\v 1 Mukama afuga; amawanga gatengere; Atyama wakati wa bakerubi; ensi esagaasagane. \v 2 Mukama mukulu mu Sayuuni; Era ali waigulu okusinga amawanga gonagona. \v 3 Batendereze eriina lyo eikulu era ery'entiisya. Ye mutukuvu.