\v 8 Onsabe nze, nzeena ndikuwa amawanga okubba obusika bwo, N'ensonda egy'ensi okubba amatwale go. \v 9 Olibimenya n'omwigo ogw'ekyoma; Olibyasya ng'entamu ey'omubbumbi.