\v 16 Wabula kabaka alokoka olw'eigye okubba eringi: Omuzira tawonyezebwa maani mangi. \v 17 Embalaasi niikyo ekintu ekibulamu ku bulokozi: So teewonyenga muntu olw'amaani gaayo amangi.