\v 54 N'abaleeta ku nsalo ey'awatukuvu we, Ku lusozi luno omukono gwe omulyo lwe gwagulire. \v 55 Era n'abbingamu amawanga mu maaso gaabwe, N'agabawa okubba obusika ng'abagerera, N'atyamisya ebika bya Isiraeri mu weema gyago.