lke_deu_text_reg/21/15.txt

1 line
567 B
Plaintext

\v 15 Omusaiza bw'abbanga n'a bakali babiri, omumu nga muganzi, ogondi nga mukyawe, era nga bombiri bamuzaalira abaana, omuganzi n'o mukyawe; era omwana ow'o bwisuka omuberyeberye bw'abbanga ow'o mukyawe; \v 16 awo olwatuukanga, ku lunaku lw'a lisikisya abaana be ebyo by'alina, tafuulanga mwana wo muganzi okubba omuberyeberye, omwana w'o mukyawe, niiye muberyeberye, ng'a kaali mulamu: \v 17 naye yaikiriryanga omuberyeberye, omwana w'o mukyawe, ng'a muwa emigabo ibiri ku ebyo byonabyona by'alina: kubanga oyo niikwo kusooka kw'a maani ge; eby'o mubereberye bibye.