|
\v 1 Musanyukire Mukama, imwe abatuukirivu: Okutendereza kusaanira abalina omwoyo ogw'amazima. \v 2 Mumwebalye Mukama n'enanga: Mwembe okumutendereza n'enanga ey'engoye eikumi. \v 3 Mumwembere olwembo oluyaka; Mukubbe enanga n'amagezi n'eidoboozi einene. |