\v 7 Kubanga banvuma okunanga iwe; Ensoni gibiikire amaiso gange. \v 8 Nfukire munaigwanga eri bagande bange, Era atali mumanyi eri abaana ba mawange. \v 9 Kubanga eiyali elyenyumba yo lindiire; N'ebivumi by'abo abakuvuma iwe bingwireku.