\v 6 Mu naku gyange ne nkoowoola Mukama, Ne njeta Katonda wange: N'awulira eidoboozi lyange mu yeekaalu ye, Ne bye nakungiire mu maiso ge ne bituuka mu matu ge.