\v 36 Mukama yakuleetanga iwe n'o kabaka gw'o liyimusya okukufuga, eri eigwanga ly'o tamanyanga iwe waire bazeiza bo; era waweereryeryanga eyo bakatonda abandi, emisaale n'a mabbaale. \v 37 Era wafuukanga ekyewuunyo, olugero, n'e kigambo eky'o buwemu mu mawanga gonagona Mukama gy’e yakutwalanga.