\v 7 Ensi kaisi n'ekankana n'esagaasagana, Era n'emisingi gy'ensozi ne gikankana ne gisiisikibwa, Kubanga asunguwaire. \v 8 Omwoka ne gunyooka mu nyindo gye, N'omusyo ne guva mu munwa gwe ne gulya: Ne gukoleeza amanda.