviiremu amagoba g'esente bibiri. \p \v 17 N'amukoba nti Weebale, omwidu omumu kubanga wabbaire mwesigwa ku kintu ekitono einu, kale bba n'obuyinza ku bibuga ikumi. \p \v 18 N'aiza ow'okubiri ng'agamba nti Mukama wange, esente gyo abiri gyaviiremu amagoba esente kikumi. \p \v 19 N'oyo n'amukoba nti Weena bba ku bibuga bitaanu. \p \v 20 N'ogondi n'aiza n'akoba nti Mukama wange, bona, esente gyo gino abiri najigisanga gisibiibwe mu kiwero: \v 21 kubanga nakutiire kubanga oli muntu mukakanyali: olonda ky'otaateekerewo, okungula ky'otaasigiire. \p \v 22 N'amukoba nti omunwa gwo gwakunsaliire omusango, iwe omuntu omubbiibi. Wabbaire omaite nga nze ndi muntu mukakanyali, nga nonda kye ntateekerewo, nga nkungula kye ntasigire; \v 23 kale kiki ekyakulobeire okuwa esente jange abasuubuzi nange bwe nandizire nandigitwire n'amagoba gagyo? \v 24 N'akoba ababbaire bemereire awo nti Mumutooleku esente gye, mugiwe oyo alina esente ebibiri \v 25 Ne bamukoba nti Mukama waisu, alina ensente ebibiri. \p \v 26 Mbakoba nti Buli alina aliweebwa; naye oyo abula, era ekyo ky'ali nakyo, kirimutoolebwaku. \v 27 Naye abo abalabe bange abatataka nze kubafuga, mubaleete wano mubaitire mu maiso gange. \p \v 28 Awo bwe yamalire okutumula ebyo n'atangira n'aniina e Yerusaalemi. \p \v 29 Awo olwatuukire bwe yabbaire ng'ali kumpi okutuuka e Besufaage n'e Besaniya, ku lusozi olwetebwa olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri, \v 30 ng'akoba nti Mwabe mu mbuga eri mu maiso ganyu; bwe mwayingira omwo mwabona omwana gw'endogoyi nga gusibiibwe oguteebagalwangaku muntu: mugusuwundule muguleete \v 31 Era omuntu bw'ababuulya nti Mugusuwundulira ki? Mukobe mutyo nti Mukama waisu niiye agwetaaga. \v 32 Boona abaatumiibwe ne baaba, ne babona nga bw'abakobere. \p \v 33 Awo bwe babbaire nga basuwundula omwana gw'endogoyi abbene baagwo ne babagamba nti Musuwundulira ki omwana gw'endogoyi ogwo? \p \v 34 Ne bakoba nti Mukama waisu niiye agwetaaga. \v 35 Ne baguleeta eri Yesu: ne baaliirira engoye gyabwe ku mwana gw'endogoyi, ne beebagalyaku Yesu. \v 36 Awo yabbaire ng'ayaba ne baaliirira engoye gyabwe mu luguudo. \p \v 37 Awo bwe yabbaire ng'ali kumpi okutuuka mu kiiko ky'olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonakyona eky'abayigirizwa ne batandika okusanyuka n'okutendereza Katonda n'eidoboozi einene olw'eby'amagero byonabyona bye baboine; \v 38 nga bakoba nti Aweweibwe omukisa Kabaka aiziira mu liina lya Mukama: emirembe mu igulu, n'ekitiibwa waigulu einu. \p \v 39 Abafalisaayo abamu ab'omu kibiina ne bamukoba nti Omuyigiriza, sirikya abayigirizwa bo. \p \v 40 N'airamu n'abakoba nti Mbakoba nti Abo bwe basirika, amabbaale gatumulira waigulu. \p \v 41 Awo bwe yasembeire okumpi, n'abona ekibuga n'akikungirira, \v 42 ng'akoba nti Singa omaite ku lunaku luno, iwe, ebigambo eby'emirembe! Naye atyanu bigisiibwe amaiso go. \v 43 Kubanga enaku girikwizira, abalabe bo lwe balikuzimbaku ekigo, balikwetooloola, balikuzingizya enjuyi gyonana, \v 44 balikusuula wansi, n'abaana bo abali mukati mwo; so tebalikulekamu ibbaale eriri kungulu ku ibbaale; kubanga tewamanyire biseera byo kukyalirwa kwo. \p \v 45 N'ayingira mu yeekaalu, n'asooka okubbingamu abbaire batunda \v 46 ng'abakoba nti Kyawandiikiibwe nti Era enyumba yange yabbanga nyumba yo kusabirangamu: naye imwe mugifwire mpuku ya banyagi \v 47 Awo n'ayegeresyanga mu yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n'abawandiiki n'abakulu b'abantu ne basala amagezi okumuzikirizya: \v 48 ne batabona kye banaakola; kubanga abantu bonabona baamuteekereku inu omwoyo nga bamuwulira. \c 20 \cl Ensuula 20 \p \v 1 Awo olwatuukire ku lunaku olumu ku egyo, yabbaire ng'ayegeresya abantu mu yeekaalu, ng'abuulira enjiri, bakabona abakulu n'abawandiiki awamu n'abakaire ne bamwizira; \v 2 ne batumula nga bamukoba nti Tukobere; buyinza ki obukukozesya bino? Oba yani eyakuwaire obuyinza obwo? \p \v 3 N'airamu n'abakoba nti Nzeena ke mbabuulye ekigambo kimu; munkobere: \v 4 okubatiza kwa Yokaana kwaviire mu igulu aba mu bantu? \p \v 5 Ne bateeserye bonka na bonka, nga bakoba nti Bwe twakoba Kwaviire mu igulu; yakoba nti Kiki ekyabalobeire okumwikirirya? \v 6 Naye bwe twakoba ati kwaviire mu bantu; abantu bonabona batukubba amabbaale: kubanga baikirirya dala Yokaana okubba nabbi. \v 7 Ne bairamu nti tebamaite gye kwaviire. \p \v 8 Yesu n'abagamba nti Kale nzeena timbakobere imwe buyinza obunkozesya bino gye bwaviire. \p \v 9 N'asooka okubuulira abantu olugero luno nti Omuntu omumu yasimbire olusuku lw'emizabbibu, n'alusigira abalimi, n'ayaba mu nsi egendi n'alwayo. \v 10 Awo mu biseera by'omwaka abalimi n'abatumira omwidu, bamuwe ku bibala by'omu lusuku lw'emizabbibu: naye abalimi ne bamukubba, ne bamusindika nga abula kintu. \v 11 N'ayongera okutuma omwidu ogondi; n'oyo ne bamukubba, ne bamuswaza ne bamusindika nga abula kintu. \v 12 N'ayongera okutuma ow'okusatu: n'oyo yeena ne bamufumita ne bamubbinga. \v 13 Oyo mukama w'olusuku lw'emizabbibu n'akoba nti Naakola ntya? Ka ntume omwana wange omutakibwa: koizi oyo balimuteekamu ekitiibwa. \p \v 14 Naye abalimi bwe baamuboine, ne bateesya bonka na bonka, nga bakoba nti Ono niiye omusika: tumwite, obusika bubbe bwaisu \v 15 Ne bamubbinga mu lusuku lw'emizabbibu, ne bamwita. Kale alibakola atya mukama w'olusuku lw'emizabbibu? \v 16 Aliiza n'azikirirya abalimi abo, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa abandi. Bwe baawulira ebyo, ne bakoba nti Bireke okubbaawo. \p \v 17 Naye iye n'abalingirira n'akoba nti Kale kiki kino ekyawandiikiibwe nti Eibbaale abazimbi lye baagaine, Eryo niilyo elyafuukire omutwe ogw'oku nsonda? \v 18 Buli agwa ku ibbaale eryo alimenyekamenyeka; naye oyo gwe lirigwaku, lirimufuumuula ng'enfuufu. \p \v 19 Awo abawandiiki na bakabona abakulu ne basala amagezi okumuteekaku emikono mu kiseera ekyo; ne batya abantu; kubanga baategeire nti ku ibo kw'agereire olugero olwo. \v 20 Ne bamulabirira, ne batuma abakeeti nga beefuula abatuukirivu, balandukire ku bigambo bye, kaisi bamuweeyo eri okufuga okw'oweisaza n'eri obuyinza bwe. \v 21 Ne bamubuulya, nga bakoba nti Omwegeresya, tumaite ng'otumula era ng'oyegeresya eby'amazima, so tososola mu bantu, naye oyegeresya mazima engira ya Katonda: \v 22 kirungi ife okuwanga Kayisaali omusolo, oba ti niwo awo? \p \v 23 Naye n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abakoba nti Mundage edinaali. \v 24 Ekifaananyi ekiriku n'obuwandiikeku by'ani? Ibo ne bakoba nti Bya Kayisaali. \p \v 25 N'abakoba nti Kale ebya Kayisaali mumusasulenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumusasulenga Katonda. \v 26 Ne batasobola kutoola nsonga mu kigambo ekyo mu maiso g'abantu, ne beewuunya ky'airiremu, ne basirika. \p \v 27 Abasaddukaayo abamu ne baiza gy'ali, abakoba nti wabula kuzuukira; ne bamubuulya, \v 28 nga bagamba nti Omwegeresya, Musa yatuwandiikiire nti Omugande w'omuntu bw'afanga ng'alina omukali, nga bula mwana, mugande we akwe omukali oyo airiryeewo omugande eizaire. \v 29 Kale wabbairewo ab'oluganda musanvu: ow'oluberyeberye n'akwa omukali, n'afa nga bula mwana; \v 30 n'ow'okubiri; \v 31 n'ow'okusatu n'amukwa; era batyo badi omusanvu ne bafa, ne batalekaawo baana. \v 32 Oluvanyuma n'omukali n'afa. \v 33 Kale mu kuzuukira alibba mukali wani ku abo? Kubanga bonabona omusanvu baamukweire. \p \v 34 Yesu n'abakoba nti Abaana b'ensi eno bakwa, bafumbizibwa: \v 35 naye badi abasaanira okutuuka mu nsi eyo no mu kuzuukira okw'omu bafu, tebakwa, so tebafumbizibwa: \v 36 kubanga n'okufa tebasobolao kufa ate: kubanga bali nga bamalayika; era niibo baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b'okuzuukira. \v 37 Okumanya ng'abafu bazuukira, no Musa yakiragire ku Kisaka bwe yamwetere Mukama Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. \v 38 Naye iye ti Katonda wa bafu, naye wa balamu: kubanga bonabona babba balamu ku bubwe. \p \v 39 Abawandiiki abamu ne bairamu, nga bakoba nti Omwegeresya, otumwire kusa. \v 40 Kubanga tebasoboire kumubuulya kigambo kyonakyona ate. \p \v 41 N'abakoba nti Batumula batya nga Kristo niiye mwana wa Dawudi? \v 42 Kubanga Dawudi mweene atumula mu kitabo kya Zabbuli nti Mukama yakobere Mukama wange nti Tyama ku mukono gwange omuliiro, \v 43 Okutuusia lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo. \v 44 Dawudi amweta Mukama we, kale mwana we atya? \p \v 45 Awo abantu bonabona bwe babbaire nga bamuwulira, n'akoba abayigirizwa be nti \v 46 Mwekuumenga Abawandiiki; abataka okutambuliranga mu ngoye empanvu, abataka okusugiribwanga mu butale, n'entebe egyomu maiso mu makuŋaaniro, n'ebifo eby'ekitiibwa ku mbaga; \v 47 abanyaga enyumba gya banamwandu, abasaba einu mu bunanfuusi: abo balisalirwa omusango ogusinga obunene. \c 21 \cl Ensuula 21 \p \v 1 Awo n'ayimusia amaaio, n'abona abagaiga ababbaire basuula ebirabo byabwe mu igwanika. \v 2 N'abona namwandu omumu omwavu ng'asuula omwo ebitundu by'eipeesa bibiri. \v 3 N'akoba nti Mazima mbakoba nti Namwandu ono omwavu aswiremu bingi okusinga bonabona: \v 4 kubanga abo bonnabona baswiremu ku bibafikire mu birabo: naye oyo mu kwetaaga kwe aswiremu byonana by'ali nabyo, niibwo bulamu bwe bwonabona. \p \v 5 Era abamu bwe babbaire batumula ku yeekaalu, bwe yayonjebwa n'amabbaale amasa n'ebiweebwayo, n'akoba nti \v 6 Bino bye mubona, enaku egyaaba kwiza, lwe watalirekebwa ibbaale eriri ku ibbaale wano eritalisuulibwa. \v 7 Ne bamubuulya nga bakoba nti Omwegeresya, kale ebyo biribbaawo di? Kabonero ki akalibbaawo ebyo bwe biribba nga byaba okubbaawo? \v 8 N'akoba nti Mumoge muleke okukyamizibwa; kubanga bangi abaliiza n'eriina lyange, nga batumula nti Niinze ono; era nti Obwire buli kumpi okutuuka: temubasengereryanga. \v 9 Era bwe muwuliranga entalo n'ebikankanu, temwekanga: kubanga ebyo kibigwanira okusooka okwiiza; naye enkomerero terituuka mangu ago. \p \v 10 Kaisi n'abakoba nti Eigwanga lirirumba eigwanga, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka; \v 11 walibbaawo n'ebikankano ebinene, no mu bifo ebindi enjala no kawumpuli; walibbaawo n'ebitiisia n'obubonero obunene obuva mu igulu. \v 12 Naye ebyo byonabyona nga bikaali kubbaawo, balibateekaku emikono, balibayiganya, nga babawaayo mu makuŋaaniro no mu makomera nga babatwala eri bakabaka n'abaamasaza olw'eriina lyange. \v 13 Kiriba mujulizi gye muli. \v 14 Kale mukiteeke mu myoyo gyanyu, obutasookanga kulowooza bye muliiramu: \v 15 kubanga nze ndibawa omunwa n'amagezi, abalabe banyu bonabona bye batalisobola kuwakana nabyo waire okubigaana. \v 16 Naye muliweebwayo abazaire banyu, n'ab'oluganda, n'ab'ekika, n'ab'emikwanu; n'abamu ku imwe balibateeka. \v 17 Mweena mulikyayibwa bonabona olw'eriina lyange. \v 18 N'oluziiri olw'oku mitwe gyanyu teruligota n'akatono. \v 19 Mu kugumiinkiriza kwanyu mulifuna obulamu bwanyu. \p \v 20 Naye bwe mulibona Yerusaalemi nga kyetooloirwe eigye, kaisi ne mutegeera nti okuzikirira kwakyo kuli kumpi okutuuka. \v 21 Mu biseera ebyo ababbanga mu Buyudaaya bairukiranga ku nsozi; n'ababbanga wakati mu ikyo bakifulumangamu; n'ababanga mu byalo tebakiyingirangamu. \v 22 Kubanga egyo niigyo enaku egy'okuwalana eigwanga, ebyawandiikiibwe byonabyona kaisi bituukirire. \v 23 Giribasanga abalibba n'ebida n'abayonkya mu naku egyo! Kubanga walibba okulaba enaku enyingi ku nsi n'obusungu eri abantu abo. \v 24 Baliitibwa n'obwogi bw'ekitala, balinyagibwa okutwalibwa mu mawanga gonagona; ne Yerusaalemi kiriniinirirwa ab'amawanga okutuusia ebiseera by'ab'amawanga lwe birituukirira. \p \v 25 Era walibbaawo n'obubonero ku isana no ku mwezi no ku munyeenye; no ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma kw'enyanza n'amayengo; \v 26 abantu nga bazirika olw'entiisia n'olw'okulingirira ebyo ebiiza ku nsi: kubanga amaani ag'omu igulu galinkankanyizibwa. \v 27 Kaisi ne babona Omwana w'omuntu ng'aizira mu kireri n'amaani n'ekitiibwa kinene. \v 28 Naye ebigambo ebyo bwe bitandikanga okubbaawo mumoganga waigulu, muyimusianga emitwe gyanyu: kubanga okununulibwa kwanyu kuli kumpi okutuuka. \p \v 29 N'abakoba olugero; nti Mubone omutiini n'emisaale gyonagyona; \v 30 kale bwe gitojera, mubona ne mutegeera mwenka, nti atyanu okukungula kuli kumpi. \v 31 Era mweena mutyo, bwe mubonanga ebyo nga bibbaawo mumanyanga, nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi: \v 32 Mazima mbakoba nti Emirembe gino tegiriwaawo n'akatono okutuusia ebyo byonabyona lwe biribbaawo. \v 33 Eigulu n'ensi biriwaawo; naye ebigambo byange tebiriwaawo n'akatono. \p \v 34 Naye mwekuumenga emyoyo gyanyu gireke okuzitoowererwanga olw'obuluvu n'okutamiiranga n'okweraliikiriranga eby'obulamu buno, era olunaku ludi luleke okubatuukaku ng'ekyambika; \v 35 kubanga lutyo bwe lulituuka ku bonabona abali ku nsi yonayona. \v 36 Naye mumogenga mu biseera byonabyona musabenga musobole okwiruka ebyo byonabyona ebyaba okubbaawo n'okwemerera mu maiso g'Omwana w'omuntu. \p \v 37 Awo buli lunaku yabegeresyanga mu yeekaalu; bwe bwazibanga n'afuluma n'agona ku lusozi olwetebwa olwa Zeyituuni. \v 38 Abantu bonabona ne bakeeranga amakeeri okwaba gy'ali mu yeekaalu okumuwulira. \c 22 \cl Ensuula 22 \p \v 1 Awo embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa eyetebwa Okubitaku yabbaire erikumpi okutuuka. \v 2 Bakabona abakulu n'abawandiiki ne basala amagezi bwe bwebamwita; kubanga babbaire batya abantu. \p \v 3 Awo Setaani n'ayingira mu Yuda ayetebwa Isikalyoti eyabbaire ku muwendo gw'abo eikumi n'ababiri. \v 4 N'ayaba, n'ateesia na bakabona abakulu n'abaami ba sirikale bw'eyamuwaayo gye bali. \v 5 Ne basanyuka ne balagaana okumuwa efeeza. \v 6 N'aikirirya n'asagira eibbanga mweyamuweerayo gye bali awabula kibiina. \p \v 7 Awo olunaku olw'emigaati egitazimbulukuswa ne lutuuka, olugwaniire okusalirwaku Okubitako. \v 8 N'atuma Peetero no Yokaana ng'akoba nti Mwabe mututegekere Okubitaku tugirye. \p \v 9 Ne bamukoba nti Otaka tugitegekere waina? \p \v 10 N'abakoba nti Bona, bwe wabba muyingiire mu kibuga mwasisinkana omuntu eyasisinkana naimwe eyeetiikire ensuwa y'amaizi; mumusengererye mu nyumba mweyayingira. \v 11 Mwakoba omwene we nyumba nti Omuyigiriza akukobere nti Enyumba y'abageni eriwaina, mwe naaliira Okubitaku awamu n'abayigirizwa bange? \v 12 Era oyo yabalaga enyumba enene eya waigulu etimbiibwe: mutegekere omwo. \v 13 Ne baaba, ne babona nga bw'abakobere: ne bategeka Okubitaku. \p \v 14 Awo ekiseera bwe kyatuukire, n'atyama ku mere, n'abatume awamu naye. \v 15 N'abagamba nti Negombere inu okuliira awamu naimwe Okubitako kuno nga nkaali kubonyaabonyezebwa: \v 16 kubanga mbakoba nti Tindirikulya n'akatono, okutuusia lwe kulituukirira mu bwakabaka bwa Katonda. \v 17 N'akwata ekikompe, ne yeebalya n'akoba nti Mutoole kino mugabane mwenka na mwenka: \v 18 kubanga mbakoba nti Tindinywa okusooka atyanu bibala ku muzabbibu, okutuusia obwakabaka bwa Katonda lwe buliiza. \v 19 N'akwata omugaati ne yeebalya, n'agumenyamu, n'abawa ng'akoba nti Guno gwo omubiri gwange oguweebwayo ku lwanyu: mukolenga mutyo okunjijukiranga nze. \v 20 Era n'ekikompe atyo bwe baamalire okulya; ng'akoba nti Ekikompe kino niiyo endagaano enjaaka mu musaayi gwange, oguyiika ku lwanyu. \v 21 Naye, bona, omukono gw'oyo andyamu olukwe guli wamu nanze ku meenza. \v 22 Kubanga Omwana w'omuntu okwaba ayaba, nga bwe kyalagiirwe: naye gimusangire omuntu oyo amulyamu olukwe! \v 23 Ne batandikiika okwebuulyaganya bonka na bonka nti anaaba yani ku ibo ayaba okukola ekyo. \p \v 24 Ne wabbaawo n'empaka mu ibo, nti yani ku ibo alowoozebwa okubba omukulu. \v 25 N'abakoba nti Bakabaka b'ab'amawanga babafuga; n'abo abalina obuyinza ku ibo bayetebwa abakola obusa. \v 26 Naye imwe ti mutyo; naye omukulu mu imwe abbe ng'omutomuto; n'oyo akulembera, abbe ng'aweereza. \v 27 Kubanga omukulu yani, atyama ku mere, oba aweereza? Ti niiye oyo atyama ku mere? Naye nze wakati mu imwe ninga aweereza. \v 28 Naye imwe muli muuno abaagumiikirizanga awamu nanze mu kukemebwa kwanze; \v 29 nzeena mbaterekera obwakabaka, nga Itawange bwe yangisiire nze, \v 30 kaisi mulye era munywire ku meenza yange mu bwakabaka bwange; era mulityama ku ntebe egy'ekitiibwa, nga musalira emisango ebika eikumi n'ebibiri eby'Abaisiraeri. \p \v 31 Simooni, Simooni, bona, Setaani yeegayiriire okukonja imwe ng'eŋaanu: \v 32 naye nze nkusabiire, okwikirirya kwo kuleke okwikirirya: weena bw'omalanga okukyuka, onywezianga bagande bo. \p \v 33 N'amukoba nti Mukama wange, neeteekereteekere okwaba naiwe no mu ikomera no mu kufa. \p \v 34 N'akoba nti Nkukobera iwe, Peetero, enkoko atyanu teyaba kukokolyoka, nga okaali kuneegaana emirundi isatu nti tomaite. \p \v 35 N'abakoba nti Bwe nabatumire nga mubula nsawo, waire olukoba, waire engaito, mwabbaireku kye mwetaagire? Ne bakoba nti Bbe. \p \v 36 N'abakoba nti Naye atyanu, alina ensawo, agitwale, n'ow'olukoba atyo: naye abula ekitala atunde olugoye lwe akigule. \v 37 Kubanga mbakoba nti kino ekyawandiikiibwe kigwaniire okutuukirizibwa ku nze nti Yabaliirwe wamu n'abasobya: kubanga ekiŋwaniire kirina okutuukirira. \p \v 38 Ne bakoba nti Mukama waisu, bona, ebitala bibiri biinu. N'abakoba nti Binaamala. \p \v 39 N'afuluma n'ayaba ku lusozi olwa Zeyituuni, ng'empisa ye bwe yabbaire; n'abayigirizwa be boona ne bamusengererya. \v 40 Awo bwe yatuukire mu kifo awo, n'abakoba nti Musabe muleke okuyingira mu kukemebwa. \v 41 Iye n'abaawukanaku ebbanga ng'awakasukibwa eibbaale; n'afukamira n'asaba, \v 42 ng'akoba nti Itawange, bw'otaka, ntoolaku ekikompe kino: naye ti nga nze bwe ntaka, naye kyotoka iwe kikolebwe. \v 43 Malayika n'amubonekera ng'ava mu igulu ng'amuteekamu amaani. \v 44 N'afuba ng'alumwa ne yeeyongera okusaba inu: entuuyo gye ne gibba ng'amatondo g'omusaayi, nga gatonya wansi. \v 45 Bwe yagolokokere mu kusaba, n'aiza eri abayigirizwa be, n'abasanga nga bagonere olw'enaku, \v 46 n'abakoba nti Ekibagonerye ki? Mugolokoke musabe, muleke okuyingira mu kukemebwa. \p \v 47 Yabbaire akaali agonere, bona, ekibiina n'oyo ayetebwa Yuda; omumu ku abo eikumi n'ababiri, ng'abatangiire; n’asemberera Yesu okumunywegera. \v 48 Naye Yesu n'amukoba nti Yuda, Omwana w'omuntu omulyamu olukwe ng'omunywegera? \p \v 49 N'abo be yabbaire nabo bwe baboine ekyaba okubbaawo, ne bakoba nti Mukama waisu, tuteme n'ebitala? \v 50 N'omumu ku abo n'atema omwidu wa kabona asinga obukulu n'amusalaku okitu kwe oky'omuliiro. \p \v 51 Naye Yesu n'airamu n'akoba nti Koma ku ekyo kyonka. N'akwata ku kitu kye n'amuwonya. \v 52 Yesu n'akoba bakabona abakulu, n'abaami b'omu yeekaalu, n'abakaire, abaamwiziriire nti Mungiziriire ng'omunyagi, n'ebitala n'emiigo? \v 53 Bwe nabbaanga naimwe buliijo mu yeekaalu, temwangololerangaku mikono gyanyu: naye kino niikyo ekiseera kyanyu, n'obuyinza bw'endikirirya. \p \v 54 Ne bamukwata, ne bamutwala, ne bamuyingirya mu nyumba ya kabona asinga obukulu. Naye Peetero n'asengererya ng'ava wala. \v 55 Awo bwe babbaire nga bamalire okukuma omusyo wakati mu luya, nga batyaime wamu, Peetero n'atyama wakati mu ibo. \v 56 Awo omuwala omumu bwe yamuboine ng'atyaime awandi, n'amwekalirizia, n'akoba nti N'ono yabaire naye. \p \v 57 Ne yeegaana ng'akoba nti Omukali, timumaaite. \p \v 58 Ekiseera bwe kyabitirewo, ogondi n'amubona n'agkoba nti Weena oli ku ibo. Naye Peetero n'akoba nti Omuntu, ti ninze. \p \v 59 Wabbaire wabitirewo ekiseera ng'esaawa imu, ogondi n'akalirizia ng'akoba nti Mazima n'ono yabbaire wamu naye; kubanga Mugaliraaya. \p \v 60 Naye Peetero n'akoba nti Omuntu, timumaite ky'otumula. Awo amangu ago, bwe yabbaire ng'akaali atumula, enkoko n'ekolyoka. \v 61 Awo Mukama waisu n'akyuka, n'alingirira Peetero. Peetero n'aijukira ekigambo kya Mukama waisu, bwe yamukobere nti atyanu enkoko yaabba ekaali kukolyoka, wabba onegaine emirundi isatu. \v 62 N'afuluma ewanza, n'akunga inu amaliga. \p \v 63 N'abantu ababbaire bakwaite Yesu ne bamuduulira nga bamukubba. \v 64 Ne bamubiika mu maiso, ne bamubuulya, nga bakoba nti Lagula: yani akukubbire? \v 65 N'ebindi bingi ne babimutumulaku nga bamuvuma. \p \v 66 Awo obwire bwe bwakyeire, abakaire b'abantu ne bakuŋaana, bakabona abakulu era n'abawandiiki; ne bamutwala mu lukiiko lwabwe, nga bakoba nti \v 67 Oba nga niiwe Kristo, tukobere. Naye n'abakoba nti Ne bwe nabakobera, temwikirirye n'akatono; \v 68 ne bwe naababuulya, temwairemu n'akatono. \v 69 Naye okusooka atyanu Omwana w'omuntu ayaba kutyama ku mukono omuliiro ogw'amaani ga Katonda. \p \v 70 Bonabona ne bakoba nti Kale iwe oli Mwana wa Katonda? N'abakoba nti Nga bwe mutumwire niinze ono. \p \v 71 Ne bakoba nti Twetaagira ki ate abajulizi? Kubanga ife twewuliririire okuva mu munwa gwe iye. \c 23 \cl Ensuula 23 \p \v 1 Ekibiina kyonakyona ne kigolokoka, ne kimutwala ewa Piraato. \v 2 Ne basooka okumuloopa nga bakoba nti Ono twamuboine ng'akyamya eigwanga lyaisu, ng'abagaana okuwa Kayisaali omusolo, ng'atumula mweene okubba Kristo, kabaka. \p \v 3 Piraato n'amubuulya, ng'akoba nti Niiwe Kabaka w'Abayudaaya? N'amwiramu n'akoba nti Otumwire. \p \v 4 Piraato n'akoba bakabona abakulu n'ebibiina nti Timbona nsonga yonayona ku muntu ono. \p \v 5 Naye ibo ne beeyongera okutayirira nga bakoba nti Asasamalya abantu, ng'ayegeresya mu Buyudaaya bwonabwona, yasookeire Galiraaya okutuuka na wano. \v 6 Naye Piraato bwe yawuliire, n'abuulya oba ng'omuntu oyo Mugaliraaya. \v 7 Bwe yategeire nga wo mu matwale ga Kerode, n'amuweereza ewa Kerode, kubanga yeena yabbaire mu Yerusaalemi mu naku egyo. \p \v 8 Awo Kerode bwe yaboine Yesu, n'asanyuka inu; kubanga okuva eira yatakanga okumubona kubanga yawuliire ebigambo bye; n'asuubira okubona ng'akola akabonero. \v 9 N'amubuulirirya ebigambo bingi, naye iye n'atamwiramu kigambo. \v 10 Bakabona abakulu n'abawandiiki ne bayemerera ne banywezia inu okumuloopa. \v 11 Awo Kerode na basirikale ne bamunyooma, ne bamuduulira, ne bamuvaalisya ekivaalo ekinekaaneka ne bamwiryayo ewa Piraato. \v 12 Kerode no Piraato kaisi ne batabagana ku lunaku olwo; kubanga oluberyeberye babbaire bakyawagaine. \p \v 13 Piraato n'ayeta bakabona abakulu n'abakungu n'abantu, \v 14 n'abakoba nti Mundeeteire omuntu ono, nti yakyamirye abantu; era, bona, nze bwe mukemerererya mu maiso ganyu, timboine nsonga ku muntu ono mu ebyo bye mumuloopere; \v 15 era, waire Kerode, kubanga amwirirye gye tuli; era, bona, wabula kigambo ky'akolere ekisaaniire okumwitisya: \v 16 kale bwe naamalire okumubonereza, n'amulekula. \v 17 Era kyamugwaniranga okubalekuliranga omusibe mumu ku mbaga \v 18 Naye ne bakaayana bonabona wamu, nga bakoba nti Twala ono, otulekuliere Balaba: \v 19 niiye muntu gwe bateekere mu ikomera olw'obujeemu obwabbaire mu kibuga, n'olw'obwiti. \v 20 Piraato n'atumula nabo ate, ng'ataka okwita Yesu; \v 21 naye ibo ne batumulira waigulu nga bakoba nti Mukomerere, mukomerere. \v 22 N'abakoba omulundi ogw'okusatu nti Lwaki, ono akolere kibbiibi ki? Timboine ku iye nsonga emwitisya: kale bwe namala okumubonereza, n'amulekula. \v 23 Naye ibo ne bamuzitoowerera n'amaloboozi amanene, nga beegayirira okumukomerera. Amaloboozi gaabwe ne gasinga okukola. \v 24 Piraato n'asalawo ebigambo bye beegayiriire. \v 25 N'alekula oyo eyasuuliibwe mu ikomera olw'obujeemu n'obwiti gwe bamwegayiriire; naye n'awaayo Yesu okumukola nga bwe batakire. \p \v 26 Awo babbaire nga bamutwala, ne bakwata Omukuleeni Simooni, eyabbaire ava mu kyalo, ne bamutiika omusalaba, okugwetiika ng'ava enyuma Yesu. \p \v 27 Ekibiina kinene ne kimusengererya eky'abantu n'eky'abakali abaamukungirira, ne bamukungira. \v 28 Naye Yesu n'abakyukira n'akoba nti Abawala ab'e Yerusaalemi, temukungira nze, naye mwekungire mwenka, n'abaana banyu. \v 29 Kubanga, bona, enaku giiza, mwe balikobera nti Balina omukisa abagumba, n'ebida ebitazaire n'amabeere agatayonkyerye. \v 30 Kaisi ne batandikiika okukoba ensozi nti Mutugweku; n'obusozi nti Mutuvuunikire. \v 31 Kubanga bwe bakola bino ku musaale omubisi, ku mukalu kiribba kitya? \p \v 32 Era yatwaliibwe n'abandi babiri, abaakolere Obubbiibi, okwitibwa awamu naye. \p \v 33 Awo bwe baatuukire mu kifo ekyetebwa kiwanga, ne bamukomererera awo, na badi abaakola Obubbiibi, omumu ku mukono muliiro n'ogondi ku mugooda. \v 34 Awo Yesu n'akoba nti Itawange, basonyiwe; kubanga tebamaite kye bakola. Ne bagabana ebivaalo bye, nga bakubba akalulu. \p \v 35 Abantu ne bayemerera nga balingirira. Abakungu boona ne bamusekerera nga bakoba nti Yalokolanga bandi yeerokole yenka, oba ng'oyo niiye Kristo wa Katonda, omulonde we. \p \v 36 Basirikale boona ne bamuduulira nga baiza w'ali, nga bamuwa omwenge omukaatuuki, \v 37 nga bakoba nti Oba nga niiwe Kabaka w'Abayudaaya, weerokole wenka. \v 38 Ne wabbaawo n'ebbaluwa waigulu we nti ONO NIIYE KABAKA W’ABAYUDAAYA. \p \v 39 Omumu ku abo abaakolere obubbiibi abaawanikiibwe n'amuvuma ng’agoba nti Ti niiwe Kristo? Weerokole wenka naife. \p \v 40 Naye ow'okubiri n'airamu n'amunenya, n’akoba nti N'okutya totya Katonda, kubanga oli ku kibonerezo kimu naye? \v 41 Era ife twalangiibwe nsonga; kubanga ebisaaniire bye twakolere bye tusasulibbwa: naye ono takolanga kigambo ekitasaana. \v 42 N'akoba nti Yesu, onjijukiranga bw'oliizira mu bwakabaka bwo. \p \v 43 Yesu n'amukoba nti Mazima nkukoba nti Leero wabba nanze mu Lusuku lwa Katonda. \p \v 44 Awo obwire bwabbaire butuukire essaawa nga mukaaga, ne wabba endikirirya ku nsi yonayona okutuusia esaawa mwenda, \v 45 eisan obutayaka: n'eigigi ery'omu yeekaalu ne rikanukamu wakati. \v 46 Awo Yesu n’atumulira n'eidoboozi inene, n'akoba nti Itawange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo: bwe yamalire okutumula ekyo, n'awaayo obulamu. \p \v 47 Awo omwami w'ekitongole bwe yaboine ekibbairewo, n'atendereza Katonda, ng'akoba nti Mazima ono abbaire muntu mutuukirivu. \v 48 N'ebibiina byonabyona ebyabbaire bikuŋaanire okwebonera, bwe baboine ebibbairewo ne bairayo nga beekubba mu bifubba. \v 49 Ne mikwanu gye gyonagyona, n'abakali abaaviire naye e Galiraaya, ne bayemerera wala nga babona ebyo. \p \v 50 Kale bona, omuntu eriina lye Yusufu, eyabbaire omukungu, omuntu omusa era omutuukirivu \v 51 oyo teyaikiriirye kimu mu kuteesia kwabwe waire mu kikolwa kyabwe, ow'e Alimasaya, ekibuga ky'Abayudaaya, eyabbaire alindirira obwakabaka bwa Katonda: \v 52 oyo n'ayaba ewa Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. \v 53 N'aguwanula n'aguzinga mu lugoye olwe bafuta, n'amuteeka mu ntaana eyabaiziibwe mu mu ibbaale, omutateekebwanga muntu. \v 54 Kale lwabbaire lunaku lwa Kuteekateeka, sabbiiti nga yaabbaaku eizo. \v 55 N'abakali be yaviire nabo e Galiraaya, ne basengererya, ne babona entaana, n'omulambo gwe bwe gwateekeibwe. \v 56 Ne baira, ne bategeka eby'akaloosa n'amafuta ag'omusita. No ku lunaku olwa sabbiiti ne bawumula ng'eiteeka bwe liri. \c 24 \cl Ensuula 24 \p \v 1 Awo ku lunaku olw'oluberyeberye ku naku omusanvu, mu matulutulu amakeeri, ne baiza ku ntaana ne baleeta eby'akaloosa bye baategekere. \v 2 Ne babona eibbaale nga liyiringisiibwe okuva ku ntaana. \v 3 Ne bayingiramu, ne batasanga mulambo gwa Mukama waisu Yesu. \v 4 Awo olwatuukire bwe babbaire basamaalirire olw'ekyo, bona, abantu babiri ne bemerera we babbaire, nga bavaire engoye egimasamasa; \v 5 awo bwe babbaire batyaime, nga bakutamire amaiso gaabwe, ne babakoba nti Kiki ekibasagirisya omulamu mu bafu? \v 6 Abulawo wano, naye azuukiire: mwijukire bwe yatumwire naimwe ng'a akaali mu Galiraaya, \v 7 ng'abakoba nti Kigwanira Omwana w'omuntu okuweebwayo mu mikono gy'abantu abalina ebibbiibi, n'okukomererwa, no ku lunaku olw'okusatu okuzuukira. \v 8 Awo ne baijukira ebigambo bye, \v 9 ne bava ku ntaana ne bairayo, ebyo byonabyona ne babikobera badi eikumi n’omumu, n'abandi bonabona. \v 10 Babbaire Malyamu Magudaleena, no Yowaana, ne Malyamu maye wa Yakobo: n'abakali abandi wamu nabo ne babuulira abatume ebigambo ebyo. \v 11 Ebigambo ebyo ne bifaanana mu maiso gaabwe nga byo busirusiru; ne bataikirirya. \v 12 Naye Peetero n'agolokoka n'airuka ku ntaana; n'akutama n'alengimezia n'abonamu ebiwero ebya bafuta, nga biri byonka; n'aira ewuwe, nga yeewuunya ebibbairewo. \p \v 13 Awo bona, ku lunaku olwo, babiri ku ibo babbaire nga baaba mu mbuga eriina lyayo Emawu, eyabbaire ewalaku ne Yerusaalemi, sutadyo nkaaga. \v 14 Ne baloogya bonka na bonka ebyo byonabyona ebibbairewo. \v 15 Awo olwatuukire babbaire nga banyumya nga beebuulyagana, Yesu mweene n'abasemberera, n'ayaba wamu nabo. \v 16 Naye amaiso gaabwe ne gazibibwa baleke okumutegeera. \v 17 N'abakoba nti Bigambo ki bye mubuulyagana nga mutambula? Ne bayemerera nga bawooteire. \p \v 18 Omumu ku ibo eriina lye Kulyoppa n'airamu n'amukoba nti Iwe ogona wenka mu Yerusaalemi atamaite ebyabbairemu mu naku gino? \p \v 19 N'abakoba nti Bigambo ki? Ne bamugamba nti Ebya Yesu Omunazaaleesi, eyabbaire nabbi ow'amaani mu bye yakoleranga ne bye yatumulanga mu maiso ga Katonda no mu g'abantu bonabona: \v 20 na bakabona abakulu n'abakungu baisu bwe bamuwaireyo okumusalira omusango ogw'okumwita, ne bamukomerera. \v 21 Naye ife twabbaire tusuubira nti niiye alinunula Isiraeri. Ate ne ku bino byonabyona, Atyanu giino enaku isatu ebigambo bino kasookede bibbaawo. \v 22 Era n'abakali abamu ab'ewaisu batuwuniikiriirye, abawine okwaba ku ntaana; \v 23 bwe bataasangire mulambo gwe, ne baiza ne bakoba nti baboine okwolesebwa kwa bamalayika abakobere nti mulamu. \v 24 N'abamu ku abo ababbaire naife babire ku ntaana, ne basanga bwe batyo ng'abakali bwe bakobere, naye ne batamubona. \p \v 25 Kale iye n'abakoba nti Imwe abasirusiru, abagayaavu mu myoyo okwikirirya byonabyona banabbi bye batumulanga; \v 26 tekyagwaniire Kristo okubonyaabonyezebwa ebyo, kaisi ayingire mu kitiibwa kye? \v 27 N'asookera ku Musa neoku banabbi bonabona, n'abategeeza mu byawandiikiibwe ebyo byonabyona ebyamuwandiikiirwe iye. \p \v 28 Ne basembera kumpi n'embuga gye babbaire baaba: iye n'abba ng'ababitya okwaba mu maiso. \v 29 Ne bamuwalirizia nga bakoba nti Tyama naife: kubanga obwire bwaba kuwungera, n'eisana liikiriire atyanu. N'ayingira okutyama nabo. \v 30 Awo olwatuukire yabbaire atyaime nabo ku mere, n'atoola omugaati n'agwebalya, n'agumenyamu n'abawa. \v 31 Amaiso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera; n'agoteraawo ibo obutamubona. \v 32 Ne beebuulyagana nti Emyoyo gyaisu tegyabbaire nga gitutyemuka mukati mwaisu, bwe yabbaire atumula naife mu ngira, ng'atubikulira ebyawandiikiibwe? \v 33 Ne bayimuka mu kiseera ekyo ne baira e Yerusaalemi, ne basanga eikumi n'omumu, n'abo be babbaire nabo, nga bakuŋaanire \v 34 nga bakoba nti Mazima Mukama waisu azuukiire era abonekeire Simooni. \v 35 Nabo ne babanyonnyola bidi eby'omu ngira, no bwe yategeerekekere gye bali olw'okumenyamu omugaati. \p \v 36 Awo babbaire nga bakaali batumula ebyo, iye mweene n'ayemerera wakati waabwe, n'abakoba nti Emirembe gibbe mu mwe. \v 37 Naye ne beekanga ne batya, ne balowooza nti babona muzimu. \v 38 N'abakoba nti Ekibeeraliikirirya kiki? N'okubuusabuusa kwiziira ki mu myoyo gyanyu? \v 39 Mubone engalo gyange n'ebigere byange, nga niinze ono mwene: munkwateku mubone; kubanga omuzimu gubula nyama na magumba, nga bwe mubona nze bwe ndi nabyo. \v 40 Bwe yamalire okutumula ekyo, n'abalaga engalo gye n'ebigere. \v 41 Awo bwe babbaire bakaali kwikirirya olw'eisanyu, nga beewuunya, n'abakoba nti Mulina ekiriibwa wano? \v 42 Ne bamuwa ekitundu eky'ekyenyanza ekyokye. \v 43 N'akitoola n'akiriira mu maiso gaabwe. \p \v 44 N'abagamba nti Bino niibyo ebigambo byange bye nababuuliire, nga nkaali naimwe, bwe kigwanira byonabyona okutuukirizibwa, ebyawandiikiirwe nze mu mateeka ga Musa, no mu banabbi, no mu zabbuli. \v 45 Kaisi n'abikula amagezi gaabwe, bategeere ebyawandiikiibwe; \v 46 n'abakoba nti kityo bwe kyawandiikiibwe Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu ku lunaku olw'okusatu; \v 47 era amawanga gonagona okubuulirwanga okwenenya n'okutoolebwaku ebibbiibi mu liina lye, okusookera ku Yerusaalemi. \v 48 Niimwe bajulirwa b'ebyo. \v 49 Era bona, mbaweererya imwe okusuubiza kwa Itawange: naye mubbe mu kibuga okutuusia lwe mulivaalisibwa amaani agava waigulu. \p \v 50 N'abatwala ewanza n'abatuukya e Bessaniya: n'ayimusia emikono gye n'abawa omukisa. \v 51 Awo olwatuukire ng'akaali abawa omukisa, n'abaawukanaku, n'atwalibwa mu igulu. \v 52 Boona ne bamusinza, ne baira e Yerusaalemi n'eisanyu lingi: \v 53 ne babanga mu yeekaalu buliijo, nga beebalya Katonda.