\v 11 Awo olwatuukire eigye ery'Abakaludaaya bwe lyamalire okusaansaana okuva ku Yerusaalemi olw'okutya eigye lya Falaawo, \v 12 kale Yeremiya n’afuluma mu Yerusaalemi okwaba mu nsi ya Benyamini okuweebwa omugabo gwe eyo wakati mu bantu. \v 13 Awo bwe yabbaire mu mulyango gwa Benyamini, omukulu w'abambowa yabbaire ali eyo, eriina lye Iriya mutaane wa Seremiya mutaane wa Kananiya; n'akwata Yeremiya nabbi ng'atumula nti osenga Abakaludaaya.