\v 19 Abo abalabe bange baleke okunsanyukiraku n'obubeeyi: Era abankyawa awabula nsonga baleke okutemya ekikowe. \v 20 Kubanga tebatumula mirembe: Naye bateesya ebigambo eby'obubbeyi ku abo abatereera mu nsi.