\v 2 okutuusia ku lunaku ludi bwe yamalire okulagira ku bw'Omwoyo Omutukuvu abatume be yalondere n'atwalibwa mu igulu.
\v 3 Bwe yamalire okubonyaabonyezebwa ne yeeraga mu ibo nga mulamu, mu bubonero bungi, ng'ababonekera eibbanga ly'ennaku ana, ng'atumula eby'obwakabaka bwa Katonda.
\p
\v 4 Awo bwe yakuŋaanire nabo n'abalagira baleke okuva mu Yerusaalemi, naye balindirire okusuubizia kwa Itawaisu kwe baawuliire gy'ali:
\v 5 kubanga Yokaana yabatizire n'amaizi; naye imwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu mu naku ti nyingi
\v 6 Awo bwe baakuŋaanire ne bamubuulya nga bakoba nti Mukama waisu, mu biseera bino mw'ewairiryawo obwakabaka eri Isiraeri?
\v 7 N'abakoba nti Ti kwanyu okumanya entuuko waire ebiseera, Itawaisu bye yateekere mu buyinza bwe iye.
\v 8 Naye muliweebwa amaani, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okwiza ku imwe, mweena mwabbanga bajulizi bange mu Yerusaalemi no mu Buyudaaya bwonabwona no mu Samaliya, n'okutuusia ku nkomerero y'ensi.
\v 9 Bwe yamalire okutumula ebyo, nga bamulingilira, n'asitulibwa, ekireri ne kimutoola mu maiso gaabwe.
\p
\v 10 Bwe babbaire beekalirizia amaiso mu igulu bw'ayaba, bina, abantu babiri ne bayemerera kumpi nabo nga bavaire engoye egitukula;
\v 11 abatumwire nti Abantu b’e Galiraaya kiki ekibemereirye nga mukingilira mu igulu? Oyo Yesu abatooleibweku okutwalibwa mu igulu aliiza atyo nga bwe mumuboine ng'ayaba mu igulu.
\p
\v 12 Ne baira e Yerusaalemi okuva ku lusozi olwetebwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi ng'olugendo olw'oku sabbiiti.
\v 13 Awo bwe bayingiire ne baniina mu kisenge ekya waigulu, we batyamanga; Peetero no Yokaana n Yakobo no Andereya, Firipo no Tomasi, Batolomaayo no Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, no Simooni Zerote, no Yuda omwana wa Yakobo.
\v 14 Abo bonabona babbaire nga banyiikira n'omwoyo gumu mu kusaba, wamu n'abakali no Malyamu Maye wa Yesu, no bagande.
\p
\v 15 Mu naku egyo Peetero n'ayemerera wakati mu b'oluganda n’atumula (ekibiina ky'abantu abaakuŋaana babbaire nga kikumi mu abiri) nti
\v 16 Naye bino niibyo byatumwirwe nabbi Yoweeri nti
\v 17 Olulituuka mu naku egy'oluvanyuma, bw'atumula Katonda, Ndifuka ku omwoyo gwange ku balina omubiri bonabona: Abataane banyu na bawala banyu baliragula, N'abalenzi banyu balibona okwolesebwa, N'abakaire banyu baliroota ebirooto:
\v 18 Niiwo awo, ne ku baidu bange n'abazaana bange mu naku gidi Ndibafukira ku Mwoyo gwange, baliragula.
\v 29 Abasaiza ab'oluganda, nsobola okutumulira n'obuvumu mu maiso ganyu ebya bazeiza baisu omukulu Dawudi nti yafiire n'aziikibwa, n'amalaalo ge gali waisu ne atyanu.
\v 30 Kale, bwe yabbaire nabbi, bwe yamanyire nga Katonda yamulayiriire ekirayiro, nti mu baizukulu b'omu ntumbu gye alitwiryaku omuntu ku ntebe ye;
\v 31 bwe yaboine olubereberye, n'atumula ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekeibwe mu Magombe so nga n'omubiri gwe tegwavundire.
\p
\v 32 Yesu oyo Katonda yamuzuukizirye, feena niife bajulizi.
\v 33 Awo bwe yaniinisiibwe ku mukono omuliiro ogwa Katonda, n'aweebwa okusuubizia kw'Omwoyo Omutukuvu eri Itaaye, afukiire kino kye muboine atyanu kye muwuliire.
\v 34 Kubanga Dawudi teyaniinire mu igulu, naye yatumwire mweene nti Mukama yakobere Mukama wange nti Tyama ku mukono gwange muliiro,
\v 36 Kale mazima bamanye enyumba yonayona eya Isiraeri nti Katonda yamufwiire Mukama era Kristo, Yesu oyo gwe mwakomereire.
\p
\v 37 Awo bwe bawuliire ebyo emyoyo gyabwe ne gibaluma, ne bakoba Peetero n'abatume abandi nti Abasaiza ab'oluganda, twakola tutya?
\p
\v 38 Peetero n'abakoba nti Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu imwe okuyingira mu liina lya Yesu Kristo okutoolebwaku ebibbiibi byanyu, mwaweebwa ekirabo niigwo Mwoyo Omutukuvu.
\v 39 Kubanga okusuubizibwa kwanyu era kwa baana banyu n'abo bonabona abali ewala, bonabona abalyetebwa Mukama Katonda waisu.
\v 40 Era n'abategeeza mu bigambo ebindi bingi n'ababuulirira ng'akoba nti Mulokolebwe mu mirembe gino egyakyamire.
\p
\v 41 Awo abaikiriirye ekigambo kye ne babatizibwa: ne bongerwaku ku lunaku ludi abantu ng'enkumi isatu.
\v 42 Ne babba nga banyiikiriranga okwegeresebwa kw'abatume, no mu kwikirirya ekimu, no mu kumenya emigaati no mu kusaba.
\v 44-45 Eby'obugaiga byabwe n'ebintu bye babbaire nabyo ne babitunda ne bagabiranga bonabona nga buli muntu bwe yabbaire yeetaaga.
\v 46 Boona nga banyiikiriranga bulijjo n'omwoyo gumu mu yeekaalu, nga bamenya emigaati mu nyumba eika, ne balyanga emere n'eisanyu n'omwoyo ogubula bukuusa,
\v 47 nga batenderezanga Katonda, nga basiimibwanga abantu bonabona. Mukama n'abongerangaku bulijjo abaalokokanga.
\v 9 Abantu bonabona ne bamubona ng'atambula ng'atendereza Katonda,
\v 10 ne bamutegeera nga niiye oyo eyatyamanga ku lwigi Olusa olwa yeekaalu okusabirizianga efeeza, ne bawuniikirira inu n'okwewuunya olw'ekyo ekimukoleibwe.
\p
\v 11 Bwe yabbaire ng'akaali yekwaite Peetero no Yokaana, ekibiina kyonakyona ne bairuka gye baali ne bakuŋaanira mu kisasi ekiyitibwa ekya Sulemaani nga beewuunya inu.
\p
\v 12 Awo Peetero bwe yaboine n'airamu ekibiina nti Abasaiza Abaisiraeri, kiki ekibeewuunyisia bino? Mutwekaliririzia ki amaiso ng'amaani gaisu ife oba kutya kwaisu Katonda niibyo ebimutambwirye oyo?
\v 13 Katonda wa Ibulayimu era owa Isaaka era owa Yakobo, Katonda wa bazeiza baisu, yagulumizirye Omulenzi we Yesu, gwe mwawaireyo ne mumwegaanira mu maiso ga Piraato, bwe yamaliriire okumwita.
\v 14 Naye imwe ne mwegaana Omutukuvu era Omutuukirivu, ne mutaka okuweebwa omwiti,
\v 15 ne mwita Omukulu w'obulamu; oyo Katonda yamuzuukizirye mu bafu: niife bajulizi baakyo.
\v 16 Era olw'okwikirirya eriina lye oyo gwe mubona gwe mumaite eriina lye limuwaire amaani, n'okwikirirya okuli mu oyo kumuwaire obulamu buno obutuukiriire mu maiso ganyu mwenamwena.
\p
\v 17 Kale atyanu, ab'oluganda, maite nga mwakolere nga temumaite, nga n'abakulu banyu.
\v 18 Naye Katonda bye yabuuliire eira mu munwa gwa banabbi bonabona nga Kristo we alibonyaabonyezebwa, yabituukiriirye atyo.
\v 19 Kale mwenenye, mukyuke, ebibbiibi byanyu bisangulibwe, ebiseera eby'okuwumuzibwa mu maiso ga Mukama bituukire;
\v 20 yeena atume Kristo eyabaawuliirwe eira, niiye Yesu,
\v 21 eyagwanyiziibwe okutwalibwa mu igulu okutuusya mu biseera eby'okulongoosezaamu Byonabyona, Katonda bye yatumuliranga mu munwa gwa banabbi be abatukuvu ababbairewo okuva ku lubereberye.
\v 22 Musa yakobere nti Mukama Katonda alibemerererya nabbi aliva mu bagade banyu nga nze; oyo mumuwuliranga Byonabyona by'alibakoba.
\v 23 Olulituuka buli mwoyo ogutawulira nabbi oli gulizikirizibwa mu igwanga.
\v 24 Niiwo awo na banabbi bonabona n'abo okuva ku Samwiri n'abo abaamwiririra, bonabona abatumulanga, babuuliranga eby'enaku gino.
\v 25 Imwe muli baana ba banabbi, era ab'endagaano Katonda gye yalagaanire na bazeiza banyu, ng'akoba Ibulayimu nti No mu izaire lyo ebika byonabyona eby'ensi mwe biriweerwa omukisa.
\v 10 mutegeere mwenamwena n'ekibiina kyonakyona eky'Abaisiraeri nti mu liina lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, gwe mwakomereire imwe, Katonda gwe yazuukizirye mu bafu, ku bw'oyo ono ayemereire nga mulamu mu maiso ganyu.
\v 12 So Wabula mu mugondi obulokozi, kubanga wabula na liina liindi wansi w'eigulu eryaweweibwe abantu eritugwanira okutulokola.
\p
\v 13 Awo bwe baboine obugumu bwa Peetero no Yokaana, ne babategeera okubba abantu abatamaite kusoma era abatayegereseibwe inu, ni beewuunya, ne babeetegerezia nga babbaire wamu no Yesu.
\v 12 Obubonero n'eby'amagero bingi ne bikolebwanga n'emikono gy'abatume mu bantu; bonabona babbaire mu kisasi kya Sulemaani n'omwoyo gumu.
\v 13 So n'abandi tewabbaire n'omumu eyayaŋangire okwegaita nabo; naye abantu ne bagulumizia ga;
\v 14 abaikiriza ne beeyongeranga okwegaita no Mukama waisu, bangi abasaiza n'abakali;
\v 15 n'okuleeta ne baleetanga mu magira abalwaire ne babateekanga ku mikeeka no ku bitanda, Peetero bw'eyaiza ekiwolyo kye kituuke ku bamu.
\v 16 Era ebibiina ne bikuŋaananga nga biva mu bibuga ebiriraine Yerusaalemi, nga baleeta abalwaire n'ababbaire babonyaabonyezebwa dayimooni; ne bawonyezebwanga bonabona.
\p
\v 17 Naye n'ayimuka kabona asinga obukulu ne bonabona ababbaire naye (kye kitundu eky'Abasadukaayo), ne baizula eiyali,
\v 18 ne bakwata abatume ne babateeka mu ikomera ly'abantu bonabona.
\v 19 Naye malayika wa Mukama obwire n'aigulawo engigi egy'eikomera, n'abafulumya, n'akoba nti
\v 21 Bwe baawuliire ne bayingira mu yeekaalu mu matulutulu, ne begeresya. Naye kabona asinga obukulu n'aiza n'ababbaire naye, n'ayeta olukiiko n'abakaire bonabona ab'abaana ba Isiraeri, n'atuma mu ikomera okubaleeta.
\v 22 Naye abaami abayabire tebaabasangire mu ikomera, ne baira, ne batumula
\v 23 nga bakoba nti Eikomera tusangire nga lisibiibwe kusa dala n'abakuumi nga bayemereire ku njigi; naye bwe twigairewo, tetusangiremu muntu.
\v 24 Bwe baawuliire ebigambo ebyo omukulu wa yeekaalu na bakabona abakulu, ne basoberwa mu bweraliikirivu bwabwe ekigambo kino nga bwe kyaizire okubuna.
\p
\v 25 Omuntu n'aiza n'ababuulira nti Bona, abantu badi be mwateekere mu ikomera bali mu yeekaalu bemereire nga begeresya abantu.
\v 26 Awo omukulu n'abaami ne baaba ne babaleeta, sti lwa maani, kubanga babbaire batya abantu baleke okubakubba amabbaale.
\p
\v 27 Ne babaleeta ne babateeka mu maiso g'olukiiko. Kabona asinga obukulu n'ababuulya
\v 28 ng'akoba nti Okulagira twabalagira obutayegeresianga mu liina eryo: era, bona, mwizwire Yerusaalemi okwegeresya kwanyu, ne mutaka okuleeta ku ife omusaayi gw'omuntu oyo.
\v 29 Naye Peetero n'abatume ne bairamu ne bakoba nti Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.
\v 30 Katonda wa bazeiza baisu yazuukizirye Yesu gwe mwaitire imwe bwe mwamuwanikire ku musaale.
\v 31 Oyo Katonda yamuninisirye ku mukono gwe omulyo okubba omukulu era omulokozi, okuwaayo eri Isiraeri okwenenya n'okutoolebwaku ebibbiibi:
\v 36 Kubanga eira mu biseera ebyabitire Syuda yagolokokere ng'akoba nti niiye muntu omukulu, abantu nga bina ne beegaita naye: n'aitibwa, bonabona abaamuwuliire ne basaansaana, emirerembe ne gikoma.
\v 37 Oluvannyuma lwe n'agolokoka Yuda Omugaliraaya mu naku egy'okuwandiikibwa, n'atwala ekibiina okumusengererya: n'oyo n'agota, bonabona abaamuwuliire ne basaansaana.
\v 38 Ne atyanu mbakoba nti Mwebalame abantu bano, mubaleke: kubanga okuteesia kuno n'omulimu guno oba nga biviire mu bantu, birizikirira;
\v 39 naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikirirya; muleke okuboneka ng'abalwana no Katonda.
\v 40 Ne bamuwulira: ne beeta abatume, ne babakubba, ne balagira obutatumulanga mu liina lya Yesu, ne babalekula.
\p
\v 41 Awo ne bava mu maiso g'olukiiko nga basanyuka kubanga basaanyiziibwe okukwatibwa ensoni olw'Eriina.
\v 42 Buli lunaku mu yeekaalu ne mu nyumba eika tebaayosianga kwegeresyanga n'okubuuliranga Yesu nga niiye Kristo.
\v 1 Awo mu naku egyo, abayigirizwa bwe beeyongeire obungi, ne wabbaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya, kubanga banamwandu baabwe baabafisianga mu kuweereza okwa buliijo.
\p
\v 2 Eikumi n'ababiri ne beeta ekibiina ky'abayigirizwa, ne babakoba nti Tekiwooma ife okulekanga ekigambo kya Katonda okuweerezanga ku meeza.
\v 3 Kale, ab'oluganda, mulonde abantu mu mwe abasiimibwa musanvu, abaizwire Omwoyo Omutukuvu n'amagezi, be twateeka ku mulimu guno;
\v 4 naye ife twanyiikiranga mu kusaba n'okuweereza ekigambo.
\p
\v 5 Ekigambo ekyo ne kisiimibwa mu maiso g'ekibiina kyonakyona; ne balonda Suteefano, omuntu eyaizwire okwikirirya n'Omwoyo Omutukuvu, ne Firipo, ne Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo, omukyufu ow'e Antiyokiya;
\v 6 ne babateeka mu maiso g'abatume; ne basaba, ne babateekaku emikono.
\p
\v 7 Ekigambo kya Katonda ne kibuna; omuwendo gw'abayigirizwa mu Yerusaalemi ne gweyongeraku inu; ekibiina kinene ekya bakabona ne bagondera okwikirirya.
\v 1 Kabona asinga obukulu n'atumula nti Ebyo bwe biri bityo?
\p
\v 2 Suteefano n'akoba nti Abasaiza ab'oluganda era basebo, muwulire. Katonda ow'ekitiibwa yabonekeire zeiza waisu Ibulayimu ng'ali e Mesopotamiya, nga akaali kubba Kalani,
\v 3 n'amukoba nti Va mu nsi yanyi no mu kika kyo, oyabe mu nsi gye ndikulaga.
\p
\v 4 Awo n'ava mu nsi y'Abakaludaaya, n'abba mu Kalani: oluvanyuma itaaye bwe yamalire okufa, n'amutoolayo n'amuleeta mu nsi eno mwe mutyaime imwe atyanu;
\v 5 so teyamuwaire butaka muno waire awaninibwa ekigere: n'asuubizia okugimuwa okugitoola, iye n'eizaire lye oluvanyuma lwe, nga kaali nokumuwa mwana.
\v 6 Katonda n'atumulira wakati ati ng'eizaire lye baliba bagenyi mu nsi y'abandi; balibafuula abaidu, balibakolera Obubbiibi emyaka bina.
\v 7 N'eigwanga eriribafuula abaidu nze ndisala omusango gwalyo, bwe yatumwire Katonda: n'oluvanyuma balivaayo balinsinzizia mu kifo kino.
\v 8 N'amuwa endagaanu ey'okukomola: awo Ibulayimu n'azaala Isaaka, n'amukomolera ku lunaku olw'omunaana: ne Isaaka n'azaala Yakobo: ne Yakobo n'azaala bazeiza abakulu eikumi n'ababiri.
\p
\v 9 Bazeiza abakulu bwe baakwatiirwe Yusufu eiyali ne bamutunda mu Misiri. Katonda n'abbanga naye,
\v 10 n'amulokola mu naku gye gyonagyona, n'amuwa okuganja n'amagezi mu maiso ga Falaawo kabaka w’e Misiri, n'amufuula omufuzi mu Misiri no mu nyumba ye yonayona.
\p
\v 11 Enjala n'egwa ku nsi yonayona ey'e Misiri n'eya Kanani, n'enaku nyingi, so ne batabona mere bazeiza baisu.
\v 25 N'alowooza nti baganda be bategeera nga Katonda ayaba okubawa obulokozi mu mikono gye: naye tebaategeire.
\v 26 Ate ku lunaku olw'okubiri n'abasanga nga balwana, n'ageziaku okubatabaganya, ng'akoba nti Abasaiza, imwe muli bo luganda: kiki ekibakozia Obubbiibi mwenka na mwenka?
\p
\v 27 Naye odi eyabbaire akola mwinaye Obubbiibi n'amusindika edi, ng'akoba nti Yani eyakufiire iwe omukulu n'omulamuzi waisu?
\v 28 Otaka kungita nze nga bwe waitire Omumisiri eizo?
\v 29 Musa n'airuka olw'ekigambo ekyo, n'abba mugeni mu nsi ya Midiyaani, gye yazaaliire abaana babiri ab'obulenzi.
\p
\v 30 Awo emyaka ana bwe gyatuukire, malayika wa Mukama n'amubonekera mu nimi gy'omusyo nga gwaka mu kisaka, bwe yabbaire mu idungu ku lusozi Sinaayi.
\v 31 Musa bwe yaboine ne yeewuunya ky'aboine. Bwe yasembeire okwetegerezia, ne wabbaawo eidoboozi lya Mukama nti
\v 32 Niinze Katonda wa bazeiza bo, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo. Musa n'akankana, so teyagumire kulingirira.
\p
\v 33 Mukama n'amukoba nti Sumulula engaito egiri mu bigere byo: kubanga mu kifo wano w'oyemereire watukuvu.
\v 34 Okkubona mboine okukolwa Obubbiibi abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okusinda kwabwe, ne njika okubawonya. Kale atyanu iza, nakutuma mu Misiri.
\p
\v 35 Oyo Musa gwe baagaine nga bakoba nti Yani eyakufiire omukulu era omulamuzi? Oyo Katonda gwe yatumire okubba omukulu era omununuzi mu mukono gwa malayika eyamubonekeire mu kisaka.
\v 36 Oyo n'abaggyawo bwe yamalire okukola amagero n'obubonero mu Misiri, no mu Nyanza Emyufu, ne mu idungu emyaka ana.
\p
\v 37 Oyo niiye Musa odi eyakobere abaana ba Isiraeri nti Katonda alibaleetera nabbi aliva mu bagande banyu nga nze.
\v 38 Oyo niiye yabbaire mu kanisa mu idungu, wamu no malayika eyayogerera naye ku lusozi Sinaayi, era wamu na bazeiza baisu; eyaweweibwe ebigambo eby'obulamu okutuwa ife:
\v 39 bazeiza baisu gwe batatakire kuwulira, naye baamusindiike edi, ne bairayo e Misiri mu myoyo gyabwe,
\v 40 nga bakoba Alooni nti Tukolere bakatonda abalitutangira: kubanga Musa oyo, eyatutoire mu nsi y'e Misiri, tetumaite ky'abbaire.
\v 41 Ne bakola enyana mu naku gidi, ekifaananyi ne bakireetera sadaaka, ne basanyukira emirimu gy'emikono gyabwe.
\v 42 Naye Katonda n'akyuka, n'abawaayo okusinzanga eigye ery'omu igulu; nga bwe kyawandiikiibwe mu kitabo kya banabbi nti Mwampeeranga nze ensolo egyaitibwanga ne sadaaka Emyaka ana mu idungu, enyumba ya Isiraeri?
\v 44 N'eweema ey'obujulirwa yabbaire na bazeiza baisu mu idungu, nga bwe yalagiire eyakobere Musa okugikola ng'engeri gye yaboine bwe yabbaire:
\v 45 bazeiza bwe bagiweweibwe ne bagireeta wamu no Yoswa bwe baliire amatwale g'ab'amawanga, Katonda be yagobanga mu maiso ga bazeiza baisu okutuusya mu naku gya Dawudi;
\v 46 eyasiimiibwe mu maiso ga Katonda, n'asaba okumusagirira aw'okutyamisya Katonda wa Yakobo.
\v 1 No Sawulo yasiimire okwitibwa kwe. Ne wabaawo ku lunaku olwo okuyigganyizibwa kunene ku kanisa eyabbaire mu Yerusaalemi. Bonabona ne basaansaanira mu nsi gy'e Buyudaaya n'e Samaliya, wabula abatume.
\v 2 Abantu abaatya Katonda ne baziika Suteefano, ne bamukungira inu.
\v 3 Naye Sawulo n'akolera ekanisa ekyeju kingi, ng'ayingira mu buli nyumba, ng'awalula abasaiza n'abakali n'abateeka mu ikomera.
\p
\v 4 Awo abo abaasaansaanire ne baaba nga babuulira ekigambo.
\v 5 Firipo n'aserengeta mu kibuga eky'e Samaliya, n'ababuulira Kristo.
\v 6 Ebibiina ne biwulira n'omwoyo gumu ebigambo Firipo by'aytumwire, bwe baawuliire ne babona eby'amagero ge yakolanga.
\v 7 Kubanga bangi ku ibo ababbaireku dayimooni, ne babavangaku nga bakunga n'eidoboozi inene: ne bawonanga bangi ababbaire balwaire okukoozimba n'abaleme.
\v 25 Awo bwe bamalire okutegeezia n'okubuulira ekigambo kya Mukama waisu, ne bairayo e Yerusaalemi, ne babuulira enjiri mu mbuga nyingi egy'Abasamaliya.
\v 26 Naye malayika wa Mukama n'akoba Firipo ng'atumula nti Golokoka, oyabe obukiika obw'omuliiro okutuuka mu ngira eserengeta okuva mu Yerusaalemi okutuuka e Gaaza: engira eyo ye idungu.
\v 32 Mu kifo awaawandiikiibwe we yabbaire asoma niiwo awakoba nti Yatwalibwe okwitibwa ng'entama, Era ng'omwana gw'entama mu maiso g'omusali w'ebyoya bwe gusirika, Kityo teyayasamirye omunwa gwe:
\v 33 Mu kwetoowazia kwe omusango gwe gwatooleibwewo: Ekika kye yani alikinyonnyola? Kubanga obulamu bwe butolebwa mu nsi.
\v 1 Naye Sawulo bwe yabbaire akaali Atumula ebigambo eby'okukanga n'eby'okwita abayigirizwa ba Mukama waisu, n'ayaba eri kabona asinga obukulu,
\v 2 n'amusaba ebbaluwa egy'okwaaba e Damasiko, eri amakuŋaaniro, bw'alibonayo abantu ab'engira, oba nga basaiza oba bakali, abasibe abaleete e Yerusaalemi.
\p
\v 3 Awo bwe yabbaire ng'atambula, ng'alikumpi okutuuka e Damasiko, amangu ago omusana oguva mu gulu ne gumwakira okumwetooloola,
\v 4 n'agwa wansi, n'awulira eidoboozi nga limukoba nti Sawulo, Sawulo, onjiganyirya ki?
\v 5 N'akoba nti Yani iwe, Mukama wange? Iye n'akoba nti Ninze Yesu, gw'oyiganya iwe:
\v 6 naye golokoka oyingire mu kibuga; wakobera ebikugwaniire okukola.
\v 7 Naye ababbaire batambula naye ne bemerera nga basamaalirire, kubanga baawuliire eidoboozi naye ne batabona muntu.
\v 8 Sawulo n'agolokoka wansi, amaiso ge bwe gaazibukire, n'atabona kintu: ne bamukwata ku mukono ne bamuleeta e Damasiko.
\v 9 N'amala enaku isatu nga tabona, era nga talya, waire nga tanywa.
\p
\v 10 Yabbaireyo omuyigirizwa mu Damasiko, erinnya lye Ananiya; Mukama waisu n'amukoba mu kwolesebwa nti Ananiya. N'amukoba nti Bona, nze nzuuno, Mukama wange.
\p
\v 11 Mukama waisu n'amukoba nti Golokoka oyabe mu ngira eyetebwa Engolokofu, obuulirizie mu nyumba ya Yuda omuntu eriina lye Sawulo ow'e Taluso; kubanga, bona, asaba;
\v 20 Amangu ago n'abuulira Yesu mu makuŋŋaaniro ng'oyo niiye Omwana wa Katonda.
\v 21 Bonabona abaamuwuliire ne beewuunya ne bakoba nti Ti niye ono eyanyaganga mu Yerusaalemi abaasabanga eriina eryo? Niikyo ekyamuleetere ne wano abasibe abatwale eri bakabona abakulu.
\v 22 Naye Sawulo ne yeeyongeranga okubba n'amaani n'akwatisianga ensoni Abayudaaya ababbaire batyama e Damasiko, ng'ategeerezia dala nti oyo niiye Kristo.
\v 24 Naye amagezi gaabwe Sawulo n'agamanya. Ne bateeganga ne ku nzigi emisana n'obwire okumwita.
\v 25 Naye abayigirizwa be ne bamutwala obwire ku kisenge, ne bamwikiriria mu kiibo.
\p
\v 26 Bwe yatuukiire e Yerusaalemi n'ageziaku okwegaita n'abayigirizwa: ne bamutya bonabona, nga bakaali kwikiriya nga naye muyigirizwa.
\v 27 Naye Balunaba n'amutwala n'amuleeta eri abatume, n'abanyonyola bwe yaboine Mukama waisu mu ngira, era nti yatumwire naye, ne bwe yabuuliire n'obugumu mu Damasiko mu liina lya Yesu.
\v 28 N'abbanga wamu nabo ng'ayingiranga ng'afulumanga mu Yerusaalemi,
\v 29 ng'abuuliranga n'obugumu mu liina lya Mukama waisu: n'atumula n'awakananga n'Abakerenisiti: naye ne bageziaku okumwita.
\v 30 Ab'oluganda bwe baategeire ne bamutwala e Kayisaliya, ne bamusindika e Taluso.
\p
\v 31 Awo ekanisa eyabbaire mu Buyudaaya bwonabwona no mu Galiraaya no mu Samaliya n'ebba n'emirembe, ng'ezimbibwanga; era ng'etambuliranga mu kutya Mukama waisu no mu isanyu ery'Omwoyo Omutukuvu ne yeeyongera.
\p
\v 32 Awo olwatuukire Peetero bwe yabbaire ng'abita wonawona, n'aserengeta eri abatukuvu ababbaire batyama mu Luda:
\v 37 Olwatuukire mu naku egyo n'alwala n'afa: bwe baamalire okumunaabya ne bamuteeka mu kisenge ekya waigulu.
\p
\v 38 Era kubanga Luda kyabbaire kumpi ne Yopa, abayigirizwa bwe baawuliire nga Peetero aliyo, ne bamutumira abantu babiri nga bamwegayirira nti Tolwa, tuukirira gye tuli.
\v 39 Peetero n'agolokoka n'ayaba nabo. Bwe yatuukiire ne bamutwala mu kisenge ekya waigulu: na banamwandu bonabona ne beemerera kumpi naye, nga bakunga nga boolesia ebizibawo n'ebivaalo Doluka bye yakolanga ng'akyali nabo.
\v 2 omwegendereza, atya Katonda awamu n'enyumba ye yonayona, eyagabanga ebintu ebingi mu bantu, n'asabanga Katonda enaku gyonagyonna.
\p
\v 3 Oyo n'abona mu kwolesewa mu lwatu, nga mu saawa ey'omwenda ey'emisana, malayika wa Katonda ng'amuyingirira, ng'amukoba nti Koluneeriyo.
\p
\v 4 N'amwekaliriza amaiso n'atya n'akoba nti Kiki, Mukama wange? N'amukoba nti Okusaba kwo n'okugaba kwo bininire olw'okwijukirya mu maiso ga Katonda.
\v 5 Era atyanu tuma abantu e Yopa, oyeteyo omuntu Simooni, eriina lye ery'okubiri Peetero:
\v 6 oyo yakyaliibwe omuntu Simooni, omuwazi w'amawu, n'enyumba ye eriraine ku nyanja.
\p
\v 7 Malayika eyatumwire naye bwe yayabire, yayetere abaidu be babiri ab'omu nyumba na sirikale atya Katonda mu abo abaamuweerezanga buliijo:
\v 8 bwe yamaliriire okubategeeza ebigambo byonabyona n'abatuma e Yopa.
\p
\v 9 Awo ku lunaku olw'okubiri, bwe babbaire nga batambula abo, nga bali kumpi okutuuka ku kibuga, Peetero n'aniina ku nyumba waigulu okusaba nga mu saawa ey'omukaaga.
\v 10 N'alumwa enjala n'ataka okulya. Naye bwe babbaire nga baizula, omwoyo gwe ne guwaanyisibwa;
\v 11 n'alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ne kimukkira nga kifaanana essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku birenge bina okussibwa, n'essibwa wansi:
\v 21 Peetero n'akka eri abantu n'agamba nti Laba, nze nzuuno gwe munoonya: kiki ekibaleese?
\p
\v 22 Ne bagamba nti Koluneeriyo omwami, omuntu omutuukirivu, atya Katonda, eyasiimibwa mu ggwanga lyonna ery'Abayudaaya, yalabulwa malayika omutukuvu okukutumira okujja mu nnyumba ye, awulire ebigambo ebiva mu ggwe.
\v 26 Naye Peetero n'amuyimusa ng'agamba nti Yimirira; nange ndi muntu buntu.
\p
\v 27 Ng'ayogera naye n'ayingira n'asanga bangi nga bakuŋŋaanye,
\v 28 n'abagamba nti Mumanyi nga si kirungi omuntu Omuyudaaya okwegatta n'ow'eggwanga eddala oba okujja gy'ali; era Katonda yandaga nnemenga okuyita amuntu yenna ow'omuzizo oba omubi.
\v 29 Kyenvudde njija ne ssigaana bwe nnayitibwa. Kyeava mbuuza nti Kiki ekimpisizza?
\p
\v 30 Awo Koluneeriyo n’agamba nti Kaakano waakayitawo ennaku nnya nnali nga nsaba, okutuusa mu ssaawa eno okusaba okw'omu ssaawa ey'omwenda mu nnyumba yange; laba, omuntu n’ayimirira mu maaso gange eyalina engoye ezimamasa,
\v 31 n'agamba nti Koluneeriyo, okusaba kwo kwawulirwa, okugaba kwo ne kujjukirwa mu maaso ga Katonda.
\v 32 Kale tuma e Yopa, oyite Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero: oyo yakyazibwa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba eri okumpi n’annyanja.
\v 33 Awo amangu ago ne nkutumira: n'okola bulungi bw'ozze. Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by'olagiddwa Mukama.
\p
\v 34 Awo Peetero n'ayasamya akamwa ke n'agamba nti Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu:
\v 1 Abatume n'ab'oluganda ababbaire mu Buyudaaya ne bawulira ng'abamawanga boona baikirirye ekigambo kya Katonda.
\v 2 Awo Peetero bwe yayambukire e Yerusaalemi, badi abakomole ne bawakana naye
\v 3 nga bakoba nti Wayabire mu bantu abatali bakomole n'olya nabo.
\p
\v 4 Naye Peetero n'atandika n'abanyonyola kimu Ku kimu ng'akoba nti
\v 5 Nze nabbaire mu kibuga Yopa nga nsaba; omwoyo gwange ne guwaanyisibwa, ne mbona mu kwolesebwa ekintu nga kiika ng'eisuuka einene, nga kikwatiibwe ku birenge ebina okwisibwa nga kiva mu igulu, ne kingizira:
\v 6 bwe neekalirizirye amaiso ne ndowooza ne mbona ebisolo by'oku nsi ebirina amagulu ana n'ebisolo eby'omu nsiko, n'eby'ekuusa n'enyonyi egy'omu ibbanga.
\v 7 Era ne mpulira eidoboozi nga linkoba nti Peetero, yemerera osale olye
\v 8 Naye nenkoba nti Bbe, Mukama wange; kubanga ekintu eky'omuzizo waire ekibbiibi tekiyingiranga mu munwa gwange n'akatono.
\p
\v 9 Naye eidoboozi ne lingiramu omulundi ogw'okubiri nga liva mu igulu nti Katonda bye yalongooserye tobifuulanga iwe eby'omuzizo.
\v 10 Ne kibba kityo emirundi isatu; byonabyona ne biniisibwa ate mu igulu.
\p
\v 11 Kale, bona, amangu ago abantu basatu babbaire nga bayemereire mu maiso g'enyumba mwe twabbaire, abaatumiibwe gye ndi okuva e Kayisaliya.
\v 12 Omwoyo n'ankoba okwaba nabo, obutayawula. Bano ab'oluganda omukaaga ne baaba nanze, ne tuyingira mu nyumba y'odi;
\v 13 n'atukobera bwe yaboine malayika mu nyumba ye ng'ayemereire ng'ankoba nti Tuma e Yopa oyete Simooni eriina lye ery'okubiri Peetero;
\v 14 alikubuulira ebigambo ebirikulokola iwe n'enyumba yo yonayona.
\v 15 Bwe nabbaire nga nakatandiika okutumula, Omwoyo Omutukuvu n'abagwaku era nga bwe yasookeire ku ife.
\v 16 Ne ngijukira ekigambo kya Mukama waisu bwe yatumwire nti Yokaana yabatizire na maizi, naye imwe mulibatizibwa no Mwoyo Mutukuvu.
\v 17 Kale Katonda oba nga abawaire ekirabo ekyo nga ife okwekankana, bwe twaikirirye Mukama waisu Yesu Kristo, nze nabbaire yani eyandisoboire okuziyizia Katonda?
\p
\v 18 Bwe bawuliire ebyo ne basirika, ne bagulumizia Katonda nga bakoba nti Kale Katonda; awaire n'ab'amawanga okwenenya okutuuka ku bulamu.
\p
\v 19 Boona abaasaansanire mu kuyiganyizibwa okwabbairewo ku Suteefano ne batambula okutuuka e Foyiniiki ne Kupulo ne Antiyokiya, ne batabuulira kigambo muntu gondi wabula Abayudaaya bonka.
\v 20 Naye waaliwo abantu mu ibo ab'e Kupulo n'ab'e Kuleene, abo bwe baatuukire mu Antiyokiya ibo ne batumula n'Abayonaani, nga babuulira Mukama waisu Yesu.
\v 22 Ekigambo ekyo ne kiwulirwa okutuuka mu matu g'ekanisa eyabbaire mu Yerusaalemi; ne batuma Balunabba okutuuka mu Antiyokiya:
\v 23 naye bwe yamalire okutuuka n'abona ekisa kya Katonda n'asanyuka, n'ababuulirira bonabona nti Mumalirire mu mwoyo okwekwata ku Mukama waisu:
\v 24 kubanga yabbaire muntu musa, n'aizula Omwoyo Omutukuvu n'okwikirirya. Ekibiina kinene ne kireetebwa eri Mukama waisu.
\p
\v 25 N'avaayo okwaba e Taluso okusagira Sawulo:
\v 26 bwe yamalire okumubona n'amuleeta mu Antiyokiya. Awo olwatuukire ne bamala omwaka mulamba nga bakuŋaana n'ekanisa ne bayegeresya ekibiina kinene: abayigirizwa ne basooka okwetebwa Abakristaayo mu Antiyokiya.
\p
\v 27 Mu nnaku egyo banabbi ne bava e Yerusaalemi okutuuka Antiyoklya.
\v 28 N'ayemerera omumu ku ibo, eriina lye Agabo, n'abuulira ku bw'Omwoyo nti Walibba enjala nyingi mu nsi gyonagyona: yoona yabbbairewo ku mirembe gya Kulawudiyo.
\v 29 Abayigirizwa, buli muntu nga bwe yabbaire n'ebintu, ne bateesia okuweereza ab'oluganda ababbaire batyama e Buyudaaya:
\v 30 n'okukola ne bakola batyo ne baweereza abakaire mu mukono gwa Balunabba no Sawulo.
\v 3 Awo bwe yaboine nga Abayudaaya bakisiimire, ne yeeyongera okukwata no Peetero. Niigyo enaku egy'emigaati egitazimbulukuswa.
\v 4 Bwe yamalire okumukwata, n'amuteeka mu ikomera, n'amuwaayo eri basirikale ikumi na mukaaga okumukuuma kinabana, ng'ataka okumutwala mu maiso g'abantu Okubitaku nga kuweire.
\p
\v 5 Awo Peetero n'akuumirwa mu ikomera: naye ab'ekanisa ne banyiikiranga okumusabira eri Katonda.
\v 6 Ku lunaku Kerode lwe yabbaire ataka okumutwalayo, mu bwire ekyo Peetero yabbaire nga agonere wakati w'abasirikale babiri, ng'asibiibwe n'enjegere ibiri, abakuumi babbaire ku lwigi nga bakuuma eikomera.
\v 7 Bona, malayika wa Mukama n'ayemerera w'ali, okutangaala ne kwizula ekisenge, n'akubba Peetero mu mpete n'amuzuukya ng'akoba nti Yimuka mangu. Enjegere ne giva ku mikono ne gigwa.
\v 8 Malayika n'amukoba nti Weesibe, ovaale engaito gyo. N'akola atyo. N'amukoba nti Vaala ekivaalo kyo, onsengererye.
\v 9 N'afuluma, n'amusengererya; so teyamanyire nga bya mazima malayika by'akolere, naye yalowooza nti aboine kwolesewa.
\v 10 Bwe babitire ku bakuumi abaasookerwaku n'ab'okubiri ne batuuka ku lwigi olw'ekyoma olubitibwaku okutuuka mu kibuga: ne lubaigukirawo lwonka: ne bafuluma ne babita mu ngira imu; amangu ago malayika n'amuleka.
\v 11 Peetero bwe yayiriremu n'akoba nti atyanu ntegeire mazima nga Mukama waisu atumire malayika n'antoola mu mukono gwa Kerode no mu kusuubira kwonakwona okw'eigwanga ly'Abayudaaya.
\p
\v 12 Bwe yalowoozere n'aiza mu nyumba ya Malyamu eyabbaire maye wa Yokaana eriina lye ery'okubiri Mako, mwe babbaire bakuŋaanire abangi nga basaba.
\v 14 Bwe yategeire eidoboozi lya Peetero n'ataigulawo lwigi olw'eisanyu, naye n'ayingira mbiro n'akoba nti Peetero ayemereire ewanza ku lwigi.
\v 15 Ne bamukoba nti Olalukire. Naye n'aikalirirya nti Niiwo awo. Ne bakoba nti Niiye malayika we.
\v 16 Naye Peetero ne yeeyongera okukonkona: awo bwe baigwirewo ne bamubona ne basamaalirira.
\v 17 Naye bwe yabawenyere n'omukono okusirika, n'abakobera Mukama waisu bw'amutoire mu ikomera. N'akoba nti Mukobere ebyo Yakobo n'ab'oluganda. N'avaayo n'ayaba mu kifo awandi.
\p
\v 18 Awo bwe bwakyeire amakeeri, abasirikale ne beegugumula inu nti Peetero abbbaire ki?
\v 19 Kerode bwe yamusaagire n'atamubona n'abuulirirya abakuumi n'alagira okubaita. N'ava mu Buyudaaya okwaba e Kayisaliya n'atyama eyo.
\p
\v 20 N'asunguwalira inu ab'e Ttuulo n'ab'e Sidoni: ne baiza gy'ali n'omwoyo gumu; bwe baakwanagaine no Bulasito omukulu w'omu nyumba ya kabaka, ne basaba okubawa emirembe, kubanga ensi yaabwe eriisibwa byo mu nsi ya kabaka.
\v 21 Awo ku lunaku olwalagaanyiziibwe Kerode n'avaala ebivaalo eby'obwakabaka, n'atyama ku ntebe, n'abakoba ebigambo.
\v 22 Abantu bonabona ne batumulira waigulu nti Eryo idoboozi lya katonda, ti lyo muntu.
\v 23 Amangu ago malayika wa Mukama n'amukubba, kubanga tawaire Katonda ekitiibwa: n'aliibwa amagino, n'afa.
\p
\v 24 Naye ekigambo kya Katonda ne kikula ne kyeyongeranga.
\p
\v 25 Balunabba ne Sawulo ne bairayo okuva e Yerusaalemi, bwe bamalire okutuukirirya okuweereza kwabwe, ne baleeta Yokaana eriina lye ery'okubiri Mako.
\v 1 Mu Antiyokiya mu kanisa eyabbareyo waaliwo banabbi n'abegeresya, Balunabba ne Simyoni eyabbaire ayetebwa Niga, ne Lukiyo ow'e Kuleene ne Manaeni eyayonseibwe awamu no Kerode oweisaza, ne Sawulo.
\v 2 Nga baweereza Mukama waisu n'okusiiba, Omwoyo Omutukuvu n'akoba nti Munondere Balunabba ne Sawulo bakole omulimu gwe mbeteire.
\v 3 Awo ne basiiba ne basaba ne babateekaku emikono ne babatuma.
\p
\v 4 Awo abo bwe baatumiibwe Omwoyo Omutukuvu ne baserengeta e Serukiya; ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka e Kupulo.
\v 5 Bwe babbaire mu Salamini ne babuulira ekigambo kya Katonda mu makuŋaaniro g'Abayudaaya: ne babba no Yokaana okubaweereza.
\p
\v 6 Bwe babitire ku kizinga kyonakyona okutuuka e Pafo, ne babona omuntu omulogo, nabbi ow'obubbeyi, Omuyudaaya, eriina lye Balisa;
\v 28 Bwe bataboine nsonga yo kumwita, ne basaba Piraato okumwita.
\v 29 Awo bwe baamalire okutuukirirya byonabyona ebyamuwandiikweku ne bamuwanula ku musaale ne bamuteeka mu ntaana.
\v 30 Naye Katonda n'amuzuukizya mu bafu:
\v 31 n'ababonekera enaku nyingi abaayambukire naye okuva e Galiraaya okutuuka e Yerusaalemi, niibo bajulirwa be atyanu eri abantu.
\v 32 Ife tubabuulira ebigambo ebisa, eby'okusuubiza okwasuubiziibwe bazeiza nti
\v 33 Katonda akutuukiriryaa eri abaana baisu bwe yazuukiziry Yesu; era nga bwe kyawandiikiibwe mu Zabbuli ey'okubiri nti Niiwe mwana wange, nkuzaire atyanu.
\p
\v 34 Era kubanga yamuzuukizirye mu bafu nga tayaba ate kwirayo mu kuvunda, yakobere ati nti Ndibawa emikisa emitukuvu era egyenkalakalira egya Dawudi.
\p
\v 35 Kubanga yatumwire ne mu Zabbuli egendi nti Toliwaayo Mutukuvu wo okuvunda.
\p
\v 36 Kubanga Dawudi bwe yamalire okuweereza mu biseera bye nga Katonda bwe yateeserye, nagona n'ateekebwa eri bazeizabe, n'avunda:
\v 42 Bwe baafulumire ne babeegayirira okubabuulira ebigambo bino ku sabbiiti ey'okubiri.
\v 43 Ekibiina bwe kyasaansaanire bangi ku Bayudaaya n'abakyufu abeegendereza ne batumulira Pawulo no Balunabba: Boona ne batumula nabo ne babasendanga okunyiikirira mu kisa kya Katonda.
\p
\v 44 Awo ku sabbiiti ey'okubiri ne bakuŋaana nge kibuga kyonakyina okuwulira ekigambo kya Katonda.
\v 45 Naye Abayudaaya bwe baboine ekibiina, ne baizula eiyali, ne bawakanya ebyatumwirwe Pawulo, nga babivuma.
\v 46 Pawulo no Balunabba ne batumula n'obuvumu nti Kyagwanire okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda mu imwe. Kubanga mukisindiikirirya so temwiraba kusaanira bulamu obutawaawo, bona, tukyukira eri ab'amawanga.
\v 47 Kubanga Mukama yatulagiire ati nti Nkuteekerewo okubbanga omusana gw'amawanga, Obbanga obulokozi okutuusia ku nkomerero y'ensi.
\p
\v 48 Ab'amawanga bwe baawulira ne basanyuka ne bagulumizia ekigambo kya Katonda: bonabona ne baikirirya ababbaire bagisisiibwe obulamu obutaggwaawo.
\v 49 Ekigambo kya Mukama waisu ne kibuna mu nsi edi yonayona.
\p
\v 50 Naye Abayudaaya ne babaweerera abakyala abeegendereza ab'ekitiibwa, n'abakulu ab'omu kibuga, ne bayiganyisia Pawulo no Balunabba, ne bababbinga mu mbibi gyabwe.
\v 51 Naye ne babakunkumulira enfuufu ey'omu bigere ne baiza okutuuka Ikoniyo.
\v 52 Abayigirizwa ne baizula eisanyu n'Omwoyo Omutukuvu.
\v 1 Awo olwatuukire mu Ikonio ne bayingirira wamu mu ikuŋaaniro ly'Abayudaaya, ne batumula batyo ekibiina kinene n'okwikirirya ne baikirirya, Abayudaaya n'Abayonaani.
\v 2 Naye Abayudaaya abataagondere ni beesoomera ab'amawanga ne bafuula emeeme gyabwe okubba embibbi eri ab'oluganda.
\v 3 Awo ne bamala ebiseera bingi nga babuulira n'obuvumu mu Mukama waisu, eyategeezerye ekigambo eky'ekisa kye, ng'abawa obubonero n'eby'amagero okukolebwanga mu mikono gyabwe.
\p
\v 4 Naye ekibiina eky'omu kibuga ne kyawukanamu; abamu ne babba ku ludda lw'Abayudaaya abandi ku ludda lw'abatume.
\v 10 n'atumula n'eidoboozi inene nti Yemerera ku bigere byo, weegolole. N'abuuka n'atambula.
\p
\v 11 Ebibiina bwe baboine Pawulo ky'akolere, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga batumula mu lulimi Olulukaoniya nti Bakatonda baikire gye tuli nga bafaanana abantu.
\v 12 Balunabba ne bamweta Zewu; ne Pawulo ne bamweta Kerume, kubanga niiye yasingire okutumula.
\v 13 Kabona wa Zewu, eyabbaire mu maiso g'ekibuga, n'aleeta ente n'engule gy'ebimuli okutuuka ku lwigi ng'ataka okuwaayo sadaaka n'ebibiina.
\p
\v 14 Naye abatume Balunabba no Pawulo bwe baawuliire, ne bakanula engoye gyabwe ne bafubutuka na baaba mu kibiina, nga boogerera waggulu
\v 15 nga bakoba nti Abasaiza, kiki ekibakozesya ebyo? Feena tuli bantu abakwatibwa Byonabyona nga imwe, era tubabuulira ebigambo ebisa muleke ebyo ebibulamu kaisi Katonda omulamu, eyakolere eigulu n'ensi n'enyanza n'ebintu byonabyona ebirimu:
\v 16 mu mirembe egyabitire yalekere amawanga gonagona okutambuliranga mu mangi gaago:
\v 17 naye teyeemalireyo nga bula mujulizi, kubanga yakolanga kusa, ng'abatonyeseryanga amaizi okuva mu igulu n’ebiseera eby'okubalirangamu emere, ng'aizulyanga emyoyo gyanyu emere n'eisanyu.
\v 18 Bwe batumwire ebyo, ne baziyizia ebibiina lwe mpaka okubawa sadaaka.
\p
\v 19 Naye Abayudaaya ne bava mu Antiyokiya ne Ikonio, ne besoomera ebibiina ne bakubba amabbaale Pawulo, ne bamuwalulira ewanza w'ekibuga, nga balowooza nti afiire.
\v 20 Naye abayigirizwa bwe baamwetooloire n'ayemerera n'ayingira mu kibuga: ku lunaku olw'okubiri n'ayaba no Balunabba okutuuka e Derube.
\v 21 Bwe baamalire okubuulira enjiri mu kibuga ekyo n'okufuula abayigirizwa abangi, ne baira mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya,
\v 22 nga banywezia emeeme gy'abayigirizwa, nga bababuulirira okunyiikiriranga mu kwikiriya, era nti olw'okulbona enaku enyingi kitugwaniire okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
\v 23 Bwe baamalire okulondera abakaire mu buli kanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waisu gwe baikirirya.
\p
\v 24 Ne babita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya.
\v 25 Bwe baamalire okubuulira ekigambo mu Peruga ne baserengeta mu Ataliya;
\v 26 ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka Antiyokiya; abaayo niibo abaabasigiire ekisa kya Katonda olw'omulimu gwe baatuukirizirye.
\v 27 Bwe baatuukire ne bakuŋaanya ekanisa, ne bababuulira byonabyona Katonda bye yakoleranga awamu nabo, era nti yaiguliirewo ab'amawanga olwigi olw'okwikirirya.
\v 28 Ne bamalayo ebiseera bingi wamu n'abayigirizwa.
\v 1 Awo abantu ne bava e Buyudaaya ne begeresya ab'oluganda nti Bwe mutaakomolebwenga ng'empisa ya Musa bw'eri, temuyinza kulokoka.
\v 2 Bwe wabbaire empaka enyingi n'okwawukana kw'endowooza wakati wa Pawulo no Balunabba, ku luuyi olumu, boona abaaviire e Buyudaaya, ne balagira Pawulo no Balunabba n'abandi ku ibo okwaba e Yerusaalemi eri abatume n'abakaire
\v 3 Awo abo bwe baamalire okusibirirwa ab'ekanisa ne babita mu Foyiniiki ne Samaliya, nga banyonyolera dala okukyuka kw'ab'amawanga: ne basanyukirya dala ab'oluganda bonabona.
\v 4 Bwe baatuuka e Yerusaalemi, ab'ekanisa n'abatume n'abakaire ne babasembelya, ne babuulira byonabyona Katonda bye yakoleranga awamu nabo.
\p
\v 5 Naye ne bagolokoka abamu ab'omu kitundu ky'Abafalisaayo abaikirirya, nga bakoba nti Kigwana okubakomolanga n'okubalagira okukwatanga amateeka ga Musa.
\p
\v 6 Abatume n'abakaire ne bakuŋaana okwetegerezia ekigambo ekyo.
\v 7 Bwe wabbaire okwawukana kw'endowooza kungi, Peetero n'ayemerera n'abakoba nti Abasaiza ab'oluganda, imwe mumaite nti okuva mu naku egy'eira Katonda yalondere mu imwe ab'amawanga bawulire mu munwa gwange ekigambo eky'enjiri ne baikirirya.
\v 8 No Katonda amaite emyoyo n'abategeeza bwe yabawa Omwoyo Omutukuvu era nga ife;
\v 12 Ekibiina kyonakyona ne kisirika; ne bawulira Balunabba no Pawulo nga banyonyola obubonero n'eby'amagero byonabyona Katonda bye yabakolanga mu mawanga.
\v 21 Kubanga okuva eira Musa alina mu buli kibuga abamubuulira, ng'asomebwa mu makuŋaaniro buli sabbiiti.
\p
\v 22 Awo ne bakisiima abatume n'abakaire wamu n'ekanisa yonayona okulonda abantu mu ibo n'okubatuma Antiyokiya n Pawulo n Balunabba; Yuda ayetebwa Balusaba n Siira, abantu abakulu mu b'oluganda:
\v 23 ne bawandiika ne bagikwasya mu mikono gyabwe nti Abatume n'ab'oluganda abakaire tusugiirye ab'oluganda abali mu Antiyokiya no Busuuli ne Kirukiya abali mu mawanga:
\v 24 kubanga tuwuliire nti abantu abaava ewaisu baabasasamalya n'ebigambo nga bakyusia emeeme gyanyu, be tutalagiranga;
\v 6 Ne babita mu nsi y'e Fulugiya ne Galatiya, kubanga baagaaniibwe Omwoyo Omutukuvu okutumula ekigambo mu Asiya;
\v 7 bwe baatuukiire okumpi ne Musiya, ne bagezyaku okugenda mu Bisuniya, n'Omwoyo gwa Yesu n'atabaikirirya;
\v 8 ne beekooloobya Musiya, ne batuuka e Tulowa.
\v 9 Pawulo n'abona okwolesewa obwire, omuntu Omumakedoni ng'ayemereire era ng'amwegayirira ng'akoba nti Wunguka okutuuka e Makedoni otuyambe.
\v 10 Bwe yamalire okubona okwolesewa, amangu ago ne tusala amagezi okusitula okwaba e Makedoni, nga tutegeera nti Katonda atwetere okubabuulira enjiri.
\v 11 Kyetwaviire tusaabala okuva e Tulowa ne tukwata engira engolokofu okutuuka e Samoserakiya, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Neyapoli;
\v 12 ne tuvaayo okutuuka e Firipi, kye kibuga eky'e Makedoni ekisookerwaku mu njuyi egyo, ekyazimbiibwe Abaruumi: ne tubba mu kibuga omwo ne tulwamu enaku.
\v 13 Awo ku lunaku lwa sabbiiti ne tufuluma mu mulyango gw'ekibuga okwaba ku mwiga bwe twalowoozerye nga yabbaireyo ekifo eky'okusabirangamu: ne tutyama ne tutumula n'abakali
\v 15 Bwe yabatiziibwe iye n'enyumba ye, n'atwegayirira ng'akoba nti Oba nga munsiimire okubba omwesigwa eri Mukama waisu, muyingire mu nyumba yange mubbe omwo. N'atuwalirizia.
\v 18 N'akolanga atyo enaku nyingi. Naye Pawulo, bwe yanakuwaire einu, n'akyuka n'akoba dayimooni nti Nkulagira mu liina lya Yesu Kristo omuveeku. N'amuvaaku mu kiseera ekyo.
\v 25 Naye obwire mu itumbi Pawulo no Siira ne basaba ne bayembera Katonda, abasibe ne babawulira;
\v 26 amangu ago ne wabbaawo ekikankano kinene n'emisingi gy'eikomera ne gikankana: amangu ago enjigi gyonagyona ne giguka; n'ebyabbaire bibasibire bonabona ne bisumulukuka.
\v 35 Naye bwe bwakyeire amakeeri, abalamuzi ne batuma basirikale baabwe nga bakoba nti Musumulule abantu abo.
\p
\v 36 Omukuumi w'eikomera n'abuulira Pawulo ebigambo ebyo nti Abalamuzi batumire okubasumulula: kale Atyanu mufulume, mwabe n'emirembe.
\p
\v 37 Naye Pawulo n'abakoba nti Batukubbire mu maiso ga bantu nga tukaali kusalirwa musango, nga tuli Bantu Barooma ne batusindiikirirya mu ikomera; ne batutoolamu kyama? Bbe; naye baize beene batufulumye.
\p
\v 38 Basirikale ne bakobera abalamuzi ebigambo bino: ne batya bwe baawuliire nga Baroomo:
\v 39 ne baiza ne babeegayirira, ne babafulumya, ne bataka bave mu kibuga.
\v 40 Ne bafuluma mu ikomera, ne bayingira mu nyumba ya Ludiya, ne babona ab'oluganda ne babasanyusia ne bavaayo.
\v 1 Ne Babita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sesaloniika ewabbaire eikuŋaaniro ly'Abayudaaya:
\v 2 awo Pawulo nga bwe yabbaire empisa ye n'ayingira mu ibo, mu sabbiiti isatu n'awakana nabo mu byawandiikibwa,
\v 3 ng'abikula ng'ategeeza nti Kristo kyamugwaniire okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu; era nti Oyo Yesu nze gwe mbabuulira niiye Kristo.
\v 4 Abamu ku ibo ne baikirirya ne beegaita ne Pawulo no Siira; n'Abayonaani abeegenderezia ekibiina kinene n'abakyala abakulu ti batono.
\p
\v 5 Naye Abayudaaya bwe baakwatiibwe eiyali ne batwala abantu ababbiibi ab'omu bakopi ne bakuŋaanyisia abantu ne basasamazia ekibuga. Ne bazingiza enyumba ya Yasooni ne bataka okubaleeta mu maiso g'abantu.
\v 6 Bwe bataababoine, ne bawalula Yasooni n'ab'oluganda abamu okubatwaire mu maiso g'abakulu ab'omu kibuga nga batumulira waigulu nti Bano abavuunika ensi baizire ne wano;
\v 7 ne Yasooni yabasembezerye. Bano bonabona bajeemera amateeka ga Kayisaali nga bakoba nti Waliwo kabaka ogondi, Yesu.
\v 9 Bwe baamalire okweyemererya Yasooni n'abantu, ne babalekula.
\p
\v 10 Amangu ago ab'oluganda ne basindika obwire Pawulo ne Siira okwaba e Beroya: boona bwe baatuukire eyo ne bayingira mu ikuŋaaniro ly'Abayudaaya.
\v 11 Naye bano babbaire basa okusinga ab'e Sesalonika, kubanga baikiriirye ekigambo n'omwoyo omwangu einu, buli lunaku nga basagira mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bityo.
\v 12 Abamu bangi kyebaaviire baikirirya, era n'abakali abakyala Abayonaani n'abasaiza ti batono.
\p
\v 13 Naye Abayudaaya ab'e Sesalonika bwe baategeire ng'ekigambo kya Katonda kibuuliirwe Pawulo era mu Beroya, era ne baizayo ne beesomera ebibiina ne basasamazia.
\v 14 Awo amangu ago ab'oluganda ne basindika Pawulo okwaba okutuuka ku nyanza: Siira no Timoseewo ne babba eyo.
\v 15 Naye abaawerekeire Pawulo ne bamuleeta mu Asene, ne balagirwa okukoba Siira ne Timoseewo baize gy'ali amangu nga bwe basoboire, ne baaba.
\p
\v 16 Naye Pawulo bwe yabbaire mu Asene ng'abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yaboine ekibuga nga kizwiire ebifaananyi.
\v 17 Awo n'awakaniranga mu ikuŋaaniro n'Abayudaaya n'ababbaire batya Katonda era no mu katale buli lunaku n'abo abaamusisinkananga.
\p
\v 18 Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo na Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bakoba nti Ataka kutumula ki abujabujana ono? Abandi ne bakoba nti Afaanana ng'abuulira balubaale abayaaka: kubanga yabbaire ng'abuulira Yesu n'okuzuukira.
\p
\v 19 Ne bamutwala ne bamuleeta ku Aleyopaago nga bakoba nti Twasobola okutegeera okuyigiriza kuno okuyaka kw'otumula nga bwe kuli?
\v 22 Pawulo n'ayemerera wakati wa Aleyopaago n'akoba nti Abasaiza Abaasene, mbaboine mu byonabyona nga mutya inu balubaale.
\v 23 Kubanga bwe mbaire mbita ne ningirira bye musinza, era ne nsanga ekyoto ekiwandiikiibweku nti KYA KATONDA ATATEGEERWA. Kale kye musinza nga temukitegeera nze kye mbabuulira.
\p
\v 24 Katonda eyakolere ensi n'ebirimu byonabyona, oyo kubanga niiye Mukama w'eigulu n'ensi tabba mu masabo agakolebwa n'emikono,
\v 25 so taweerezebwa mikono gya bantu, ng'eyeetaaga ekintu, kubanga oyo niiye abawa bonabona obulamu n'okwikirirya omwoka ne byonabyona;
\v 27 basagirenga Katonda koizi bawamante okumubona, waire nga tali wala wa buli mumu ku ife:
\v 28 kubanga mu oyo tubba balamu, tutambula, tubbaawo; era ng'abandi ab'ewanyu abayiiya bwe bakoba nti Kubanga era tuli izaire lye.
\p
\v 29 Kale bwe tuli eizaire lya Katonda, tekitugwanira kulowoozanga nti Katonda afaanana zaabu oba feeza oba ibbaale, ebyolebwa n'obukabakaba n'amagezi g'abantu.
\v 1 Awo oluvanyuma lw'ebyo n'ava mu Asene n'atuuka e Kolinso.
\v 2 N'abona omuntu Omuyudaaya eriina lye Akula, eyazaaliibwe mu Ponto, yabbaire yakaaiza ave mu Italiya, no mukali we Pulisikira, kubanga Kulwawudiyo yabbaire alagiire Abayudaaya bonabona okuva mu Rooma: n'aiza gye baali;
\v 3 era kubanga babbaire n'omulimu gumu n'abbanga nabo ne bakolanga omulimu; kubanga omulimu gwabwe babbaire bakozi b'eweema.
\v 4 N'awakaniranga mu ikuŋaaniro buli sabbiiti, n'asendasendanga Abayudaaya n'Abayonaani.
\p
\v 5 Naye Siira no Timoseewo bwe baaviire e Makedoni, Pawulo n'awalirizibwa ekigambo, ng'ategeeza Abayudaaya nga Yesu niiye Kristo.
\v 6 Bwe baamutangiire ne bamuvuma, n’akunkumula engoye gye n'abakoba nti Omusaayi gwanyu gubbe ku mitwe gyanyu: nze ndi mulongoofu: okutandiika atyanu nayaba eri ab'amawanga.
\v 7 N'avaayo, n'ayingira mu nnyumba y'omuntu eriina lye Tito Yusito, atya Katonda, enyumba ye eriraine eikuŋaniro.
\v 8 Era Kulisupo, omukulu w'eikuŋaaniro, n'aikirirya Mukama waisu n'enyumba ye yonayona; n'Abakolinso bangi bwe baawuliire ne baikirirya ne babatizibwa.
\p
\v 9 Mukama waisu n'akoba Pawulo obwire mu kwolesewa nti Totya naye tumulanga, tosirikanga,
\v 10 kubanga nze ndi wamu naiwe; so wabula muntu eyakulumbanga okukukola obubbiibi: kubanga ndina abantu bangi mu kibuga muno.
\v 11 N'amalayo mwaka n'emyezi mukaaga ng'ayegeresyanga ekigambo kya Katonda mu ibo.
\p
\v 12 Naye Galiyo bwe yabbaire nga iye weisaza ly'e Akaya, Abayudaaya ne balumba Pawulo n’omwoyo gumu ne bamuleeta awasalirwa emisango,
\v 13 nga bakoba nti Ono asendasenda abantu okusinza Katonda ng'amateeka bwe gatalagira.
\v 23 Bwe yamalireyo ebiseera ti bingi n'avaayo, n'abitira mu nsi y'e Galatiya n’e Fulugiya, ng'ava kumu, ng'agumya abayigirizwa bonabona.
\p
\v 24 Awo omuntu Omuyudaaya eriina lye Apolo eyazaaliirwe mu Alegezandereya, omuntu eyayigiriziibwe, oyo n'atuuka mu Efeso, eyabbaire omugezi mu byawandiikibwa.
\v 25 Oyo yabbaire ng'abuuliirwe engira ya Mukama waisu, ng'ayaka mu mwoyo n'atumula n'ayegeresya inu ebigambo bya Yesu, ng'amaite okubatiza kwa Yokaana kwonka:
\v 26 oyo n'atandiika okutumula n'obugumu mu ikuŋŋaaniro. Naye Pulisikira ne Akula bwe baawuliire ne bamutwala gye bali, ne batumula okumutegeerezia dala engira ya Katonda.
\p
\v 27 Bwe yatakire okuwunguka okutuuka Akaya, ab'oluganda ne bamugumya ne bawandiikira abayigirizwa okumusembezia: bwe yatuukiire n'abayambanga inu abaikirirya olw'ekisa:
\v 28 kubanga yasinganga Abayudaaya amaani amangi mu maiso g'abantu, ng'ategeezianga mu byawandiikiibwe nga Yesu niiye Kristo.
\v 12 n'abalwaire ne baleeterwanga ebiremba n'engoye egy'oku mubiri gwe, endwaire ne zibavangaku, dayimooni n'abavangaku.
\p
\v 13 Naye era abantu Abayudaaya ababulaku waabwe, ababbingire dayimooni, ne beetulinkirirya okutumula eriina lya Mukama waisu Yesu ku abo abalina dayimooni, nga bakoba nti Mbalayirya Yesu Pawulo gw'abuulira.
\v 15 Dayimooni n'airamu n'abakoba nti Yesu mutegeera no Pawulo mumaite; naye imwe niimwe baani?
\v 16 Omuntu eyabbaire ku dayimooni n'ababuukira n'abasinga bonabona n'abayinza, n'okwiruka ne bairuka okuva mu nyumba edi nga bali bwereere nga balina ebiwundu.
\v 17 Ekyo ne kitegeerwa bonabona Abayudaaya n'Abayonaani abaatyamanga mu Efeso; Entiisia n'ebakwata bonabona, eriina lya Mukama waisu Yesu ne ligulumizibwa.
\p
\v 18 Era bangi ku ibo abaikirirya ne baiza, ne batyama ne bategeeza ebikolwa byabwe.
\v 19 Era bangi ku ibo abaakolanga eby'obufumu ne bakuŋaanya ebitabo byabwe, ne babyokyerya mu maiso gaabwe bonabona: ne babala omuwendo gwabyo ne babona ebitundu bya feeza emitwalo itaan.
\p
\v 20 Kityo ekigambo kya Mukama waisu ne kyeyongeranga mu maani ne kiwangula.
\p
\v 21 Ebyo bwe byaweire, Pawulo n'alowooza mu mwoyo okubitira mu Makedoni ne Akaya, n'okwaba e Yerusaalemi, ng'akoba nti Bwe ndimala okubba eyo, era kingwaniire okubona ne Rooma.
\v 22 N'atuma e Makedoni babiri ku abo abaamuweerezanga, Timoseewo ne Erasuto, iye mwene n'alwayo ebiseera ti bingi mu Asiya.
\p
\v 23 Mu kiseera ekyo ne wabaawo akacwanu ti katono olw'Engira.
\v 25 n'akuŋaanya abo n'abaakolanga emirimu egyo, n'akoba nti Abasaiza, mumaite nti omulimu ogwo obugaiga bwaisu mwe buva;
\v 26 mubona era muwulira nga ti mu Efeso mwonka naye nga mu Asiya yonayona Pawulo oyo asendenderesendere era akyusirye ekibiina kinene, ng'akoba nti Abakoleibwe n'emikono ti bakatonda.
\v 27 Naye ti niife fenka tuboine akabbiibi omulimu gwaisu okunyoomebwanga, era naye n'eisabo lya Atemi katonda omukulu omukali okulowoozebwanga nga ti kintu, n'oyo n'okutoolebwa n'atoolebwa mu kitiibwa kye, asinzibwa Asiya yonayona n'ensi gy'onagyona.
\p
\v 28 Bwe baawuliire ne baizula obusungu ne batumulira waigulu nga bakoba nti Atemi w'Abaefeso mukulu.
\v 29 Ekibuga kyonakyona ne kizula okwetabula kuno; ne bafubutuka n'omwoyo gumu okutuuka mu teyatero, bwe baamalire okukwata Gayo ne Alisutaluuko, ab'e Makedoni, abaatambulanga ne Pawulo.
\v 30 Pawulo bwe yatakire okuyingira mu bantu, abayigirizwa ne batamwikirirya.
\v 31 Era abakulu abamu aba Asiya, ababbaire mikwanu gye, ne bamulingirira nga bamwegayirira aleke okwewaayo mu teyatero.
\p
\v 32 Abamu ne batumulira waigulu bundi, n'abandi bundi, kubanga ekibiina kyabbaire kyetabwire, so n'abandi bangi ne batategeera nsonga ebakuŋaanyizirye.
\v 33 Ne batoola Alegezanda mu kibiina, Abayudaaya nga bamusindiikirirya. Alegezanda n'abawenya n'omukono n'ataka okwenyonyola eri abantu.
\v 34 Naye bwe baamutegeire nga Muyudaaya, bonabona ne batumulira waigulu n'eidoboozi limu okumala ng'essaawa ibiri nti Atemi w'Abaefeso mukulu.
\p
\v 35 Omuwandiiki bwe yasirikirye ekibiina, n'akoba nti Abasaiza Abaefeso, muntu ki atategeera ng'ekibuga ky'Abaefeso niikyo kikuuma eisabo lya Atemi omukulu n'ekifaananyi ekyava eri Zewu.
\v 36 Kale kubanga ebyo tebyegaanika, kibagwaniire imwe okwikaikana n'obutakola kintu mu kwanguyirirya.
\v 37 Kubanga muleetere abantu bano abatanyagire by'omu isabo so era tebavoire katonda waisu omukali.
\v 38 Kale oba nga Demeteriyo n'abaweesi abali naye balina ekigambo ku muntu, enkiiko giriwo n'abaamasaza baliwo: baloopagane.
\v 39 Naye oba nga musagira bindi, byasalirwa mu ikuŋaaniro eribbaawo buliijo.
\v 2 Bwe yabitire mu njuyi gidi n'abategeeza ebigambo bingi, n'atuuka e Buyonaani.
\v 3 Bwe yamalire emyezi eisatu, era Abayudaaya bwe baamusaliire olukwe, bwe yabbaire ng'ayaba okubita mu nyanza okwirayo mu Makedoni.
\v 4 Ne baaba naye okutuuka mu Asiya Sopateri Omuberoya mutaane wa Puulo; n'Abasesaloniika Alisutaluuko no Sekundo; no Gayo Omuderube no Timoseewo; n'AbasiyaTukiko no Tulofiimo.
\v 5 Bano ne batangira ne batulindirira mu Tulowa.
\v 6 Ife ne tuva mu Firipi ne tuwanika amatanga oluvanyuma lw'enaku egy'emigaati egitazimbulukuswa, ne tubatuukaku mu Tulowa mu naku itaanu; gye twamalire enaku omusanvu.
\p
\v 7 Awo ku lunaku olw'oluberyeberye mu sabbiiti, bwe twakuŋaanire okumenya emigaati, Pawulo n'aloogya nabo, ng'ataka okusitula amakeeri, n'alwawo mu kutumula okutuusia eitumbi.
\v 8 Ne wabbaawo etabaaza nyingi mu kisenge ekya waigulu, mwe twakuŋaaniire.
\v 9 Omulenzi eriina lye Yutuko n'atyama mu dirisa, n'akwatibwa endoolo nyingi; awo Pawulo bwe yalwirewo ng'akaali aloogya, ng'akwatiibwe endoolo nyingi n'ava mu nyumba ey'okusatu, n'agwa, n'alondebwa ng'afiire.
\v 12 Ne baleeta omulenzi nga mulamu, ne basanyuka ti katono.
\p
\v 13 Naye ife ne tutangira okutuuka ku kyombo ne twaba okutuuka Aso, nga tutaka eyo okusiika Pawulo: kubanga yabbaire alagiire atyo, ng'ataka iye mwene okubita ku itale.
\v 14 Bwe yatusangire mu Aso ne tumusika, ne twiza e Mituleene.
\v 15 Ne tuwanika amatanga okuvaayo ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka mu maiso ga Kiyo; ku Iw'okusatu ne tugoba ku Samo; ku lw'okuna ne tutuuka mu Mireeto.
\v 16 Kubanga Pawulo yasiima okubitira mu Efeso mu kyombo, aleke okulwa mu Asiya; kubanga yabbaire ayanguwa, oba nga kiyinzika okubba mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekoote.
\p
\v 17 Bwe yabbaire mu Mireeto n'atuma, mu Efeso n'ayeta abakaire b'ekanisa.
\p
\v 18 Bwe baatuukire gy'ali n'abakoba nti Imwe mumaite okuva ku lunaku olw'oluberyeberye bwe naninire mu Asiya, bwe n'abbanga naimwe mu biseera byonabyona,
\v 19 nga mpeerezia Mukama waisu n'obuwombeefu bwonabwona n'amaliga n'okukemebwa kwe naboine mu nkwe gy'Abayudaaya:
\v 20 bwe seekangire kubabuulira kigambo kyonakyona ekisaana, n'okubeegeresyanga mu maiso g'abantu ne mu buli nyumba,
\v 21 nga ntegeeza Abayudaaya era n'Abayonaani okwenenya eri Katoada n'okwikirirya Mukama waisu Yesu Kristo.
\p
\v 22 Atyanu, bona, bwe nsibiibwe mu mwoyo, njaba Yerusaalemi nga timaite bye ndibona eyo,
\v 23 wabula nga Omwoyo Omutukuvu antegeeza mu buli kibuga; ng'ankoba nti okusibibwa n'okubonyaabonyezebwa binindiriire.
\v 1 Awo olwatuukire bwe twamalire okwawukana nabo ne tuvaayo, ne tukwata engira engolokofu okutuuka e Koosi, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Rodo, ne tuvaayo ne tutuuka e Patala.
\v 2 Bwe twasangire ekyombo nga kiwunguka okwaba e Foyiniiki, ne tusaabala ne twaba.
\v 3 Bwe twalengeire Kupulo, ne tukireka ku mukono omugooda ne twaba e Busuuli, ne tugoba e Tuulo: kubanga eyo ekyombo gye kyatakire okusiikululira ebintu.
\p
\v 4 Bwe twaboineyo abayigirizwa ne tumalayo enaku musanvu. Abo ne bakoba Pawulo mu Mwoyo aleke okuniina mu Yerusaalemi.
\v 5 Awo bwe twamalireyo enaku egyo ne tuvaayo ne twaba; bonabona ne batuwerekeraku n'abakali n'abaana abatobato okutuuka ewanza w'ekibuga: ne tufukamira ku lubalama lw'enyanza, ne tusaba;
\v 6 ne tusiibulagana, ne tusaabala mu kyombo, naye ibo ne bairayo eika.
\p
\v 7 Feena bwe twamalire olugendo lwaisu okuva e Tuulo ne tutuuka e Potolemaayi; ne tusugieya ab'oluganda ne tumala nabo olunaku lumu.
\v 8 Ku lunaku olw'okubiri ne tuvaayo ne tutuuka e Kayisaliya: ne tuyingira mu nyumba ya Firipo, omubuulizi w'enjiri, omumu ku badi omusanvu, ne tutyama naye.
\v 9 Naye oyo yabbaire n'abawala bana abatamaite musaiza abaalagulanga.
\v 11 N'aiza gye tuli n'akwata olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu ge n'emikono gye n'akoba nti atyo bw'atula Omwoyo Omutukuvu nti Abayudaaya bwe balisiba batyo mu Yerusaalemi omuntu mwene lukoba luno, balimuwaayo mu mikono gy'ab'amawanga.
\p
\v 12 Bwe Twawuliire ebyo, ife era n'abantu ab'omu kifo kidi ne tumwegayirira aleke okuniina mu Yerusaalemi.
\p
\v 13 Awo Pawulo Kaisi nairamu nti Mukola ki okukunga n'okumenya omwoyo gwange? Kubanga nze tinetegekere kusibibwa busibibwi era naye n'okufiira mu Yerusaalemi olw'erinnya lya Mukama waisu Yesu.
\p
\v 14 Bwe yalemere okuwulira ne tulekayo nga tukoba nti Mukama waisu ky’ataka kikolebwe.
\p
\v 15 Awo oluvanyuma lw'enaku egyo ne tusitula emigugu ne tuniina e Yerusaalemi.
\v 16 Era n'abayigirizwa abaviire e Kayisaliya ne baaba naife, ne baleeta omuntu Munasoni ow'e Kupulo omuyigirizwa ow'eira, ayaba okutusuzia.
\p
\v 17 Bwe twatuukiire mu Yerusaalemi ab'oluganda ne batusembezia n'eisanyu.
\v 18 Ku lunaku olw'okubiri Pawulo n'ayingira wamu naife omwa Yakobo; era n'abakaire bonabona baaliwo.
\v 19 Bwe yamalire okubalamusa n'ababuulira kimu Ku kimu Katonda bye yakolanga mu mawanga mu kuweereza kwe.
\v 20 Boona bwe baawuliire ne bagulumiza Katonda; ne bamukoba nti Obona, ow'oluganda, enkumi bwe giri mu Bayudaaya abantu abaikirirya; bonabona babbaire neiyali olw'amateeka:
\v 21 abo babuuliirwe ebigambo byo nti iwe oyegeresya Abayudaaya bonabona abali mu mawanga okuleka Musa, ng'okoba baleke okukomolanga abaana abatobato waire okutambuliranga mu mpisa.
\v 22 Kale kiki kino? Tebaaleke kuwulira ng'oizire.
\v 23 Kale kola nga bwe tukukoba: tulina Abasaiza bana abeerayirira ekirayiro;
\v 24 obatwale abo otukuzibwe wamu nabo, obawe efeeza beemwe emitwe: bonabona bategeera ng'ebigambo bye babuuliirwe ku iwe bibulamu; naye nga weena mwene weegendereza ng'okwata amateeka.
\v 25 Naye ab'amawanga abaikirirya twawandiike ne tusala omusango nti beekuumenga mu bintu ebiweebwa eri ebifaananyi n'omusaayi n'ebitugiibwe n'obwenzi.
\v 26 Awo Pawulo kaisi n'atwala abantu, ku lunaku olw'okubiri n'atukuzibwa wamu nabo n'ayingira mu yeekaalu okulaga enaku ez'okutukuza bwe gituukire, okutuusia ekiweebwayo lwe kyaweebwayo olwa buli mumu ku ibo.
\p
\v 27 Awo enaku omusanvu bwe gyabbaire giri kumpi okutuuka, Abayudaaya abaaviire mu Asiya ne bamubona mu yeekaalu ne basasamalya ekibiina kyonakyona ne bamukwata,
\v 28 nga batumulira waigulu nti Abasaiza Abaisiraeri, mutuyambe: ono niiye muntu odi ayegeresya bonabona buli kifo Obubbiibi ku bantu no ku mateeka ne ku kifo kino: era ate aleetere Abayonaani mu yeekaalu, ayonoonere ekifo ekitukuvu.
\v 29 Kubanga babbaire bamalire okubona Tulofiimo Omuwefeso ng'ali naye mu kibuga: ne bateerera nti Pawulo amuleetere mu yeekaalu.
\v 30 Ekibuga kyonakyona ne kyegugumula, abantu ne bakuŋaana mbiro; ne bakwata Pawulo ne bamuwalula okumufulumya ewanza we yeekaalu: amangu ago enjigi ne giigalwawo.
\p
\v 31 Bwe babbaire basala amagezi okumwita, ebigambo ne bituuka ku mwami omukulu w'ekitongole ekya basirikale nti Yerusaalemi kyonakyona kyefuukwire.
\v 36 kubanga ekibiina ky'abantu babbaire basengererya nga batumurira waigulu nti Mwite.
\p
\v 37 Pawulo bwe yabbaire ng'ali kumpi okuyingizibwa mu kigo n'akoba omwami omukulu nti Kisa mbeeku kye nkukobera? N'akoba nti Omaite Oluyonaani?
\v 38 Kale ti niiwe Mumisiri odi mu naku egyabitire eyajeemeserye abantu enkumi eina ku Batemu badi, n'abatwala mu idungu?
\p
\v 39 Naye Pawulo n’akoba nti Nze ndi muntu Muyudaaya, ow’e Taluso eky’omu Kirukiya, ti wo mu kibuga ekitali kimanyifu: era nkwegayirire, ndeka ntumule n'abantu.
\p
\v 40 Bwe yamwikiriirye, Pawulo n'ayemera ku madaala n'awenya n'omukono abantu: bwe baamalire okusiriikirira dala, n'atumula mu lulimi Olwebbulaniya ng'akoba nti
\v 2 Bwe baawuliire ng'abakobere mu lulimi Olwebbulaniya ne beeyongera okusirika: n'akoba nti
\v 3 Nze ndi muntu Muyudaaya, eyazaaliibwe mu Taluso eky'omu Kirukiya, naye eyalereirwe mu kibuga muno ku bigere bya Gamalyeri, eyayegereseibwe einu mu mpisa gy'amateeka ga bazeiza, ne mbanga n'eiyali lya Katonda nga imwe mwenamwena bwe muli atyanu:
\v 4 ne njiganyanga ab'Engira eno n'okubaita, nga mbasibanga era nga mbateekanga mu makomera abasaiza n'abakali;
\v 5 era no kabona asinga obukulu niiye mujulirwa wange ow'ebyo n'abakaire bonabona: era boona ne bampa ebbaluwa eri ab'oluganda, ne ntambula okwaba e Damasiko abo ababbaire eyo baleetebwe mu Yerusaalemi nga basibe babonerezebwe.
\p
\v 6 Awo olwatuukire bwe nabbaire nga ntambula nga ndikumpi okutuuka e Damasiko, nga mu ituntu, amangu ago omusana mungi ogwava mu igulu ne gwaka ne guneetooloola;
\v 7 ne ngwa wansi, ne mpulira eidoboozi nga linkoba nti Sawulo, Sawulo, onjiganyilya ki?
\p
\v 8 Nze ne ngiramu nti Niiwe ani, Mukama wange? N'ankoba nti Niinze Yesu Omunazaaleesi gw'oyigganya iwe.
\p
\v 9 Ababbaire awamu nanze ne babona omusana, naye ne batawulira idoboozi ly'oyo eyatumwire nanze.
\v 10 Ne nkoba nti Nakola ntya, Mukama wange? Mukama waisu n'ankoba nti Golokoka, oyabe e Damasiko, wabuulirirwa eyo ebigambo ebyo byonabyona by'olagiibwe okukola.
\v 11 Bwe ntasoboire kubona olw'ekitiibwa ky'omusana gudi, ne nkwatibwa ku mukono abo abaali nanze ne ntuuka mu Damasiko.
\v 13 n'aiza gye ndi n'ayemerera we ndi n'ankoba nti Ow'oluganda Sawulo, zibula. Mu kiseera ekyo ne nzibula okumulingirira.
\v 14 N'ankoba nti Katonda wa bazeiza baisu yakulondere ida otegeere ebyo by'ataka, era obone Omutuukirivu odi, era owulire eidoboozi eriva mu munwa gwe.
\v 15 Kubanga wabbanga mujulizi we eri abantu bonabona ow'ebigambo by'oboine ne by'owuliire.
\v 16 Kale atyanu ekikulwisia ki? Golokoka, obatizibwe onabye ebibbiibi byo, nga weegayirira eriina lye.
\p
\v 17 Awo olwatuukire bwe nairire e Yerusaalemi, bwe nabbaire nga nsaba mu yeekaalu, omwoyo gwange ne guwaanyisibwa
\v 18 ne mubona ng'ankoba nti Yanguwa ove mangu mu Yerusaalemi; kubanga tebaliikirirya kutegeezia kwo ku nze.
\v 19 Nzeena ne nkoba nti Mukama wange, ibo beene bamaite nti nze nabateekanga mu makomera era nga nabakubbiranga mu buli ikuŋaaniro abakwikiriirye:
\v 20 era n'omusaayi ogw'omujulizi wo Suteefano bwe gwayiribwe, nanze mwene nabbaire nga nyemereire awo, nga nsiimire, nga nkuuma ebivaalo byabwe abaamwitire.
\v 21 N'ankoba nti Yaba: kubanga nze njaba kukutuma wala mu b'amawanga.
\p
\v 22 Ne bamuwulisisya okutuusia ku kigambo kino, ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga bakoba nti Atoolebwe mu nsi afaanana atyo: kubanga ti kisa abbe mulamu.
\p
\v 23 Bwe babbaire nga batumulira waigulu era nga bakasuka engoye gyabwe, era nga bafuumuulira waigulu enfuufu,
\v 24 omwami omukulu n'alagira okumuleeta mu kigo, ng'akoba okumukemererya n'emiigo kaisi ategeere ensonga gye bamulangire okutumulira waigulu ku iye batyo.
\p
\v 25 Bwe babbaire nga bamalire okumusibisya enkoba, Pawulo n'akoba omwami eyabbaire amwemereire okumpi nti Ti kyo muzizo imwe okukubba omuntu Omurooma nga akaali okusalirwa musango?
\p
\v 26 Omwami bwe yawulire n'ayaba eri omwami omukulu n'amukobera ng'akoba nti Oyaba kukola ki? Kubanga omuntu ono Murooma.
\p
\v 27 Omwami omukulu n'ayaba gy'ali, n'amukoba nti Nkobera, iwe oli Murooma? N'akoba nti Yee.
\p
\v 28 Omwami omukulu n'airamu nti Nze nafunire Oburooma buno n'ebintu bingi. Pawulo n'akoba nti Naye nze mwe nazaaliirwe.
\v 29 Awo amangu ago kaisi ne bamuleka ababbaire baaba okumukemererya: era n'omwami omukulu n'atya bwe yamalire oku tegeera nga Murooma, era kubanga amusibire.
\v 1 Pawulo ne yeekalirizia amaiso ab'olukiiko n'akoba nti Abasaiza ab'oluganda, nze neegendereza n'omwoyo gwonagwona omusa mu maiso ga Katonda okutuusya ku lunaku luno.
\v 2 Pawulo kaisi amukoba nti Katonda alikukubba, iwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkuba ng'amateeka bwe gatalagira?
\v 9 Ne wabbaawo okukaayana kungi: abawandiiki abamu ab'omu kitundu eky'Abafalisaayo ne bemerera ne bawakana nga bakoba nti Tetubona kibbiibi ku muntu ono: era kyabbba kitya oba ng'omuzimu gwe gutumwire naye oba malayika?
\v 10 Bwe wabbairewo okutongana okungi, omwami omukulu ng'atya Pawulo nga baaba okumukutulamu, n'alagira ekitongole okwiika wansi okumutoola wakati mu ibo olw'amaanyi, okumuleeta mu kigo.
\v 11 Awo mu bwire obwokubiri, Mukama waisu n'ayemerera w'adi n'akoba nti Guma omwoyo: kuba nga bwe wategeezerye ebigambo byange mu Yerusaalemi, era kikugwaniire okutegeeza otyo no mu Rooma.
\v 20 N'akoba nti Abayudaaya bateeserye okukwegayirira okuleeta Pawulo amakeeri wansi mu lukiiko ng'ayaba okutumula okumubuulya amazima g'ebigambo bye.
\v 21 Kale iwe tobaikirirya: kubanga abantu baabwe bamuteegere okusinga ana abeekolimiire obutalya waire okunywa wabula nga bamalire okumwita; boona atyanu beeteekereteekere nga balindirira iwe okubasuubizia.
\v 2 Bwe yayeteibwe, Terutuulo n'atandika okumuloopa ng'akoba nti Kubanga twabbaire tufunire emirembe mingi eri iwe, n'ebigambo ebibbiibi nga birongoosebwa mu igwanga lino olw'okulabirira kwo,
\v 3 tubikirirya enaku gyonagyona no mu bifo byonabyona, Ferikisi omusa einu, n'okwebalya kwonakwona.
\v 12 so bakaali kusanga mu yeekaalu nga mpakana n'omuntu oba nga njeemesia ekibiina waire mu ukuŋaaniro waire mu kibuga.
\v 13 So tebasobola kukakasia w'oli ebigambo bye banvunaana atyanu.
\v 14 Naye kino nkyatula w'oli nti Engira nga bweeri gye babita engikirirya, ntyo bwe mpeereza Katonda wa bazeiza baisu, nga ngikirirya byonabyona ebyawandiikiibwe mu mateeka no mu bya banabbi;
\v 15 nga ndina eisuubi eri Katonda, era naabo beene lye basuubira, nti walibbaawo okuzuukira kw'abatuukirivu era n'abatali batuukirivu.
\v 16 Era nyiikira mu kigambo ekyo okubbanga n'omwoyo ogubula musango eri Katonda n'eri abantu enaku gyonagyona.
\v 17 Awo emyaka mingi bwe gyabitirewo ne ngiza okuleeta eby'abaavu eri eigwanga lyaisu n'ebiweebwayo:
\v 18 bwe nabbaire mu ebyo Abayudaaya abamu abaviire mu Asiya ne bansanga mu yeekaalu nga ntukuzibwa, nga mbula kibiina waire oluyoogaano;
\v 19 abagwaniire okubba w'oli n'okunumirirya oba nga balina ekigambo ku nze.
\v 20 Oba bano batumule beene ekibbiibi kye baboine bwe nayemereire mu lukiiko
\v 21 wabula olw'eidoboozi lino erimu lye natumuliire waigulu, nga nyemereire mu ibo, nti Olw'okuzuukira kw'abafu nsalirwa omusango gye muli ku lunaku luno.
\v 1 Awo Fesuto bwe yatuukiire mu isaza, bwe waabitirewo enaku isatu, n'ava mu Kayisaliya n'aniina e Yerusaalemi.
\v 2 Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamukobera Pawulo bye yaloopeibwe; ne bamwegayirira,
\v 3 nga bataka abakole obusa ku iye, amutumire okwiza e Yerusaalemi; bamuteegere mu ngira okumwita.
\v 4 Naye Fesuto n'airamu nti Pawulo akuumirwa mu Kayisaliya, naye iye mweene yabbaire ng'ali kumpi okuvaayo okwaba.
\v 5 N'akoba nti Kale abakulu mu imwe baabe nanze, bamuvunaane oyo oba ng'aliku ekibbiibi kyonakyona.
\p
\v 6 Bwe yamalireyo ewaabwe enaku egitaasingawo munaana oba ikumi, n'aserengeta e Kayisaliya; ku lunaku olw'okubiri n'atyama ku ntebe esalirwako emisango, n'alagira okuleeta Pawulo.
\v 7 Bwe yatuukire Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne bemerera okumwetooloola, nga baleeta ebimuvunaanwa bingi era ebizibu, bye batasobola kulumirirya;
\v 8 Pawulo n'awoza nti Tinyonoonanga mu mateeka g'Abayudaaya waire ku yeekaalu waire eri Kayisaali.
\p
\v 9 Naye Fesuto, bwe yatakire Abayudaaya okumusiima, n'aramu eri Pawulo n'akoba nti Otaka okwaba e Yerusaalemi osalirwe eyo omusango gw'ebigambo bino mu maiso gange?
\p
\v 10 Naye Pawulo n'akoba nti Nyemereire awali entebe esalirwaku emisango eya Kayisaali, we Å‹waniire okusalirwa omusango: tinyonoonanga eri Abayudaaya, era nga weena bw'otegeerera dala okusa.
\v 11 Kale oba nga nayonoonere era nga nakolere ekigambo ekisaaniire okunzisa, tingaana kufa: naye oba nga bano ebigambo bye banvunaana nga tebiriiwo na kimu, Wabula muntu asobola okumpaayo mu ibo. Njulira Kayisaali.
\p
\v 12 Fesuto bwe yamalire okuteesia nabo mu lukiiko kaisi nairamu nti Ojuliire Kayisaali: olyaba eri Kayisaali.
\p
\v 13 Awo bwe waabitirewo enaku, Agulipa kabaka no Berenike ne batuuka e Kayisaliya, ne basugirya Fesuto.
\v 15 bwe nabbaire mu Yerusaalemi bakabona abakulu n'abakaire b'Abayudaaya ne bambuulira ebigambo bye, nga bataka okumusalira omusango.
\v 16 Ne mbairamu nti Ti mpisa ya Barooma okuwaayo omuntu abamuvunaana nga bakaali kubbaawo mu maiso ge, era nga bakaali kuweebwa ibbanga lyo kuwozya bye bamuvunaana.
\v 17 Awo bwe baakuŋaaniire wano, tinalwiire n'akatono, naye ku lunaku olw'okubiri ne ntuula ku ntebe esalirwaku emisango ne ndagira okuleeta omusaiza oyo.
\v 18 Bwe bayemereire abamuvunaana ne bataleeta nsonga ye bigambo bibbiibi nga bwe nabbaire ndowooza;
\v 19 naye babbaire ku iye ebibuuzibwa mu idiini lyaabwe n'eby'omuntu Yesu eyafiire, Pawulo gwe yatumwireku okubba omulamu.
\v 20 Nzeena bwe nabulirwe bwe naakebeire ebyo, ne mubuulya ng'ataka okwaba e Yerusaalemi okusalirwayo omusango ogwa bino.
\v 21 Naye Pawulo bwe yajuliirwe okukuumibwa okusalirwa omusango eri Augusito, ne ndagira okumukuuma okutuusia lwe ndimuweererya eri Kayisaali.
\v 22 Agulipa n'akoba Fesuto nti Nanditakire nzeena okuwulira omuntu oyo. N'akoba nti Eizo olimuwulira.
\p
\v 23 Awo ku lunaku olw'okubiri Agulipa ne Berenike bwe baizire n'ekitiibwa ekinene era bwe bayingiire mu kifo awawulirirwa emisango wamu n'abaami abakulu n'abakungu ab'omu kibuga, Fesuto n'alagira Pawulo n'aleetebwa.
\v 24 Fesuto n'akoba nti Agulipa kabaka naimwe mwenamwena abali wano naife, mumubona ono, ekibiina kyonakyona eky'Abayudaaya gwe gwebegayiririra mu Yerusaalemi ne wano nga batumulira waigulu nti tekimugwaniire kubba mulamu ate.
\v 25 Naye nze ne ntegeera nga takolere kigambo ekisaaniire okumwitisya: naye iye bwe yajuliire Augusito ne nsaba okumuweerelyayo.
\v 26 Mbula kigambo ku iye eky'amazima okuwandiikira mukama wange. Kyenviire muleeta we muli, era okusinga w'oli, iwe kabaka Agulipa, bwe twamala okumukemererya kaisi mbe n'ekigambo eky'okuwandiika.
\v 27 Kubanga mbona nga kyo busiru okuweereza omusibe n'obutawulira nsonga egiri ku iye.
\v 8 Kiki ekibalowoozesia nti tekisoboka Katonda okuzuukizia abafu?
\p
\v 9 Mazima nze nalowoozanga nzenka nga kiŋwaniire okukolanga obubbiibi ebigambo bingi ku linnya lya Yesu Omunazaaleesi.
\v 10 N'okukola ne nkolanga ntyo e Yerusaalemi nze ne nsiibanga mu makomera abatukuvu baamu bangi, bwe naweweibwe obuyinza eri bakabona abakulu, era bwe baitibwe, ne ngikirirya okubaita.
\v 11 Era bwe nababonere zianga mirundi mingi mu makuŋaaniro gonagona ne mbawalirizianga okuvoola; ne mbasunguwaliranga Inu ne mbayiganyanga okutuuka mu bibuga eby'ewanzq.
\p
\v 12 Awo bwe nabbaire nga njaba e Damasiko nga nina obuyinza n'okulagirwa okwaviire eri bakabona abakulu,
\v 13 mu ituntu, kabaka, ne mbona mu ngira omusana ogwaviire mu igulu ogusinga okwaka kw'eisana ne gumasamasa ne guneetooloola n'ababbaire batambula nanze.
\v 14 Ne tugwa fenafena wansi ne mpulira eidoboozi nga litumula nanze mu lulimi Olwebbulaniya nti Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? Niikyo kizibu iwe okusamba ku miwunda.
\p
\v 15 Nze ne nkoba nti Niiwe ani, Mukama wange? Mukama waisu n'ankoba nti Niinze Yesu, gw'oyiganya iwe.
\v 16 Naye golokoka, oyemerere ku bigere byo: kyenvire nkubonekera, nkulonde obbenga omuweereza era omujulizi w'ebyo mw'omboneire era ow'ebyo mwe nakubonekeranga,
\v 17 nga nkuwonya mu bantu no mu b'amawanga, nze gye nkutuma okuzibula amaiso gaabwe,
\v 18 bakyuke okuva mu ndikirirya baire eri omusana n'okuvamu buyinza bwa Setaani baire eri Katonda, kais baweebwe okutoolebwaku ebibbiibi n'obusika mu abo abatukuzibwa okw'okwikirirya nze.
\v 20 naye nasookere okubuulira ab'omu Damasiko no mu Yerusaalemi, era n'ensi yonayona ey'e Buyudaaya n'ab'amawanga okwenenya n'okukyukira Katonda, nga bakolonga ebikolwa ebisaaniire okwenenya.
\p
\v 21 Abayudaaya kyebaviire bankwata mu yeekaalu ne bageziaku okungita.
\v 22 Kale bwe nafunire okubbeerwa okwava eri Katonda, Okutuusia ku lunaku luno nyemereire nga ntegeeza abatobato n'abakulu, nga tintumula kigambo wabula banabbi ne Musa bye batumwire nga byaba okwiza;
\v 23 ne kigwanira Kristo okubonyaabonyezebwa; era iye bw’alisooka mu kuzuukira kw’abafu okubuulira omusana abantu n’ab’amawanga.
\v 28 Agulipa n'akoba Pawulo nti Otaka kunsendasenda onfuule Omukristaayo;
\v 29 Pawulo n'akoba nti Nandisabire Katonda olw'okusendasenda okutono oba okunene ti niiwe wenka era naye ne bonabona abampulira atyanu okufuuka nga nze awabula kusibibwa kuno.
\v 10 ng'abakoba nti Abasaiza, mbona nti olugendo luno lulibbaamu okwonoonekerwa n'okufiirwa kungi ti kwe bintu byonka n'ekyombo, era naye n'obulamu bwaisu.
\v 11 Naye omwami n'aikirirya omubbinga no mwene we kyombo okusinga Pawulo by'atumwire.
\v 12 Kubanga omwalo tegwabbaire musa okwewogomamu omuyaga, abamu bangi ne bateesia okuvaayo, koizi kaisi batuuke e Foyiniiki okwewogoma omuyaga; niigwo mwalo ogw'e Kuleete ogulingirira wakati w'obukiika n'ebuvaisana, no wakati w'obukiika obundi n'ebuvaisana.
\v 13 Empewo egy'omuigundu bwe gyakuntire empola, ne balowooza nti bafunire kye babbaire bataka, ne basimbula esiika ne babita kumpi inu ne Kuleete.
\v 14 Naye oluvanyuma lw'ebiseera ti bingi omuyaga ogulimu kibuyaga ogwaviireyo ogwetebwa Ewulakulo ne gukunta:
\v 15 ekyombo bwe kyakwatiibwe ne kitasobola kwolekera muyaga, ne tukireka ne tutwalibwa omuyaga.
\v 16 Ne tweyuna mu mbali g'akazinga aketebwa Kawuda, ne tutegana okukwata eryato:
\v 17 bwe baamalire okuliniinisia, ne kwata emiguwa egy'okunywezia ekyombo ne bakisiba wansi. Bwe batiire okusuulibwa mu Suluti, ne baikya ebyabbaire waigulu, ne batwalibwa omuyaga.
\v 18 Bwe twateganire einu n'omuyaga, ku lunaku olw'okubiri ne basiikulula ebintu,
\v 19 era ku lw'okusatu ne basuula n'emikono gyabwe ebitwala ekyombo.
\v 20 Era eisana waire emunyenye mu naku nyingi nga tebyaka, era n'omuyaga ti mutono ogwatukwaite, oluvannyuma eisuubi lyonna ery'okulokoka ne rituwaamu.
\p
\v 21 Enjala bwe yabbaire enyingi, awo Pawulo kaisi n'ayemerera wakati waabwe n'akoba nti Kyabagwaniire, abasaiza, okumpulira obutava mu Kuleete, obutabona kwonoonekerwa kuno n'okufiirwa.
\v 22 Era atyanu mbabuulirira okuguma emyoyo; kubanga tewaabbe mu imwe eyafiirwa obulamu n'akatono wabula ekyombo.
\v 23 Kubanga we ndi wemereire obwire buno malayika wa Katonda, niinze owuwe, gwe mpeereza,
\v 24 ng'akoba nti Totya, Pawulo; kikugwaniire okwemerera awali Kayisaali; era, bona, Katonda akuwaire bonabona abaaba awamu naiwe.
\v 25 Kale mugume emyoyo, abasaiza; kubanga ngikirirya Katonda nga kiribba nga bwe yankobere.
\v 26 Naye kitugwaniire okusuulibwa ku kizinga.
\p
\v 27 Naye obwire ebw'eikumi n'eina bwe bwatuukire, nga tusuukundirwa eruuyi n'eruuyi mu Aduliya, mu itumbi abalunyanza ne bateeberezerye nti balikumpi okusemberera eitale;
\v 28 ne bagera ne babona ebifubba abiri: bwe twayabireku katono, ne bagera era, ne babona ebifubba ikumi na bitaanu.
\v 29 Bwe batiire okutyerera awali amabbaale, ne basuula amasiika ana ku kiwenda ne balindirira bukye.
\v 30 Abalunyanza bwe babbaire bataka okwiruka mu kyombo ne bamala okuteeka eryato mu nyanza ng'abaaba okusuula amasiika ku nsanda,
\v 31 Pawulo n'akoba omwami n'abasirikale nti Bwe bataabbe bano mu kyombo, imwe temwasobole kulokoka.
\v 32 Basirikale kaisi ne basala emiguwa egy'eryato ne balireka okwaba.
\p
\v 33 Awo bwe bwabbaire bulikumpi okukya, Pawulo n'abeegayirira bonabona okulya ku mere, ng'akoba nti Atyanu lunaku lwe ikumi na ina gye mwakalindiririra nga musiiba ne mutalya kantu.
\v 34 Kyenva mbeegayirira okulya ku mere: kubanga okwo kwabalokola: kubanga tewaabule luziiri ku mitwe gyanyu n'omumu.
\v 35 Bwe yamalire okutumula atyo n'akwata omugaati, ne yeebalirya Katonda mu maiso ga bonabona n'agumenyamu n'atandiika okulyaku.
\v 36 Bonabona ne baguma emyoyo, boona ne balyaku.
\v 37 Ne tuba fenafena abaali mu kyombo emyoyo bibiri mu nsanvu mu mukaaga.
\v 38 Bwe baamalire okwikuta emere, ekyombo ne bakiwewula nga basuula eŋaanu mu nyanza.
\p
\v 39 Bwe bwakyeire amakeeri, nga tebamaite gye bali: naye ne babona ekikono ekiriku omusenyu; ne bateesia, oba nga kisoboka, okuseezia omwo ekyombo.
\v 40 Ne bakutula amasiika, ne bagaleka mu nyanza, mu kiseera ekyo bwe baasumulwire emigwa egy'enkasi ebbinga, ne bawanika eitanga edi mu maiso eri empewo ne boolekera ku itale.
\v 41 Naye bwe baatuukiire mu kifo amayengo mabiri we gaasisinkana, ne baseezia ekyombo; ensanda n'eseera n'eguma n'etanyeenya, naye ekiwenda ne kizibikuka n'amaani g'amayengo.
\p
\v 42 Basirikale ne bateesia abasibe baitibwe baleke okugwera okwiruka.
\v 2 Banaigwanga ne batukola obusa obutali bwa bulijo: kubanga baakumire omusyo, ne batusembezia fenafena olw'amaiz agatoonyere n'olw'empewo.
\v 3 Naye Pawulo bwe yakuŋaanyirye omuganda gw'obuku, n'aguteeka mu musyo, embalasaasi n'evaamu olw'eibbugumu n'emweripa ku mukono.
\v 4 Banaigwanga bwe baboine ekyekulula nga kireebeetera ku mukono, ne bakoba bonka na bonka nti Mazima omuntu ono mwiti; waire ng'alokokere mu nyanza, omusango tegumuganisya kubba mulamu.
\v 5 Naye n'akunkumulira mu musyo ekyekulula n'atabbaaku kabbiibi.
\v 6 Naye badi ne balowooza nti yazimba oba yasinduka, okugwa edi nga mufu: naye bwe baalwirewo einu nga bamulingirira ne batabona kibbiibi ky'abbaireku, ne bakyuka ne bakoba nti katonda.
\v 9 Ekyo bwe kyakoleibwe, abandi boona ababbaire ku kizinga ababbaire n'endwaire ne baiza ne bawonyezebwa:
\v 10 era abo ne batuwa ekitiibwa kinene; bwe twabbaire tuvaayo ne baleeta ku lyato ebintu bye twetaaga.
\p
\v 11 Emyezi isatu bwe gyabitirewo, ne tuviirayo mu kyombo eky'e Alegezanderiya, ekyabbaire ku kizinga mu biseera eby'omuyaga, akabonero kaakyo Ab'oluganda abalongo.
\v 12 Ne tubbinga mu Sulakusa ne tumalayo enaku isatu:
\v 13 ne tuvaayo ne twetooloola ne tutuuka e Regio: bwe wabitirewo olunaku lumu, empewo egy'omugundu ne gikunta, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Putiyooli;
\v 14 gye twasangire ab'oluganda ne batweta okumala wamu nabo enaku musanvu: awo tutyo ne tutuuka e Roomo
\v 15 Ab'oluganda bwe baawuliire ebigambo byaisu ne bavaayo okutusisinkana mu Katale ka Apiyo ne mu Bisulo Ebisatu: Pawulo bwe yababoineku ne yeebalya Katonda n'aguma omwoyo.
\p
\v 16 Bwe twayingiire mu Rooma, Pawulo n'alagirwa okubba yenka wamu ne sirikale eyabbaire amukuuma.
\p
\v 17 Awo bwe wabitirewo enaku isatu, n'ayeta abakulu b'Abayudaaya: bwe baamalire okukuŋaana n'abakoba nti Nze, abasaiza ab'oluganda, waire nga tinasookere kibbiibi ku bantu waire ku mpisa gya bazeiza baisu, naye nasibiibwe ne mpeebwayo mu mikono gy'Abarooma mu Yerusaalemi:
\v 18 abo bwe baamalire okunkemererya ne bataka okunsumulula, kubanga tegwabbaire nsonga gye ndi yo kungitisya.
\v 19 Naye Abayudaaya bwe baagaine, ne mpalirizibwa okujulira Kayisaali, Ti ng'alina ekigambo okuloopa eigwanga lyaisu.
\v 21 Ibo ne bamukoba nti Ife so tetuweebwanga bbaluwa gye bigambo byo okuva mu Buyudaaya, so wabula ku b'oluganda eyabbaire aizire n'atubuulira oba n'atumula ekigambo ekibbiiibi ku iwe.
\v 23 Ne bamulaga olunaku ne baiza bangi gy'ali mu kisulo; n'abanyonyola ng'ategeeza obwakabaka bwa Katonda, era ng'abaikirizisya ebigambo bya Yesu mu mateeka ga Musa no mu bya banabbi okuva emakeeri okutuusia eigulo.
\v 24 Abamu ne baikirirya bye yatumwire, abandi ne bataikirirya.
\v 25 Bwe batatabagaine bonka na bonka, ne baaba, Pawulo bwe yamalire okutumula ekigambo kimu, nti Omwoyo Omutukuvu yakobere kusa Bazeiza banyu mu nabbi Isaaya
\v 26 ng'akoba nti Yaba eri abantu bano, otumule nti Okuwulira muliwulira, ne mutategeera; Okubona mulibona, ne muteetegeerezia: