\v 1 Nakugulumizanga, ai Mukama; kubanga onyimusirye, N'otobampangulya abalabe bange. \v 2 Ai Mukama Katonda wange, Nakukoowoola, weena n'omponya. \v 3 Ai Mukama, waniinisirye emeeme yange okuva mu magombe: Omponyerye okufa, ndeke okwika mu bwina.