\v 9 Awo olwatuukire mu mwaka ogw'okuna ogwa kabaka Keezeekiya, niigwo mwaka ogw'o musanvu ogwa Koseya mutaane we Era kabaka we Isiraeri Salumaneseri kabaka w'e Bwasuli n'atabaala Samaliya n'akizingizya. \v 10 Awo emyaka isatu bwe gyabitirewo ni bakimenya: mu mwaka ogw'o mukaaga ogwa Keezekiya, niigwo mwaka ogw'o mwenda ogwa Koseya kabaka we Isiraeri, Samaliya ni kimenyebwa.